Ssettendekero wa Makerere
Ennyanjula
[kyusa | edit source]Ssettendekero wa Makerere, lye ttendekero erisinga obunene era nga likwata kyakusatu mu matendekero amakadde ag'ebyengigiriza ebya waggulu. Mu kusooka lyateekebwawo ng'essomero ly'ebyemikono mu 1922. Mu 1963, lyafuuka ettendekero ly'Obuvanjuba bwa Afrika, nga ligaba emisomo egituusa ku ddiguli eziva mu ssetendekero wa London. Mu 1970, University of East Afrika bwe yayawulwamu amatendekero asatu ageetongode, omuli University of Nairobi (Kenya), University of Dar es Salaam (Tanzania), Ssettendekero wa Makerere naye yeetengerera wano mu Uganda. We twogerera, ssettendekero wa Makerere alimu college mwenda ne School emu. Abayizi abalimu bali nga 36,000 ku ddaala lya ddiguli esooka n'abayizi 4,000 ku ddaala lya ddiguli eza waggulu.
Abakulembeze ba Afirika abawerako baatikkirirwa Makerere okuli omukulembeze wa Uganda Milton Obote, Julius Nyerere ne Benjamin Mkapa aba Tanzania.
Omukulembeze wa Democratic Republic of Congo Joseph Kabila n'omukulembeze wa Kenya mwai kibaki nabo batikirilwa Makerere.
Mu myaka egyaddirira ameefuga ga Uganda, ababawandiisi ab'ettutumu bangi abaawandiika ku nsonga z'ameefuga ga Afrika baavanga oba baakoleranga ku ssettendekero wa Makerere. Mu bawandiisi abo mulimu: Nuruddin Farah, Ali Mazrui, David Rubadiri, Okello Oculi, Ngugi wa Thiongo, John Ruganda, Paul Theroux, v. s. Naipaul ne Peter Nazareth.[1]