Jump to content

Steven Kavuma

Bisangiddwa ku Wikipedia

  Steven Kavuma munnayuganda omulamuzi era eyali omumyuka wa Ssabalamuzi wa Uganda. Yalondebwa mu kifo ekyo nga 5 Ogwokusatu 2015.[1] Okuva mu Gwokuna 2013 okutuusa mu Gwokusatu 2015, yaweereza nga Ssabalamuzi wa Uganda, ng'atadde ku bbali ekifo ekyamuweebwa Pulezidenti wa Uganda ekya ssabalamuzi ow'obwenkanya mu kkooti enkulu.[1] Wabula okusinzira ku ngeri eby'amateeka bya Uganda gyebizimbiddwamu, omumyuka wa Ssabalamuzi tabeera mmemba wa Kkooti ensukkulumu mu Uganda, wabula mmemba Kkooti ejjulilwamu eya Uganda.[2]

Ebimukwatako n'emisomo gye

[kyusa | edit source]

Yazaalibwa mu masekkati ga Uganda nga 28 Ogwomwenda 1947.[3] Yasoma amateeka mu ssetendekero wa Makerere University, Yunivasite ya Uganda esinga obunene n'obukadde, nga yatikkirwa Diguli esooka u mateeka eya Bachelor of Laws. Era alina Dipuloma mu by'amateeka eya Diploma in Legal practice, okuva ku ttendekero lya Law Development Centre mu Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda era ekisinga obunene.

Emirimu gye

[kyusa | edit source]

Ku ntandikwa y'emyaka gya 2000, Steven Kavuma yaweerezako nga Minisita omubeezi ow'ebyokwerinda. Yalondebwa okwegata ku Kkooti enkulu oluvanyuma lw'okulonda kw'eggwanga okwa 2006. Benjamin Odoki bweyava mu ku bwa ssabalamuzi, Omulamuzi Kavuma yalondebwa nga Ssabalamuzi, okuva mu Gwokuna 2013 okutuusa mu Gwokusatu 2015.[1]

Laba na bino

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu

[kyusa | edit source]
  1. 1.0 1.1 1.2 https://web.archive.org/web/20150402172830/http://www.newvision.co.ug/news/665528-who-is-deputy-cj-kavuma.html
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2015-07-05. Retrieved 2022-12-01.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. http://www.monitor.co.ug/News/National/Judiciary-Justice-Kavuma-age-Public-Service/688334-4111828-5g14cuz/index.html

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya

[kyusa | edit source]