Jump to content

Talk:Luganda

Page contents not supported in other languages.
Bisangiddwa ku Wikipedia

ebirungi ebiri mukusomaItalic text okusoma kintu kilungi nnyo eri omuntu wadde nga abamu tebakitwala nga kikulu.omnuntu asomye munsi eno uganda aweebwa ekitiibwa era ne biseera bye ebyo mumaaso bibeera bitangaavu. okusoma kintukirungi nnyo eri omwana omuw

OMWEGAYIRIZI YANI?

[edit source]

OBUWEREZA BW’OKWEGAYIRIRA Omwegayirizi ye muntu yenna Katonda gwe yalonda okuyimirira mu kituli ku lw’abantu abalala okwenenya ekibi ekikolebwa mu masekkati gabwe, n’okwegayirira kwe bintu ebyo abantu bye bagala Katonda abakolere. [ Ezekiel 22:30, Isaiah 59:16 ] Omwegayirizi ayawukana ku mulokole oba omu’Kristayo owa bulijjo. Omwegayirizi afukibwaako amafuta agenjawulo agawanirira obulamu bwe kkanisa nga mwotwalidde n’abasumba, ba nnabbi, abatume, abasomesa ba baibuli n’ababulizi be njiri. [ John 15:13] Tewali alina kwagala Kunene okusinga kuno omuntu okuwayo obulamu bwe olwa mikwano gye. Katonda akuteeka ko okwagala kuno mu ngeri ey’amafuta. Omwegayirizi akolera mu kwagala okutali kwa bulijjo nebatuuka n’okugamba nti “Gwe okikola otya?” Olina OMUTIMA OGW’OMWEGAYIRIZI? Amannya agange nze Kenneth Kizito nga ndi Mwegayirizi. Nsaba onkubireko ku ssimu ku +256752076796 oba +256787846995 omanye bwolina okwenenya n’okwegayirira.

OMUTIMA OGW’OMWEGAYIRIZI ( OMWEGAYIRIZI )

[edit source]

• Alina omutima omusaasizi; okusaasira kujaguliza ku musango. Okusala omusango kwe kukozesa ekikolwa eky’okusaasira awandibadde wakozesebwa okujooga, effutwa oba obutayagaliza. [James 2:13] • Obwetowaze n’obukakkamu mu kuwereza eri abantu babeera akutumyemu. [Mathew 23:11] Naye mu mwe abasing obukuli anaabanga muwereza wa mwe. NOTE; Ow’oluganda nkwegayiridde tewegaana mutima gwa Katonda gwe yakuwa kuba gujjudde amafuta. Katonda yagamba Samwiri nti “Ndabye omusajja alina omutima ng’ogwange.” Amannya gange nze Kenneth Kizito nga ndi Mwegayirizi. Nsaba onkubireko ku ssimu ku +256752076796 oba +256787846995 otegeere OMUGASO GW’OMWEGAYIRIZI

OMUGASO GW’OMWEGAYIRIZI ( OMWEGAYIRIZI )

[edit source]

• Okwesaddaka – wewayo newelekereza ebibyo n’okolera abalala. Wakiri ebibyo byogobako bifa naye ebyabalala ne biyitamu. Okugeza [a] Musa yatuuka okugamba Mukama ebigambo bino; “Naye kaakano, bwonosonyiwa ekyonoono kyabwe; naye bwo’tobasonyiwe, ONSANGULE NZE, nkwegayiridde mu kitabo kyo kye wawandiika. [Exodus 32:32] [b] Kabaka Daudi agamba Mukama nti “….ai Mukama Katonda wange omukono gwo gube kunze ne ku nnyumba ya kitange.”[1Chron.21:17] • Okukuuma n’okwekuuma ekigambo kya Katonda n’obuvumu era n’obumalirivu. [Hebrews 4:16] Kola nga Katonda bw’ayogera era bw’akulagira so ssi nga enkola yabayivu bweri. Tosanyusa bo buulira kigambo naye yogera nga Katonda bwakikutadde ku mutima. • Beera omukozi wobwa nnakyewa nga mu kyokola tosuubira ku kusasula naye nga olindirira empeera okuva eri Mukama Katonda. NOTE: Akamwa k’omwegayirizi kalian kuberako ssaasira sonyiwa buli kaseera. Oba oli mu kinaabiro onaaba, oba oyoza ngoye, oba ofumba mmere njagala oyogere nga ebigambo bino wamanga buli ddakiika; “Yesu Kristo nsaba otusaasire otusonyiwe olw’obutali butukirivu bwaffe.” Amannya gange nze Kenneth Kizito nga ndi Mwegayirizi. Nsaba onkubireko ku ssimu ku +256752076796 oba +256787846995 otegeere OBULAMU BW’OMWEGAYIRIZI

