Stephen Kaziimba
Samuel Stephen Kaziimba Mugalu (ayitibwa nga Stephen Kaziimba; [1] [2] yazaalibwa 15 Ogwomunaana 1962) mulabirizi wa kkanisa mu Uganda . Nga 28 Ogomunana 2019, yalondebwa okuweereza nga Ssaabalabirizi wa Uganda ow’omwenda era Omulabirizi wa Kampala, okutandika nga 1 Ogwokussatu 2020. Mu kifo kye nga Ssaabalabirizi wa Uganda, y’akulira Ekkanisa ya Uganda . Nga tannafuna kifo kye kino kipya, yaweerezaako ng’Omulabirizi mu Bulabirizi bw’e Mityana, okuva mu 2009 okutuuka mu 2020. [3]
Obulamu obwomubuto n’okusoma
[kyusa | edit source]Mugalu yazaalibwa nga 15 Ogwomunana 1962, nga azaalibwa Jessica Nanyonjo ne Besweri Kaddu, ku kyalo Gulama-Najja, mu ssaza ly’e Kyaggwe, mu Disitulikiti y’e Buikwe.
Yasomera ku Gakuweebwa Munno Nursery School emanyidwa kati nga Lusaka Primary School, e Katwe, kumulirwano ne Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda. Yabatizibwa Canon Y. Baddokwaya, nga 22 Ogwokkuna 1973, mu kkanisa ya St. Luke e Kibuye . Yasibwako emikkono Omulabirizi Misaeri Kawuma, nga 22 Ogwomwenda1979, e Namataba, mu ssaza lye'Kyaggwe, mu Disitulikiti y’e Mukono nga bweyitibwa leero.
Yafuna diguli eyookubiri mu by’eddiini mu 2003 ne diguli ya Doctor of Ministry mu 2007, [4] byombi okuva mu Western Theological Seminary e Holland, Michigan .
Obuweereza obutuuziddwa
[kyusa | edit source]Kaziimba yatuuzibwa mu gwekkumi neebiri mu 1990 nga atuuzibwa Omulabirizi Livingstone Mpalanyi Nkoyoyo . Yaweereza nga Omumyuka wa Vicar mu Nakibizzi Parish mu Disitulikiti y’e Buikwe okuva mu 1990 okutuuka mu 1994. Oluvannyuma yaweereza nga nga omubuulizi w’ekigo mu kigo ky’e Katente okuva mu 1997 okutuuka mu 2000. Okuva mu 2000, yaliko Vicar wa Lutikko e Mukono. Ng’ali eyo, Omulabirizi Michael Ssenyimba yamufuula Akola nga Provost wa Lutikko e Mukono. Yakakasibwa ku bwa Provost wa Lutikko ya St. Philip ne Andrew's Cathedral Mukono, mu 2004.
Obuweereza bw’Obulabirizi
[kyusa | edit source]Kaziimba yatukuzibwa ng’omulabirizi era n’atuuzibwa ku bulabirizi obw’okuna mu bulabirizi bw’e Mityana, nga 26 Ogwekkumi 2008 ng’adda mu bigere by’Omulabirizi Dr. Dunstan Kopriano Bukenya .
Yalondebwa okubeera Ssaabalabirizi wa Uganda addako mu kalulu ak’ekyama, ng’abalabirizi b’Ekkanisa ya Uganda abasukka mu bitundu bibiri ku bisatu nga 28 Ogwomunana 2019. Yatuuzibwa ku bwa Ssaabalabirizi nga 1 Ogwokussatu 2020 mu Lutikko ya St. Paul e Namirembe .
Yadda mu bigere by’Omulabirizi Stanley Ntagali, eyawummula, ng’amaze okuweza emyaka 65 egy’okuwummula. [5]
Mu mwaka gwa 2023, Kaziimba yalaga obuwagizi eri etteeka lya Uganda erirwanyisa ebisiyaga, erireeta ekibonerezo ky’okufa ku misango egisingisibwa ebalibebisiyaga. Kaziimba yawakanyizza okunenya ennyikira ye Ssaabalabirizi w'e Canterbury, Justin Welby n'alaga nti amateeka agafuula ebikolwa by'ebisiyaga omusango gaali gasoose kuleetebwa mu Uganda Abangereza mu biseera by'amatwale . Wabula ategeezezza nti tawagira kukozesa kibonerezo kya kufa. [6] [7] Mu Gwomusanvu, 2023, Kaziimba yasisinkana era n’awa obuwagizi ku bifo bya Pulezidenti wa Iran, Ebrahim Raisi, era bombi ne baddamu okuwagira okufuula ebisiyaga omusango. [8] [9]
Obuvunaanyizibwa obulala
[kyusa | edit source]Nga 20 Ogwokussatu 2020, Ssaabalabirizi Stephen Kaziimba yatuuzibwa ku bwa ''Chancellor'' owokunna owa Uganda Christian University, yunivasite y’obwannannyini ey’Abakristaayo eyeegattira mu kkanisa ya Uganda. [10]
Obulamu bw’omuntu
[kyusa | edit source]Mufumbo ne Margaret Naggayi Bulya era bonna bazadde baabana abalenzi bana. [11]
Laba nabino
[kyusa | edit source]- Uganda Christian University
- Church House, Uganda
Ebijulizidwa
[kyusa | edit source]- ↑ https://web.archive.org/web/20210228030114/http://mityanadiocese.org/index.php/the-bishop
- ↑ https://www.anglicannews.org/news/2019/08/bishop-of-mityana-stephen-kaziimba-elected-to-serve-as-next-archbishop-of-uganda.aspx
- ↑ https://www.softpower.ug/bishop-kazimba-mugalu-to-replace-ntagali-as-archbishop-of-church-of-uganda/
- ↑ "Archive copy" (PDF). Archived from the original (PDF) on 2022-12-04. Retrieved 2024-09-03.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1506334/kazimba-elected-9th-archbishop-church-uganda
- ↑ https://www.churchtimes.co.uk/articles/2023/16-june/news/world/archbishop-of-uganda-takes-welby-to-task-over-criticism-of-anti-homosexuality-law
- ↑ https://www.katholisch.de/artikel/45286-massive-kritik-an-anti-queer-gesetz-in-uganda-lob-von-erzbischof
- ↑ https://www.independent.co.ug/ircu-courts-iran-to-activate-pending-agreement/
- ↑ https://www.thekampalareport.com/latest/2023071428992/ircu-courts-iran-to-activate-pending-agreement.html
- ↑ https://www.monitor.co.ug/News/National/Archbishop-Kaziimba-installed-new-UCU-Chancellor/688334-5499752-7sxac2z/index.html
- ↑ https://www.monitor.co.ug/News/National/Dr-Kazimba-elected-Church-of-Uganda-Archbishop/688334-5251848-hs53q7z/index.html