Sylvia Nayebale

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Sylvia Nayebale, Yaazalibwa nga 22 Ogwekuinooguu mu 1990, nga munamawulire Omunayuganda, omukyala munabizineensi ng'ate munabyabufuzi, awereza nga omubaka wa Paalamenti eyaliko ng'akiikirira Konsititiweensi w'abakyala mu Disitulikiti ya Gomba, mu Paalamenti eyekumi okuva mu 2016 okutuusa mu 2021.[1] Baddamu nebamulonda mu kifo kyekimu mu 2021.[2][3][4][5]

Obulamu bwe n'okusoma kwe[kyusa | edit source]

Yazaalibwa nga 22 Ogwekuminoogumu mu 1990, mu Disitulikiti ye Gomba, mu bitundu bya Buganda mu Uganda. Yagenda kumasomero ag'ebitundu eby'enjawulo okusoma pulayimale. Yasomerako ku Nabisunsa Girls' Secondary School gyeyatuulira ebisegezo gya S4 ne S6. Mu 2008, yagenda ku Yunivasite y'e Makerere, yunivasite ya gavumenti esinga obukadde n'obunene mu Uganda, n'atikirwa mu 2011, ng'afunye Diguli mu By'amawulire.[1]

Obumannyirivu bw'alina mu mukola emirimu[kyusa | edit source]

Nga tanayingira bya bufuzi, yakolako nga ayaniriza abagenyi ku Royal Suites, ekifo ekisulwamu. u mwaka gwe ogwali gusembayo ng'akyasoma ku yunivasite,, yakolako nga omusasi w'amawulire ku mu kutu gwa ttivi ya Uganda Broadcasting Corporation, nga guno gudukannyizibwa gavumenti.[1]

Okumala emyaka ebbiri, wakati wa 201 ne 2013, Sylvia yawereza era nga akola mu ofiisi ya Pulezidenti wa Uganda eya Minisita omubeezi akola ku by'okulondoola Eby'enfuna. Mu 2013, yalondebwa nga ssentebe w'ekibiina kya Gomba Action for Development, ekitadukanyizibwa gavumenti, gyeyali okutuusa mu Gwekumi u 2018.[1]

Emirimu gye mu byobufuzi[kyusa | edit source]

Mu kulonda kwa 2016 Mukyala Sylvia Nayebale yawangula eky'omukyala eyali agenda okukiikirira Konsitituweensi ya Disitulikiti ya Gomba, bweyali mu kibiina kye by'obufuzi ekya National Resistance Movement,[6] era nga ye mubaka wa Paalamenti eyaliko nebaddamu okuulonda mu kifo kin, mu konsitutuweensi eyo.[7]

Omu kaseera ka kayuufu ka NRM ak'okusunsula ani eyali agenda okuweebwa tikiti okwesimbawo mu kibiina kino ku ky'Omubaka wa Paalamenti, Nayebale yawangula eyali mu kifo kino, Nakato Kyabangi eyafuna obululu 9,297 obwali obutono ku bwa Nayebale eyali alina 21,835.[8] Mu Paalamenti ya Uganda eyekumi, ali ku kakiiko ka Paalamenti akavunaanyizibwa ku by'Obulamu, wamu n'akakiiko ka Paalamenti akavunaanyizibwa ku by'okulwanyisa akawuka ka Mukenenya n'omulwadde bwa Siriimu olulaba nga tebusaasaana nga kuno kwekuli n'eddwadde endala ez'ekuusa ku buno.[1]

Famire[kyusa | edit source]

Mukyala Sylvia Nayebale mufumbo.[1]

Laba ne bino[kyusa | edit source]

Ebijuliiddwaamu[kyusa | edit source]

  1. 1.0 1.1 1.2 1.3 1.4 1.5 https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=236
  2. https://visiblepolls.org/ug/2021-general-election/candidates/nayebale-sylvia-10240/
  3. https://theyworkforyou.github.io/uganda-parliament-watch/mp/1b864cc7-d892-4363-ab85-be96b7fb3753/
  4. https://www.newvision.co.ug/articledetails/1524280
  5. https://www.youtube.com/watch?v=P6sFwNZueK8
  6. http://www.elections.co.ug/new-vision/election/1417394/uganda-elections-2016-provisional-parliamentary-results
  7. http://bugandatoday.com/2017/07/07/emmwanyi-terimba-katikkiro-atalaaze-ggomba/
  8. "Archive copy". Archived from the original on 2019-03-02. Retrieved 2024-03-28.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)

Ewalala w'oyinza okubigya[kyusa | edit source]