Jump to content

Stephen Namanya

Bisangiddwa ku Wikipedia

Stephen Namanya[1] mulabirizi ow'eddiini y'Obukulisitaayo mu Uganda:[2] abadde Mulabirizi w'ebitundu by'Omubukiika ddyo bwa Ankole okuva mu 2015.[3]

Namanya yazaalibwa mu Gwomukaaga nga 2, 1959, ku kyalo Kabuyanda mu Disitulikiti y'e Isingiro nga yasomera kutendekero lya Uganda Christian University. Yakakasibwa nga omutukirivu mu 198, nga omubulizi mu 1988. Awereza nga omubuuzi w'ekigo, Ssaabadiikoni, wamu nga ssentebe w'akakiiko akakungaanirwaamu abaakakasibwa okubeera abatuukirivu mu Ssaza ly'Omubukiika ddyo bwa Ankole. Namanya baamutikira mu bujuvu nga 2 Ogwomunaana mu 2015 ku kanisa ya Emmanuel Cathedral esinganibwa e Rushere.

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | edit source]
  1. https://www.anglicancommunion.org/structures/member-churches/member-church/diocese/position.aspx?church=uganda&dio=north-ankole&pos=bishop-of-north-ankole&posID=19878
  2. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1331705/north-ankole-bishop
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2019-08-06. Retrieved 2024-09-08.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)