Jump to content

Stephen Malinga

Bisangiddwa ku Wikipedia

Stephen Oscar Mallinga (17 Ogwekkuminoogumu 1943 – 11 Ogwokuna 2013) yali Munnayuganda Omusawo eramunnabyabufuzi. Akaseera weyafiira, yeeyali Minisita W'ebigwa Bitalaze N'abanoonyi boobubudamu. Yaweebwa ekifo ekyo nga 27 Ogwokutaano, 2011. Yaddira Tarsis Kabwegyere mu bigere era nga ono yaggyibwa buggibwa mu ntebe eno.[1] Okuva mu 2006 okutuusa mu 2011, yaweerwza nga Minisita W'ebyobulamu owa Uganda. Yamala naalondebwa era nga Mmemba wa Paalamenti (MP), nga akiikirira essaza lya Butebo,mu in Disitulikiti y'ePallisa.[2] Yaziikibwa nga 19 Ogwokuna 2013 mu Pallisa.[3]

Obuto bwe n'okusoma kwe

[kyusa | edit source]

Yazaaalibwa mu Disitulikiti y'ePallisa nga 17 Ogwekkuminoogumu, 1943. Yasomera ku Ntare School gyeyamalira Siniya Ey'okuna, nadda ku Nabumali High school gyeyamalira siniya Ey'omukaaga. Yafuna Diguli mu by'eDdagala ne Diguli Mu By'okulongoosa abantu,nga yazifunira ku Ssettendekero wa Makerere University, luli nga Ssettendekero akyali kitundu ku University of East Africa. Yali omu ku bayizi mu ttendekero ly'abalongoosa abantu erya, American College of Surgeons, nga yali yalondako kukakasa mu ku kujjjanjaba abakyala abali embuto naabazadde n'okujjanjaba okukwata ku bitundu by'abakyala eby'ekyama. Era, yasomerako ne ku ttendekero lya yasomerako ne ku ttendekero lya International College of Surgeons.[2]

Omulimu gwe

[kyusa | edit source]

Wakati wa 1973 ne 1977, yaweereza nga eyebuuzibwako ku ddwaliro lya Cook County Hospital, erisangibwa mu Chicago, Illinois, mu America. Okuva mu 1978 okutuusa mu 1985, yaweereza nga Ssentebe, ku ludda olukola ku Kujjanjaba abakyala abali embuto naabazadde n'okujjanjaba endwadde ezeekuusa ku bitundu by'abakyala eby'ekyama ku ddwaliro lya Jackson Park Hospital mu Chicago, Illinois. Yamala naakola nga eyebuuzibwako mu ddwaliro lya Ingalls Memorial Hospital, erisangibwa mu Harvey, Illinois, ekitundu ekiri ku nsaalosalo z'ekibuga Chicago. Mu 1996, Dr. Mallinga yadda e Uganda awo naayingira eby'obufuzi. Yalondebwa okubeera Mmemba wa Paalamenti ow'essaza ly'eButebo, erisangibwa mu Disitulikiti y'ePallisa mu 1996, era nga kye kifo kye yalimu okutuusa lwe yafa. Yaweereza nga He served as Uganda's Minisita W'eby'obulamu okuva mu 2006 okutuusa mu 2011, lwe yaweebwa omulimu ogwasembayo ku kakiiko akafuga eggwanga. Mu ntandikwa yali mu kibiina ky'eby'obufuzi ekya Uganda People's Congress, naye oluvannyuma yeeyunga ku kibiina ekyali mu buyinza ekya National Resistance Movement nga 1 Ogwokusatu 2005.[2][4][5]

Okufa kwe

[kyusa | edit source]

Dr. Malinga yatondokera mu maka ge ag'omukyalo agaali gasangibwa mu Disitulikiti y'ePallisa ku Lwokuna, 11 Ogwokuna 2013. Era ku lunaku olwo lwennyini nga luyiseeko essaawa yalangirirwa nti yali afudde. Yafa alina emyaka 69.[2][5][6]

Laba na bino

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwa

[kyusa | edit source]

Endagiriro endala

[kyusa | edit source]