OBULAMU BW’OMWEGAYIRIZI

[edit source]

• Katonda ateeka Omugugu ku bulamu bwo nga omugugu ogwo kye kigambo kye eri abantu be oba omuntu gwa ba akutumyeko okumwenenyerezaako oba okwegayirira ku lw’ekyetaago kyaba alina. [Mathew 11:29 ne 30] Mwetikke ekikoligo kyange…….vs30- Kubanga ekikoligo kyange ssi kizibu, N’OMUGUGU GWANGE MWANGU. Ekyo kye kigambo ekikujjira ne kikuteganya n’obulwa emirembe ppaka nga okoze kye kiragira. • Tokola kintu nga bwolowooza oba nga bwe kikolebwa bulijjo wabula okola ebintu nga Omwoyo Omutukuvu bwalungamya obulamu. Okukkiriza kwo kutekebwa mu kugezesebwa osobole okulinnya ku ddaala eriddako. Abantu abakwetoolodde balabira ku KUKKIRIZA kwolina nabo ne banywera mu Katonda. Nabwekityo kikugwanira okusaba essaala eno nti “Yesu Kristo okwagala kwo n’ebisuubizo byo bibeere okufumitiriza kw’omutima gwange bulijjo – Amiina.” Okwagala kwa Katonda kujja kkukozesa ebitakirizika mu maaso g’abantu. • Omwegayirizi tatekeddwa kukola mirimu gireeta sente nga abantu babulijjo n’abalokole gyebakola nga biziness ze midaala, oba mirimu gya w’office. Oli MWAWULE eri Katonda okukola emirimu gye so ssi ejiijo gyoyagala kubanga gino gitwala obudde bunji n’omala ebiseera nga omutima gwo gutegana mu bintu ebitagasa. Ffe abegayirizi bwetuzukuka tunaaba olumala nga tukwata EKTABO EKITUKUVU nga tusoma nyiriri era nga bwe tusaba nokwegayirira. Oyera oluggya, ofumba emmere, ogenda mu katale okugula ebintu naye tewenyigira mu mirimu egikukooya, tewenyigira mu mirimu egikumalira ebiseera negitwala obwongo bwo n’endowooza yo. • Omwoyo wo alina kubeera mu Katonda essawa zonna ez’olunaku. Tolina kulaba oba kuwulira bintu oba mboozi ezijja omwoyo mu kuberawo kwa Mukama Katonda. Nyweza Omwoyo Omutukuvu ku lusegere lwo obe ng’owuliza ekigambo kye. Jjukira nti ne Sitaani asobola okwefuula Malaika ow’ekitangala nakuletera ekigambo ekyefananyiriza okuva ewa Katonda songa bulimba. • Ebiseera ebisinga Omwegayirizi yesanga nga yetoloddwa abantu abali mu bwetaavu okugeza; abalwadde, abalema, abakadde ba jjajja. Amafuta golina ku bulamu bwo n’omutima Katonda gwa kuwadde bisikiriza abantu be kikula kino mu bulamu bwo kubanga y’entekateeka ya Katonda eri obulamu bwo okuwereza abantu be. • Omwegayirizi akolerawo ekigambo ekiba kimutumiddwa Katonda. Nga Yeremiya bwayogera nti ekigambo kya Katonda muliro, kimwokya mu ndaye tasobola ku kyebeera wabula okukifulumya. Towa bbanga Sitaani ayinza okukikubbako oba n’akugamba nti tokikola kati ogira olindako…….hhhmm ow’oluganda tokiwa ndowooza yakubiri, buuza Omwoyo Omutukuvu engeri gy’oba okola ekigambo kya Katonda naye anakuyamba. • Entalo ez’omwoyo kitundu ku bulamu bw’omwegayirizi. Omwegayirizi alina okumanya entalo abantu ze balwaana. Olina okumanya EKITAMBO kye ki, EKIKOLIMO kye ki, OBULOGO bwe buki? Kubanga bino biri ku bantu Katonda bayagala oyambe. • Abantu babulijjo balaba abegayirizi nga abasazi be misango, abakambwe, abatagumikiriza, abamalala mbu bamanyi nnyo naye ekyo kyoli mu Katonda. Tokola era teweyisa nga ensi bweyagala. Tewetowaza eri omwana w’omuntu wabula wetoowaze eri ekigambo kya Katonda. • Okusiiba kitundu kubulamu bw’omwegayirizi. Mu kusiiba mwetufuna amaanyi, amafuta, ekisa okukola ebyo Katonda bya tutuma okukola. Obulamu bwo bujjuze okusiiba okuva January ppaka December oba mu wiiki siiba ennaku ttaano oba mukaaga okusinziira nga Omwoyo Omutukuvu bwakulungumya. Okusiiba kukuletera okugenda ebuziba ne Katonda n’okufuna amaanyi okukuwanguza entalo z’olwana. Amannya gange nze Kenneth Kizito nga ndi Mwegayirizi. Nsaba onkubireko ku ssimu ku +256752076796 oba +256787846995 okutegeera EBIRABO BY’OMWEGAYIRIZI.

