Jump to content

Sylvia Muzila

Bisangiddwa ku Wikipedia
Sylvia Muzila
Omuntu Kyusa Wikidata
Ekikulamukyala Kyusa Wikidata
Ensi y’o­bu­tuu­zeBotswana Kyusa Wikidata
Erinnya eri­wee­redd­waSylvia Kyusa Wikidata
Gy'a­zaal­waDombodema Kyusa Wikidata
Omulimumunnabyabufuzi, urban planner, women in law enforcement Kyusa Wikidata
Ekifo ky'alimumayor Kyusa Wikidata
Gyeya­so­me­raUniversity of Birmingham Kyusa Wikidata
Mmemba w’e­ki­bii­na ky’e­byo­bu­fu­ziBotswana Democratic Party Kyusa Wikidata

Sylvia Muzila (oluusi ayitibwa Sylvia Tabitha Muzila née Nlea) munnabyabufuzi wa Motswana era mayor omukyala owa Francistown, Botswana eyasooka. Munnakibiina kya Botswana Democratic Party (BDP), eyalondebwa ku kifo kino mu 2014 n'awereza okutuuka mu 2019.[1] Muzila y'omu kubakyala abasooka okuwandisiibwa mu Botswana Police Force.

Obuvo bwe n'okusoma kwe

Muzila yazalibwa Sylvia Tabitha Nlea mu Dombodema ekya Zimbabwe.[2] Alina diguli mu kukulakulanya ebibuga kwosa ne "Master's of Social science degree in Development Administration" gyeyafuna mu 1989 okuva ku yunivasite y'e Birmingham mu Bungereza.[3][2]

Muzila y'omu ku bakyala omunaana abasooka okwegatta ku Botswana Police Service e Francistown mu 1971 gye yalekulira mu 1978.[2][4] Oluvannyuma yeegatta ku Selebi Phikwe Town Council nga Community Clerk era nakyusiibwa nadizibwa ku Self Help Housing Agency (SHHA).[3] Oluvannyuma lw'emisomo gye egya masters, yaweereza nga Housing Officer mu Ministitule y'ebyettaka n'amyumba eya Botswana.[2]

Wakati wa 1996 ne 2008, Muzila yali District Commissioner, okusokera ddala owa Gaborone, nga tanalondebwa e Kweneng, mu Bukiikakkono bw’Obuvanjuba n'e Francistown mu 2008.[2][5]

Muzila yeegatta mu byobufuzi mu 2008.[6] In Gwekkuminoogumu 2014, ku tikiti ya Botswana Democratic Party (BDP), Muzila was yalondebwa nga tavuganyizibbwa ku kisanja eky'emyaka ebiri n'ekitundu egyasooka nga Mayor omukyala owa Francistown oluvannyuma lwa ba Councillor ab'ebibiina ebirala okuva mu kuvuganya ku kifo kyekimu.[7] Yadamu nalondebwa era nga tavuganyibbwa ku kifo kyekimu mu 2017.[8]

Era ye nannyini wa Thabitha Secondary School mu Francistown.[9][10]

Muzila yafumbirwa Robert Muzila, kansala wa Francistown, gwe yagattululwa mu 2009.[11][12]

Muzila yaweebwa ekiragiro kya Botswana Presidential Order of Meritorious Service mu 2005.[13]

Ebijjuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
    1. ↑ Dube, Chakalisa (4 June 2021). "Gov't building goes to waste". Mmegi Online (in Lungereza). Retrieved 2022-06-13.
    2. 1 2 3 4 5 Motsumi, Gosego (16 December 2020). "The Untold Story Of Sylvia Muzila, The Fearless Woman Of Many Firsts". The Botswana Gazette. Retrieved 10 March 2022.
    3. 1 2 Dube, Chakalisa (5 December 2014). "I have fulfilled my dream – Muzila". Mmegi Online (in Lungereza). Retrieved 2022-03-10.
    4. ↑ "Botswana Police Service celebrates 135 years – YourBotswana" (in British English). Retrieved 2022-03-11.
    5. ↑ "Botswana erects 300-mile electrified fence". the Guardian (in Lungereza). 10 September 2003. Retrieved 2022-03-11.
    6. ↑ Mooketsi, Lekopanye (2008). "Ex-DC Muzila Joins the Fray – At Last". Mmegi Online. p. 2. Retrieved 10 March 2022.
    7. ↑ Dube, Chakalisa (3 December 2014). "BDP councillors give way for Muzila". Mmegi Online (in Lungereza). Retrieved 2022-03-10.
    8. ↑ Dube, Chakalisa (3 May 2017). "Muzila is Francistown's mayor again". Mmegi Online (in Lungereza). Retrieved 2022-03-11.
    9. ↑ "Former Francistown DC gives scholarship to 30 orphans | Sunday Standard". Sunday Standard (in British English). 27 February 2012. Retrieved 2022-03-10.
    10. ↑ Pinielo
      Correspondent, Isaac (9 April 2010). "Restoring Lost Hope For Failed Students". Mmegi Online (in Lungereza). Retrieved 2022-03-11.
    11. ↑ Mosikare
      Correspondent, Oarabile (15 June 2009). "Muzila Divorce Hearing In November". Mmegi Online (in Lungereza). Retrieved 2022-03-10.
    12. ↑ MOSIKARE
      Correspondent, OARABILE (6 August 2009). "Muzilas sign divorce settlement". Mmegi Online (in Lungereza). Retrieved 2022-03-10.
    13. ↑ "No. 1116: Botswana's Weekly Report". www.laits.utexas.edu. Retrieved 2022-03-10.