Tophace Kaawa

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Tophace Byagira Kaahwa, (yazaalibwa nga 1 Ogw'omwenda 1974). Mukyala musomesa era munnabyabufuzi mu Uganda, era nga yaakola nga yaakiikirira eggwanga mu Japan.[1]

Gyebuvuddeko yeeyabadde Mmemba wa Paalamenti owa Disitulikiti ya Hoima mu Paalamenti ey'ekkumi (2016–2021). Yaweerereza mu kifo kyekimu ne mu Paalamenti ey'omwenda (2011–2016).[2]

Obuto bwe nookusoma kwe[kyusa | edit source]

Kaahwa yazaalibwa mu Disitulikiti y'eHoima, mu kitundu Ky'obugwanjuba bwa Uganda, nga 1 Ogw'omwenda gwa 1974. Yasomera ku ssomero lya Kihabwemi Primary School okutuusa lweyamala ekibiina Eky'omusanvu. Oluvannyuma yadda ku Ikoba Girls' Secondary School, era eno gyeyatuulira ebigezo bya Siniya ey'okuna era gyeyafunira ne Satifikeeti y'okumaliriza Siniya Ey'okuna.[2]

Mu 1994, yaweebwa ekifo mu ssomero lya Bulera Core Primary Teachers' College, nga lino lisomesa basomesa ba Pulayimale era yatikkirwa mu mwaka gwa 1996, ne Satifikeeti y'obusomesa ey'eddaala ery'okusatu. Oluvannyuma yawebwa ekifo mu Ssettendekero wa Kyambogo, era eno yasoma Dipulooma mu busomesa mu mwaka gwa 2003, era oluvannyuma yafuna Diguli mu Busomesa mu mwaka gwa 2008. Mu 2013, yafuna Diguli Ey'okubiri mu Busomesa wamu nendala mu Ku pulaaninga n'okuddukanya era nga eno yagijja ku Yunivaaite ya Uganda Christian University, mu Disitulikiti y'eMukono .[2]

Okukola kwe[kyusa | edit source]

Yatandikira mu kusomesa ku ddaala lya ppulayimale era yatandikira mu ssomero lya Katereiga Primary School wamu ne St. Aloysius Primary School, era eno yasomesa okutuusa nga 1998. Mu 2005, oluvannyuma lwokufuna Dipulooma okuva ku Kyambogo University, yalondebwa ku kifo Ky'omumyuka w'omukulu w'essomero lya Bunyoro Catholic School, erisangibwa e Kigaaya. Oluvannyuma yafuuka Omukulu w'essomero lya Haibale Primary School, era eno yakolerayo okutuusa mu mwaka gwa 2006.[2]

Okuva mu 2006 okutuusa mu 2010, yali akola omuyabi w'abasomesa ku Ttendekero lya Bulera Core Primary Teachers' College, era eno yali akola nga Omumyuka W'omukulembeze walyo mu 2008.[2]

Omulimu gw'ebyobufuzi[kyusa | edit source]

Mu 2010, yeegatta mu by'obufuzi by'eggwanga. Yeetaba era naayita mu kusunsulwamu era naawangula munne Beatrice Byenkya ezaali wansi weekibiina kya Nationa Resistance Movement mu Disitulikiti y'eHoima mu zaabakyala.[3] Yawangula mu kalulu kaawamu era naddamu naalondebwa mu 2016.[2]

Bweyali akola mu Paalamenti yali ku bukiiko obwenjawulo omwali akokusasula abakulu obusiimo, aka State Authorities & State Enterprises (COSACE), n'akakola ku nsonga Z'obulimi era Naakobwenkanya.[2][4]

Laba na bino[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]

  1. "Archive copy". Archived from the original on 2022-09-28. Retrieved 2024-03-25.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. 2.0 2.1 2.2 2.3 2.4 2.5 2.6 https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=432
  3. https://ugandaradionetwork.com/story/hoimas-beatrice-byenkya-discards-poll-results
  4. https://nilepost.co.ug/2019/09/27/nrms-businge-takes-hoima-seat/

Ebibanja ebirala ku mutimbagano[kyusa | edit source]