EBIRABO BY’OMWEGAYIRIZI

[edit source]

• Omwegayirizi alina ebirabo nga bwebilambikiddwa mu KITABO EKITUKUVU. Ebirabo biri mwenda naye buli omu aweebwa nga Katonda bw’asiima. [1 Cor. 12:1ff] Nabwekityo abegayirizi balina ebirabo okusinzira ku mirimu Katonda gy’eyakutekera tekera okukola. Olina ekirabo eky’okukkiriza, ekirabo ekyokuwonya, nebirala nga bwobisoma mu nyiriri. Oyinza okuba nga ku mwenda olinako bisatu, oba bina oba bitaano tomanya naye nkusaba osabe Omwoyo Omutukuvu wezuule omanye nga bwosobola okukozesa ebirabo Katonda byakuwadde. Bino ebirabo ssi bibyo kutereka wabula kuganyulwa omubiri gwa Kristo. Abantu bonna batunuulidde gwe okuleetawo enjawulo mu mbeera yabwe bwatyo ne Katonda naye atunuulira gwe mu kukozesa ebirabo bya kuwadde eri abantu be. Kozesa ekirabo kyo, tewetya. Amannya gange nze Kenneth Kizito nga ndi Mwegayirizi. Nsaba onkubireko ku ssimu ku +256752076796 oba +256787846995 okutegera ABEGAYIRIZI MU BAIBULI

ABEGAYIRIZI MU BAIBULI

[edit source]

1. Abraham – Genesis 18:19-33 ne Genesis 19:20 Ibulayimu yenenya ne yegayirira ku lwekibi ky Sodoma ne Gommorah. Ibulayimu agamba Katonda nti “Singa wabamu abatukirivu ataano, onokikzikiriza?” Olaba nti enjogera ya Ibulayimu ya kwegayirira. “Singa wabamu kkumi onobazikiriza?” 2. Lot – Genesis – 19:13 ne 2 Peter 2:7 “….Kubanga okukaaba kwabwe kweyongedde nnyo mu maaso ga Mukama.” Lot yenenya ne yegayirira n’akabira Mukama ku lwe kibi ekikolebwa mu Sodoma ne Gommorah. 3. Moses – Psalms 106:23 Singa Musa omulonde we teyayimirira mu maaso ge mu kituli, okuzaayo obusungu bwe aleme okubazikiriza. 4. Abigail – 1 Sam 25: 18 – 39 Omukyala ono yayimirira mu kituli okuziyiza obusungu bwa Daudi okugwa ku Nabal. Yasaba ekisonyiwo mu ngeri eyokutekateka ebyo Daudi bye yali asabye n’abimutwalira namugamba yekube mukifuba ku lwekiruyi kyeyali alina. Bwoba nga olina amafuta ag’okwegayiria ekigambo kyo tekiganibwa, kiwulirizibwa. Amannya gange nze Kenneth Kizito nga ndi Mwegayirizi. Nsaba onkubireko ku ssimu ku +256752076796 oba +256787846995 otegeere EBIKA BYA BEGAYIRIZI

