Thelma Awori

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Thelma Awori Munnayuganda, pulofeesa, yali muyambi w'omukulembeze w'amawanga amagatte era omulwanirizi w'omwenkanonkano mu bakyala. Yazalibwa nga 25, Ogwokusatu 1943, mu Monrovia, Liberia  era nga y'aggya mu Uganda mu 1965.[1] Yali wa kibiina ky'ebyobufuzi ekya Uganda People's Congress, eyawangula ekisinde.[2] Mukyala okuva mu Africa akiririza mu mwenkanonkano, obwenkanya n'okuwa ekitiibwa ebiteeso n'ensonga z'abakyala. Yasanga embeera eyali yasaasanyizibwa wonna ey'obukosefu ku bwongo obwali buva ku ddini n'embeera abantu mwebawangalira.[3][4]

Emisomo gye[kyusa | edit source]

Yasomera ku Harvard University nga yafuna Diguli mu nsonga z'abulijjo n'ebyobuwangwa eya Bachelor of Arts cum laude Social Relations & Cultural Anthropology. Ku University of California mu Berkeley, yafuna Diguli ey'okubiri mu busomesa n'embeera z'abantu (Master of Arts Adult Education & Humanistic Psychology).[5] Yafuna PhD mu 2006 okuva ku Columbia University mu New York City.[5]

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Abeera mu Uganda era nga akola okwetoloola Ssemazinga wa Africa. Musomesa eri abo abasoma okusoma kw'obukulu ng'atumbula okumanya m abantu eri obutali bwenkanya mu by'ensimbi. Thelma musomesa mutendeke. Yaweerezaako ng'omumyuka wa Dayilekita ku UNIFEM okuva mu 1990. Yawwebwa omulimu ng'akulira UNIFEM, New York. Yakolako nga ey'ebuuzibwako mu UNIFEM, ILCO ekya Netherlands, United Nations Children's Fund, ne United States Agency for International Development, okuva mu 1981. 

Thelma yakola ng'omukulembeze w'akakiiko k'ebyempuliziganya n'ebyenjigiriza, World Association for Christian Communication, London, 1977–1981. Okuva mu 1973 okutuusa 1977, yaweereza nga Lekikyala ku ssomero elisomesa abantu abakulu saako n'abo abasomera ewala ku University of Nairobi, Kenya. Wakati wa 1965–1972 , ye yali omusomesa omukulu ku Centre for Continuing Education, Makerere University, Uganda nga yali asomesa ssomo lya Sociology. Yamala ekisanja ky'amyaka ebiri ng'awereza ng'omumyuka w'akulembera ekitongole kya Amawanga amagate.[6]

Yakulira e ttendekero elisomesa enkyuka kyuka y'abantu eya Institute for Social Transformation (IST), era aweereza nga abudaabuda abantu mu Gavumenti ya Liberia mu Uganda. Yaweerezaako ng'omumyuka w'omukulemeze nga yavunanyizibwa ku UNDP’s Africa Bureau esangibwa mu New York.[7][8][9] Thelma Awori ye ssentebe w'akakiiko ka Africa Leadership Institute.[7] Ye yasimibwa nga Honorary Consul owa Liberia mu Uganda.[10]

Ye yali omumyuka w'akulira ekitongole ky'Amawanga amagate era nga ye Dayilekita wa Regional Bureau for Africa eya pulogulaamu y'ebyenkulakulana mu kitongole ky'amawanga amagate ekya UN Development Programme (UNDP).[11][12] Yaweereza mu kitongole ky'Amawanga amagate okumala emyaka 12, ng'amyuka Dayilekita wa UNIFEM era nga kalabaalaba w'enkola za UN mu Zimbabwe. Okuva mu 1965, yetaba mu kisinde ky'abakyala mu Uganda ekyali kirwanirira omwenkano nkano era y'ensonga lwaki nga 8 Ogwokusatu 2018, yali omu ku bakyala 10 abasiimibwa era olw'okutumbula Uganda mu bisaawe eby'enjawulo naddala ku ddembe ly'obuntu mu Ggwanga.

Ye Sentebe omutandiisi era amyuka pulezidenti w'ekitongole kya Sustainable Market Women's Fund, Liberia ng'akyatuumibwa (Sirleaf Market Women's Fund) nga kitutumudde obutale bw'abakyala obusoba mu 15,000 mu Liberia

Obuvunanyizibwa obulala[kyusa | edit source]

Mmemba mu kibiina kya Membership of African Association for Literacy and Adult Education, Nairobi, ne American Society for Training and Development. Mmemba ku kakiiko ka African Women's Leadership Network nga ye mukubiriza wa pulogulaamu eziyitimusa abakyala mu by'obulimi saako n'okuyamba ku bakyala abasuubuzi b'omu butale okwetoloola ensi yonna.

Ebimukwatako eby'omunda[kyusa | edit source]

Yali mufumbo eri Aggrey Awori eyali Minisita w'amawulire n'ebyempuliziganya mu Kabinenti ya Uganda okuva nga16 Ogwokubiri 2009 okutuusa 27 Ogwokutaano 2011. Aggrey Awori ne Thelma Awori basisinkanira ku Harvard University, US, mu myaka gya 1960 nga bakyalli bayizi ku Harvard University.

Laba na bino[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

  1. https://www.monitor.co.ug/uganda/oped/commentary/in-honour-of-10-ugandan-women-of-foreign-origin-1743126
  2. https://web.archive.org/web/20150413225108/http://www.newvision.co.ug/D/8/12/673643
  3. http://www.africanfeministforum.com/thelma-awori/
  4. https://chuss.mak.ac.ug/news/content/women%E2%80%99s-day-public-dialogue-%E2%80%93-men-urged-treat-women-allies-not-subordinates
  5. 5.0 5.1 http://gess.msu.edu/Speaker/ThelmaAwori
  6. https://harvardmagazine.com/2000/11/election-special.html
  7. 7.0 7.1 https://tbinternet.ohchr.org/_layouts/15/treatybodyexternal/TBSearch.aspx?SymbolNo=CEDAW&ctl00_PlaceHolderMain_radResultsGridChangePage=920
  8. "Archive copy". Archived from the original on 2023-06-03. Retrieved 2024-04-06.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  9. https://tbinternet.ohchr.org/_layouts/15/treatybodyexternal/TBSearch.aspx?SymbolNo=CEDAW&ctl00_PlaceHolderMain_radResultsGridChangePage=920
  10. https://www.consulate-info.com/consulate/30931/Liberia-in-Kampala
  11. (171–173). {{cite journal}}: Cite journal requires |journal= (help); Missing or empty |title= (help)
  12. https://digitallibrary.un.org/record/403814?ln=en

Lua error: Invalid configuration file.