Tshila

Bisangiddwa ku Wikipedia

Tshila yazaalibwa mu Gwomukaaga nga 10 mu 1983, nga Munayuganda omuyimbi, omuwandiisi w'ennyimba, omukubi w'ebivuga ng'ate afulumya b'ennyimba.[1]

Ebimukwatako[kyusa | edit source]

Tshila yazaalibwa mu Kampala, e Uganda.[2] Teyakulira mu famire eyalimu abanyumirwa myuziki era teyagendako musomero liyigiriza bya myuziki, ng'akyali muyizi muto mu Uganda.[3] Yamaliriza Diguli ye mu bya kompuyuuta mu ggwanga lya Amerika, oluvannyuma n'akomawo wano mu Uganda, gyeyatandika okulakulanya ekitone kye mu bya myuziki.[4]

Emirimu gye mu myuziki[kyusa | edit source]

Nga akomyewo e Uganda, yatandika okukola myuziki nga ekimu kutandikwa y'ekibiina kye kyeyalimu ekyali kiyimba myuziki ow'ekika kya hip-hop ekyali kiyitibwa Bataka Squad. Nga asikiriziddwa ebyo byeyali agenda okuyitamu ng'ali mu myuziki, yeeyigiriza okusuna endoongo, n'atandika okufuna obumannyirivu ng'akozesa amaloboozi ge. Yakwata era neyeefulumiza olutambi lwe olwali lusookera ddala, nga luyitibwa, ''Sipping From the Nile'', mu 2066 .Olutambi luno lwafuna okumannyikwa okuva mu boogera n'okutegeera ebya myuziki okwetoloola ensi yonna. Mu 2007, omukutu gwa BCC World Service kwategeka okuzuula ebitone, negumuteeka kulukalala lw'abayimbi 20 abaali tebanaba kuwandisibwa munsi yonna.[5]

Tshila yayimbira nga ku bikujuko by'ensi yonna mu Zanzibar wamu ne Senegal, nga kuno kweyateeka okugenda mu Bulaaya, ng'avugirirwa aba Minisitule ya Austria ey'oby'obuwangwa. Myuziki we gweyatabika nga mu ebivuga ebikwata ku mwoyo yali wa kika kya hip-hop, myuziki wa Afrika ow'ekinaansi, jazz, ng'era yali ayogera ebigambo by'ebitontome, kyaletera abalabi okunyumirwa engeri gyeyali ayimbamu ey'enjawulo. Yakolako oluyimba ne Jonny Strange owa Culcha Candela and Stereotype okuva mu kibuga Vienna eky'eggwanga lya Austria. Yafuuka omubaka w;ekibiina kya Afrika Rise Foundation n'ekyali kiyitibwa Bavubuka Foundation, nga kino kiwa abavubuka abatalina mwasirizi engeri y'okwegya mu bwanvu nga bayita mu myuziki wamu n'ebigenderwaako ngebifannanyizi .[6]

Mu 2017, yayimbirako ku bikujuko bya Kennedy Center Millennium Stage eWashington, DC.

Tshila yaddamu okugenda mu situdiyo mu 2018 okukwata n'okufulumya olutambi oluyitibwa ''World in Crisis''. Olutambi luno lwalimu obubaka obwali bugenda eri ensi nga bulaga embeera abantu gyebayitamu ebanyigiriza, n'engeri y'okubigonjolamu. Ayasanguza embeera abantu gyebayitamu mu bintu gyebabeera ebanyigiriza munsi yonna, nadala okuva ku mukyala ku semazinga wa Afrika. Afaayo nnyo kunsonga ezinyigiriza abafirika wamu n'abantu abalina laangi y'emu munsi yonna..

Ekirubirirwa kya Tshila kwekutondawo ennyimba ezisikiriza kibeere kyamaanyi mu kukyusa abantu mungeri enungu munsi yonna.

Ennyimba zze[kyusa | edit source]

  • Mu 2007, yafulumya olutambi lwa Sipping From The Nile
    • Ennyimba eziriko;
      • 01 Intro
      • 02 Namboozo
      • 03 Ca Suffit
      • 04 Interlude
      • 05 Nkole Sente
      • 06 Omubbi Waakuno
      • 07 Sipping From the Nile
      • 08 Scientific Love
      • 09 Beera Nange
      • 10 Interlude
      • 11 Buli Shesi Nghola
      • 12 Outro
  • Mu 2018 yafulumya olutambi oluyitibwa; World in Crisis[7]
    • Enyimba eziriko;
      • 01 Intro – Never Exisisted
      • 02 World in Crisis
      • 03 Interlude – Keep Calm and Sell Out
      • 04 The Way It Is
      • 05 Revolution Now
      • 06 Not Alone
      • 07 Khube Atwela
      • 08 City of Lights
      • 09 A Girl Has No Name
      • 10 Medicine
      • 11 Dear God
      • 12 Water

Abamawulire[kyusa | edit source]

  • Omukutu gwa BBC World Service gwafulymya nga gugamba ''omuyimbi okuva mu Uganda alina entegeka z'okulwanyisa obutabanguko munsi yonna" Mu Gwokusatu 14 mu 2019
  • Aba PRI's The World baafulumya nga bagamba, " Omuyimbi okuva e Uganda ono teyayigirizibwa bulungi,’ Nkola ya Lauryn Hill" mu Gwokusatu nga 12 mu 2019
  • Omukyu gwa leediyo ya WDIY 88.1 FaMa gwagamba nti, " Omuyimbi enzaalwa za Uganda era awandiika ennyimba Tshila ali mu kyuka kyuka" mu Gwokusatu nga 6 mu 2019
  • Omukutu gwa Nile Post gwafulumya nga gugamba nti " Tshila okulwanyisa obutabanguko munsi yonna kufulumye" mu Gwekumineebiri nga 3 mu 2018
  • Omuku gw'amawulire ga BBC gwafulumya nga gugamba, " Ebivuga bya Afrika: Tshila" mu Gwokuna nga 5 mu 2012

Ebijuliziddwaamu[kyusa | edit source]

  1. https://www.montgomerynews.com/perkasienewsherald/news/singer-songwriter-tshila-performs-at-perkasie-first-fridays/article_5a8cdc88-d0de-11e9-b8b0-3b53a1e2e5a9.html
  2. https://mbu.ug/2019/06/14/ugandan-singer-sarah-tshila-to-perform-at-north-americas-musikfest/
  3. https://morristowngreen.com/2019/06/24/tshila-buddy-guy-southside-johnny-to-highlight-busy-week-of-summer-entertainment-in-greater-morristown/
  4. https://www.pri.org/stories/2019-03-12/ugandan-rapper-was-miseducated-lauryn-hill-style
  5. https://www.pri.org/stories/2019-12-18/worlds-favorite-music-albums-2019
  6. https://www.musicinafrica.net/magazine/5-female-artists-redefining-ugandan-music-scene
  7. https://www.pri.org/stories/2019-12-18/worlds-favorite-music-albums-2019
  •  

Ewalala w'oyinza okubigya[kyusa | edit source]