EBIKA BYA BEGAYIRIZI

[edit source]

1. Abegayirizi ekika kye’ngango. Omwegayirizi ono alina amaanyi, obbuyinza n’amafuta okusaba ekigambo, okwogera ekigambo, okuleeta ekiteeso eri omuntu yenna oba eri Katonda omuntu oyo gwebegayiririra mu kituli nafuna ekyo kyeyetaaga. Okugeza Esther mu Esther 5:7 ne 8 ne Abigail mu 1Sam 25:27 ne 28 ne Joseph. Awo okusinziira ku kigambo omwegayirizi owekika kino kyaba asabye, omuntu oyo ali mu massanganzira go kusalawo afuna ekigambo oba amagezi agamutwala mu maaso era enziji ziggulwawo kwekyo kyaba agobako oba ne ziggalwa kwekyo kyaba akooye mu bulamu bwe. 2. Omwegayirizi akusookerayo mu kukola ku nsonga zo. Omwegayirizi owekika kino abeera n’omutima omuvumu okukukubira ekkubo w’ogenda okuyita. Gwe omuntu owa’bulijjo oyanjulira omwegayirizi ensonga zo nekiggwa. Gwe olaba bulabi nga biteredde tomanya bifaayo mu kwegayirira. Bewayo neberekerza ebyabwe okukola ku nsonga zo. Omwegayirizi ono alaba akabi akagenda okuggya nadduka mangu mu maaso ga Mukama aziyize ekiruyi kyaba agenda okuleeta eri abantu. 3. Omwegayirizi owakabonero Waliwo abegayirizi nga batekebwa ku nsi oba nga bazalibwa nga akabonero. Obulamu bwabwe bwe batambula lubeera lugero eri abalala. Obulamu bwabwe bwoleka ekigambo kya Katonda. Okugeza obulamu obwo’bwetowaze n’okugonda mu mbeera ezenjawulo ezitakkiriziganya na diina oba nzikiriza. Ekyokulabirako Hosea yawasa Malaya, Isaaya yambula bukunya era nga tali mu ngatto. 4. Abegayirizi abalina omwoyo wa Eriya ku bbo. [ Malachi 4:6] Omwegayirizi owekika kino azimba olutindo wakati w’omulembe ogw’okusatu, okusobozesa abaana abo okusala olutindo obulungi bafune obusika bwabwe. Katonda awalana eggwanga okuva ku mulembe ogusooka ppaka ku gw’okuna era tasanyukira mu kufa kw’omubi kyava atekawo omwegayiriza ono atabaganye abaana ne b’akitaabwe ng’ayita mu kwenenya n’okwegeyirira kulwe butali butukirivu bwabwe. 5. Abegayirizi abekika kyobwakabona. Nga Yesu bwe yali omwana wa Katonda butereevu nga kiri mu musaayi gwe okwegayirira. Bano batera kusangibwa mu kkanisa nga begayirira kulw’abasumba mu kkanisa eyo mwaba atereddwa okwegayirira. Mu butukirivu ne mu butukuvu mwe bayima okukola emirimu gyabwe. 6. Omwegayirizi Omununuzi. Okugeza Musa ne Eriya mu kugondera ekigambo kya Katonda baawakanya amaanyi g’abafuzi ne bakabaka ba mawanga [Exodus 7:12, 8:18, ne 1Kings 18 :36 -39]. Ba Katonda ba mawanga ganobawangulwa Musa ne Eriya okusobozesa abaana ba Israel okuva mu busibe. Abegayiriza bano bakikola mu kulwana entalo ez’omwoyo ku lwabalala nga Katonda aleese obulokozi eri omuntu oyo oba n’akikola mu kulangirira omukisa eri obulamu bwa bantu abo Katonda babeera amutumyeko. Tewali kyebasobola kukola kulwabwe nga bbo nga Katonda tabatumye. Era bwebagezaako okwetumikiriza okukola Katonda kyatabagambye kukola, bakubibwa. 7. Omwegayirizi Omukuumi w’omulyango. Abegayirizi ab’ekika kino baweebwa obuyinza okuggulawo n’okuggalawo enziji ku bulamu bwa bantu. Obagerageranya ku bakabaka nabalamuzi b’ensi eno. Okulamula n’okusalawo kwe bakola kuva mu nneyisa yabwe n’okutambula n’Omwoyo Omutukuvu mu bulamu bwabwe obwa bulijjo. Okusalawo kwabwe kuva mu kuba nti baleese ensi eno byeyagala era byetambulirako nebatambulira mukwagala kwa Mukama Katonda. Amanya gange nze Kenneth Kizito nga ndi Mwegayirizi. Nsaba onkubire ku ssimu ku +256752076796 oba +256787846995 otegeere OMWEGAYIRIZI BYATEKEDDWA OKUKOLA

