Jump to content

Sugra Visram

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Sugra Visram yazalibwa mu mwezi ogw'omusanvu nga 15 1923 n'afa nga 29 omwezi ogw'ekumi mu 2012 nga yali amannyikiddwa nga Sugra Namubiru Visram, yali munabyabufuzi omunayuganda, mulwanirizi wa ddembe wamu n'okuba ng'alina bizineensi ze zeyali yeekolera. Yali omu kubakyala abaasooka okukiika mu palamenti, nga Kabaka Muteesa II ya muteeka mu lukiiko lwa Buganda. yalina akakwate ku kibiina kya Kabaka Yekka nga yali akiikirira konsitituwensi ya Kibuga eyitibwa Mengo kati mu palamenti ya Uganda eyasooka n'ey'okubiri okutuuka weyalekulira ng'omubaka wa palamentu mu 1966. Ng'ali ne Florence Alice Lubega ne Eseza Makumbi, yali omu ku bakyala abasatu okuwereza mu kifo kino nga Uganda tenaba kufuna bwetwaze.

Mu 2012, yaweebwa ekirabo kya National Independence Medal

Obuvo n'eby'enjigiriza

[kyusa | edit source]

Yazalibwa Sugra Jamal mu ddwaliro lye Nsambya n'omwami Mohamedali Jamal, alina obuvu bw'e Pakistani ate Kawkab Aha Mirza alina emirandira mu Iran.[1] Yakulira mu Mengo ne Old Kampala n'asomera ku Old Kampala Senior Secondary School[1]

Emirimu gye

[kyusa | edit source]

Wadde ebiseera ebisinga yakola nga nnyo n'omwami we, Visram yalina eduuka y'engoye mweyava n'atandika esomero eryali liyigiriza abakyala okuvuga emmotoka.[2] Wakati wa 1950 ne 1951, yeyali akulira esomero lya nasale erya, the Ithnasheri School, a nursery school.[2][3]

Visram yeegata mu by'obufuzi mu 1962 nga mu mwaka ogwo mwalimu okulonda kwa Buganda nga Uganda tenafuna bwetwaze, Visram ng'ali ne Florence Alice Lubega ne Eseza Makumbi, baalondebwa mu Lukiiko.[4] Oluvannyuma lw'okulonda kwa Uganda okwa 1962, yalondebwa mu palamenti ya 1962 okutuusa mu 1966 okukola ng'akiikirira Buganda ng'ali ne Florence Alice Lubega ekyabafuula abakyala abasooka okubeera ba memba baakyo.[4] Yalina akakwate ku kibiina kya Kabaka Yekka (KY), ng'akiikirira konsitituwensi eyali emannyikiddwa nga "Kibuga" gyebayita Mengo).[5][6]

Visram yali omu ku bataano abaali bakola abateeka mu okuva mu kibiina kya Kabaka Yekka abaalekulira okuva mu bifo byabwe ebya palamenti oluvannyuma lw'okugaana okukiriza eteeka epya eyali lireteddwa oluvannyuma lw'olutalo lw'omuda olwali mu Uganda olwa 1966 constitutional coup in Uganda.[7][8]

Yeyali akulira abakyala mu kibiina kya Kabaka Yekka (KY) ng'ayongereza kukubeera omumyuka wa ssentebe mu lukiiko lw'abakyala olwa Uganda lweyegatako mu 1944. Yali omu kubatandiikawo ekibiina ekiyigiriza eby'ekizaala gumba mu 1957, Family Planning Association of Uganda (ekimannyikiddwa nga Reproductive Health Uganda). Yayambako ne mukutandika Young Women's Christian Association (YWCA) in Uganda and was its treasurer.

Okusuka 1972 abayindi webabawera

[kyusa | edit source]

Oluvannyuma lw'okuwera abayindi mu 1972 mu Uganda, Visram yali akolera mu kitongole ky'okusomesa mu tendekero ly'amawanga agali musa olumu ne Bungereza Commonwealth Institute. Yaliko ne mu Commonwealth Parliamentary Association nemu Red Cross.[3]

Yakomawo mu Uganda mu 1993 n'akola ogw'omuyambi w'omukulmbezze ow'enjawulo mu buvugirizi bw'omunda Special Presidential Assistant on Inward Investment

Obulamu bwe

[kyusa | edit source]

Mu 1941, Visram yafumbirwa Haider Visram, muzukulu wa Allidina Visram. Baawe yafa mu 1998 nga balina abaana 3

Yafuulibwa ow'ekika ky'e Mamba mu Buganda nebamuwa erinya lya Namubiru[9]

Visram lyalekulira Uganda mu 1972 oluvannyuma lw'eyali pulezidenti Idi Amin's okuwera buli eyali ava ku semazinga wa Asia okwamuka Uganda .

Laba ne

[kyusa | edit source]
  1. 1.0 1.1 {{cite web}}: Empty citation (help)https://ismailimail.blog/2012/11/02/sugra-visram-one-of-the-first-female-mps-in-uganda-is-dead/
  2. 2.0 2.1 {{cite web}}: Empty citation (help)https://medium.com/@wulira_uganda/episode-notes-sugra-visram-and-the-start-of-family-planning-in-uganda-81d09e25a9e5
  3. 3.0 3.1 http://awaazmagazine.com/previous/index.php/component/k2/item/275-ugandas-reluctant-hero-sugra-visram Template:Bare URL inline
  4. 4.0 4.1 {{cite book}}: Empty citation (help)https://www.worldcat.org/oclc/841171389
  5. https://www.parliament.go.ug/cmis/browser?id=be63ba82-7eab-4580-8917-bb4fc9323e59%3B1.0 Template:Bare URL inline
  6. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.monitor.co.ughttps//www.monitor.co.ug/uganda/news/national/sugra-visram-one-of-the-first-female-mps-in-uganda-is-dead-1529204
  7. {{cite book}}: Empty citation (help)https://www.worldcat.org/oclc/39307485
  8. {{cite web}}: Empty citation (help)https://silo.pub/when-hens-begin-to-crow-gender-and-parliamentary-politics-in-uganda.html
  9. {{cite web}}: Empty citation (help)http://www.nzdl.org/cgi-bin/library?e=d-00000-00---off-0unescoen--00-0----0-10-0---0---0direct-10---4-------0-1l--11-en-50---20-about---00-0-1-00-0-0-11----0-0-&a=d&c=unescoen&cl=CL1.11&d=HASH01498f0cfd994ddfe10f20e4.4.6