Ttino (Tin)
Gakuweebwa Charles Muwanga !!! Atomu ya Ttino (Tin atom)
Okufaanana ebyuma ebirala, ttino y’emu ku atomu enzito. Buli kaziba ka ttino kaba n'obukontanyo 50 ne nampawengwa 50 mu buziizii. Okufaanana n’ebyuma ebirala, obuziba bwa ttino bwonna bukolebwa munda mwa njuba enkadde eziba zifuuse semufu.
Ku nsi ttino ndagakintu(element) ya bulijjo era yegatta ne molekyo za okisigyeni okukola olwazi olukoleevu (igneous rock) oluyitibwa kasiteraati (cassiterite), olutera okusengibwa ne golanayiti (granite).
Tufuna ttino nga tusekula kasiteraati ne tumukalirira mu ttanuunu oba oveni. Ttino asaanuukira ku tempulikya za wansi ddala, ekitegeeze nti oyinza okusaanusa ebiyinja bya ttino mu muliro gw’enku ogwa bulijjo.
Okufaanana n’ekikulembero (lead), ttino agonderera nnyo, kino ne kitegeeza nti ayinza obutaba wa mugaso nnyo, naye bw’ogattika ttino ne kkopa ofuna “bbulonzi” (bronze), kino nga ky’ekyuma ekyasooka okukozesebwa abantu okukola ebikozesebwa n’ebyokulwanyisa.
N’olwekyo mu mulembe gwa bbulonzi, ttino kyali kyuma kya mugaso nnyo, naye kyagenda kiddirira abantu bwe batandika okukozesa kkalwe.
Mu mulembe ogw’amakkati, abantu bagattanga ttino ne kkopa omutonotono, antimoniya, n’ekikulembero okukola pewuta (pewter), ekyuma eky’omutindo ogwa wansi ekifaanana nga siriva, okukola ebyefananyirizaako ebikozesebwa awaka ebya siriva n’ebikompe.
Ku mulembe guno, ttino akozesebwa okusinga okubikka akabubi ku siriva mu bukebe bwa supa oba ebijanjaalo eby’obukebe, okuziyiza obukebe okutalagga. Abantu kye bayita foyilo wa ttino kyakolebwanga mu ttino naye kati foyiro akolebwa mu aluminaamu (aluminum).