Tamena Ibuga
Tamena Ibuga ng'era bamumannyi nga amazina g'okujaguza amakungula mu bantu b'ebusoga, mazina gakinaansi agasibuka okuva mu bu Kyabazinga bw'e Busoga mu Buvanjuba bwa Uganda. Amazina gano galina kino nnyo olw'okuba gakiikirira omutima ogulaba omukwano wamu n'obwegasi mu bantu B'eggwanga lya Busoga.[1] Batera okugoolesa nadala mu biseera nga bali mu bikujuko by'okukungula, Tamena Ibuga gakola nga ekijukizo wamu n'okukubiriza abantu okuva mu ggwanga lya Busoga okusigala nga tebagwaamu maanyi wekituuka mu by'amakungula. Nga bayita mu mazina gano agaawukana ku malala, abantu b'Omubusoga bajaguza n'okuwa ekitiibwa ettaka lyabwe lyebabeera bakunguddekoobulungi, nga basannyukirwa ebyo byebabeera bakungudde.[1][2]
Ebigakwatako
[kyusa | edit source]Amazina ga Tamena Ibuga, n'ensibula yaago gaviira ddala munkwataga ey'amannyi eri wakati w'emikwano ebbiri, mu biseera eby'ayita abantu abaali ab'omukwano ennyo webaamala ng'akaseera nga bali bonna, nga kuno kw'oteeka okugabana byebayiita nga mu kunsibuko y'omukwano gwabwe. Kuntuuka y'olunaku olumu, ab'omukwano bano baagenda ku lugendo lw'okunywa bbiya, enkola y'eby'obuwangwa nga yalimu n'okukozesa endeku nga mwebaalina okunyweera. Wabula, ebyaava mukunywa omwenge omungi ky'abavirako obutakaanya, nekibaleetera n'okulwanagana. Mu byembi, endeku eyali ekola nga akabonero k'omukwano gwabwe yamenyekamu wakamu oluvannyuma lw'okubeera nga baakozesa amannyi mannyi nga bali mu kulwanagana. Okulaba ekyava mu mukwano gwabwe n'obutenbenkevu wakati waabwe, abaaliwo baasalawo okutandikawo amazina, agaalina okukola nga ekigata abantu .[3]
Engeri gyebagatambuzaamu ey'obuwangwa
[kyusa | edit source]Amazina ga Tamena Ibuga gazinirwa abasajja n'abakaz, abato n'abakulu, abaagala bbiya asogoleddwa ku kyalo n'amazina g'okunyeenya ebiwato. Amazina gazuukusa essanyu; abazinyi tebalina kulekeraawo kulondoola makungula, nga banywa bbiya n'okuzina.Amazina galimu okunyeenya ebiwatos, nga toyimiriza. Balirwaana bagamba nti abazinnyi tebalina kuyimiriza kunyeenya biwato ng'era balina okubeera nga basobola okubeera nga banyeenya ebiwato.[1]