Ttoli mwavu

Bisangiddwa ku Wikipedia

Toli mwavu[kyusa | edit source]

Lekera awo okwekubagizanga buli kiseera nga bw'ogamba nti ssente zaabula ng'ate abalala bayoola njoole, ky'oyina okukola kwe kwojiya obwongo bwo naawe n'otandika okuziyoola.

Abantu bangi balowooza nti ssente ziri mu bibuga bwe batyo bakitawe abavubuka abasinga ne batunda ebibanja bya bakitaabwe ne bagulamu boodabooda bambi ne badda mu bibuga eky'ennaku mu bbanga ttono nnyo ne babakuba obutayimbwa ne bafa.

Toli mwavu wabula omutwe gwo gwe mwavu.Abagagga be weegomba abasinga ensimbi baziggya mu kulima,

Yiga engeri gy'olimamu obutiko oyoole omudidi gw'ensimbi.

Ebintu bingi biriko ssente gamba nga; Obutiko, Katunguluccumu, Kasooli, Bijanjaalo, kalitunsi n'ebirala nkuyanja.

Lunda obugubi, ebyennyanja n'enkoko oyoole ssente ezitayina ayina mu bbanga ttono nnyo ate nga byetaagisa ssente ntono nnyo okutandika n'okulabirira.

                                    OGIRA OKYASUMAGIRA NG'ABALALA BAGAGGAWALA