OMWEGAYIRIZI BYATEKEDDWA OKUKOLA

[edit source]

1. Okuzukuka ekiro okusaba mu kwenenya n’okwegayirira. Omwoyo Omutukuvu wali okukuzukusanga ekiro okusaba oba ssawa munaana oba mwenda, zonna essawa zoba osazewo osabire mwebyo byaba akulungamizza mu birooto. 2. Twala essawa nga bbiri oba ku ssatu emisana nga osaba. Kozesa obudde obuwerako nga oli mu maaso ga Katonda kuba tewali kikupapya osinze, otendereze, wenenye, wegayirire, olwane entalo, ate olangirire n’omukisa ku nsonga ezo z’osabidde. 3. Manya akaseera mw’osabire. Bwe wabeerawo ebikukutte nga biyingidde mu budde bw’olina okusabiramu nkwegayirdde bisazemu oba tobikolera ddala bwomanya nti binayingira mu budde bwo obw’okusaba. Bikole oluvannyuma lw’okusaba. Era ogenda okuwulira mu ddoboozi ly’Omwoyo Omutukuvu ettono nga likujjukiza nti kano ke kaseera akalagane akokusabiramu ke twatesaako. 4. Goberera omugugu gwo Katonda gwaba akutaddeko ogusabiremu. Mu kusaba kwo, sabira ebyo Katonda byakutadde ku mutima. Waliwo nebyo ebirabwako omuntu w’abulijjo nga byetagisa okusabirako obisabireko naye ekyo okikola nga omaze kusabira guli Omugugu Katonda gwa kutaddeko. 5. Buli kaseera sabira mu mwoyo. Tomala gasaba olw’okuba nti olina okusaba. Kowoola Omwoyo Omutukuvu musabe mwenna,. Kiriza Omwoyo asabire mu ggwe era ayogerere mu ggwe. Abamu abegayirizi balina olulimi olw’omwoyo lwe basabiramu. NOTE; Omwegayirizi teyeraga mu kkanisa oba buli wantu. Ffe abegayirizi tuli magye agatalabika agakola wamu ne Katonda. Omwegayirizi musirise, yekuuma ekigambo ekimuwereddwa Katonda era teyetaba mu ngambo z’okumizigo oba mu butale. Teyegabangula eri buli muntu ku buli nsonga. Omwegayirizi alina okuba omukalaba kalaba nga alina eriiso egyogi n’okutu kwe nga kuwuliriza bulungi. Omwegayirizi yasooka mu kkanisa okusaba mu kwenenya n’okwegayirira eri Katonda ku lw’abantu abajja okusaba oba ekkanisa, ku lw’eggwanga lyaffe Uganda, ku lw’ekitundu ekyo ekkanisa mwesangibwa ne kulwa buli muntu ssekinoomu amuli ku mutima mu kaseera ako mwasabira. Amannya gange nze Kenneth Kizito nga ndi Mwegayirizi. Nsaba onkubireko ku ssimu ku +256752076796 oba +256787846995 oyongere okwezuula mu kuyitibwako nga Omwegayirizi.