Susan Amero

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Susan Amero, yazaalibwa nga 17 Ogwokuna mu 1976 nga munayuganda omukyala omubaka wa Paalamenti akiikirira Disitulikiti ya Amuria, y'omu kubali mu kibiina ky'ebyobufuzi ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement[1][2][3][4][5][6][7][8]

Okusoma kwe[kyusa | edit source]

Amero yatuula P7 ku Rock View Primary School mu 1989 Disitulikiti y'e Tororo. Mu 1993, yatuula S4 ku St. Francis School eya bamuzibe nga lisinganibwa Madera. Yatuula S6 kusomero lya Mbale Secondary School mu 1996.

Wakati wa 1996 ne 1997, Amero yamaliriza satifikeeti mu by'entambula n'obulambuzi ne ku Airway Tours and Travel, mu ggwanga lya Switzerland.Mu 2007, yatikirwa ne diguli mu b'ensonga ezekuusa kunsi yonna n'okuzidukanya ku Yunivasite y'e Nkumba, yunivasite y'obwanannyini esinganibwa Entebbe, mu Uganda. Yamaliriza Diguli ye eyokubiri mu by'ensonga z'ensi yonna ku Yunivasite y'e Nkumba.[2]

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Mu 1998, Amero yakola ng'akulira bakituunzi n'ayaniriza abagenyi. Wakati wa1999 ne 2009, yeeyali omumyuka w'abaniiriza abakungu ku kitongole kya Ugandan Civil Aviation Authority.[1][1] Okuva 2011 okutuuka kati,abadde mubaka wa Paalamenti.

Obukiiko[kyusa | edit source]

Amero awereza ku bukiiko obw'enjawulo mu Paalamenti ya Uganda okuli:

  • Ak'eby'enfuna by'eggwanga
  • Omumyuka wa ssente w'akavunaanyizibwa ku by'ensonga za Pulezidenti

Laba ne bino[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwaamu[kyusa | edit source]

Ewalala w'oyinza okubigya[kyusa | edit source]