Uganda Law Society

Bisangiddwa ku Wikipedia

0°20′11″N 32°35′14″E / 0.336283°N 32.587187°E / 0.336283; 32.587187  

Uganda Law Society
Ekika Kibiina ky'abakugu
Omugaso Kulinyisa mutindo mu byamateeka
Headquarters Ekibanja 5A John Babiiha Drive (eky'ali kiyitibwa Acacia Avenue)
Ekifo w'ekisangibwa
Olulimi olutongole Lungereza
Omukulembeze Pheona Wall
Omumyuka w'omukulembeze Ms Diana Angwech
Omuwandiisi Ms Rita Namakiika
Omuwanika Ms Shane Mugenga Musanase
Omukutu gwa Webusayiti www.uls.or.ug

Uganda Law Society (ULS) kibiina ky'abannamateeka ekivunaanyizibwa ku kulondoola omutindo gwa bannamateeka mu Uganda.

Ekigendererwa[kyusa | edit source]

Engombo yaabwe ey'ekigendererwa eri nti: Okugunjawo enkola ey'obukugu mu mu bannamateeka okutumbula n'osobozesa abantu okufuna obwenkanya n'obukulembeze obulungi mu Uganda.

Ekirooto kya ULS kiri: Okubeera ekibiina ky'abannamateeka abakugu mu kutumbula enkola eziyamba abantu okutuusibwako obwenkanya, enkola y'amateeka n'obukulembeze obulungi mu Uganda.

Ebiruubirirwa[kyusa | edit source]

Ekiruubirirwa ky'ekibiina kya Uganda Law Society kiri nti: Okutuusa obuweereza obulungi obw'ebyamateeka eri Bannayuganda n'okugoberera enfuga ey'amateeka.

Enkola okutuukiriza ebirubirirwa bya Uganda Law Society biri: Okutumbula obukugu bwa ba mmemba n'eneyisa ey'ekigunjufu; Okutumbula enkola y'obwenkanya eri abankuseere, n'abantu ab'etaaga obuyambi mu Uganda; Okwetaba mu nkola okutumbula enkola ya mateeka mu Uganda; Okwongera amaanyi mu nteekateeka za ULS okufuuka ekibiina ky'abannamtgeeka eky'omutindo.

Ekibiina kya Uganda Law Society kyatandikibwawo oluvannyuma lw'okuteesa kwa Paalamenti mu 1956.[1] ULS kikulemberwa akakiiko akaliko abakiise okuva mu bitundu bya Uganda ebina.[2] Mmemba mu kibiina kya East Africa Law Society, omuli ba mmemba okuva mu Kenya, Tanzania, Rwanda ne Burundi.[3]

Pulojekiti z'eyatandikawo[kyusa | edit source]

Legal Aid Project (LAP)

Legal Aid Project (LAP) yatandikibwawo ekibiina kya Uganda Law Society mu 1992, nga bafuna obuyambi okuva mu Norwegian Bar Association, okuwa obuyambi mu kutuusa obwenkanya ku bantu abankusere n'abetaaga obuyambi mu Uganda.

Pulojekiti yatandikibwa oluvanyuma lw'okukizuula nti okugyako enkola y'eggwanga ekola ku y'akalabba n'emisango okuweera nga gyetaaga okukolebwako, tewali nkola y'abwerere eya ey'abannamateeka Uganda newankubadde omuwendo gw'abantu mu Uganda guwangaalira mu bwavu era nga tewali nkola yonna ey'okubatusaako obwenkanya.

Okutuusa kakaano, Pulojekiti eno eyabye era ekya yamba nkumi na nkumi z'abaami n'abakyala wamu n'abaana abankuseere okumanya eddembe ly'abwe eri amateeka n'eddembe ly'obuntu.

LAP elina amatabi mu Kabarole, Kabale, Masindi, Jinja, Gulu, Arua, Soroti, Mbarara, Moroto era Ofiisi z'ayo enkulu ziri mu Kampala.

Pulojekiti ya Pro-Bono

Enkola za Pro-bono mu Uganda zagunjibwawo okusinzira nti abantu abasinga mu Uganda bawangalira mu bwavu. Kino kibakugira okufuna obwenkanya olw'ensonga nti tebasobola kufna kisinga olw'emiwendo egiri waggulu. Okusinzira ku nteekateeka y'eggwanga eri obwenkanya, okukwasisa amateeka(JLOS) ekinogaanya nti ebikugira abantu okufuna o bwenkanya mulimu: emisango egitubira, okwebalama ebitongole, enkola ezikugira, obwavu, ebbula ly'abakyala n'abantu babulijjo okufuna enkola z'amateeka. Era ky'ongera okwoleka nti abakyala basisinkana okulemesebwa mu kufuna obwenkanya olw'obutasoma n'okubulwa okumanya ku bikwata ku ddembe lyabwe eri mateeka. Kunkomerero, obwavu obungi n'okukugira entambula eri ekkomo ku nkola z'amateeka wamu n'obutali bwenkanya.

Enkola ya Pro-bono mu Uganda Law Society yatandikibwawo nga pulojekiti ya Uganda Law Society ey'akulemberamu enkolagana ne Esigga eddamuzi n'ensonga za Ssemateeka, (Law Council) nga ewagirwa Legal Aid Basket Fund (LABF) mu 2008. Pulojekiti ekolera mu Disitulikiti y'e Kampala, Gulu, Jinja, Kabale, Kabarole, Masindi, Soroti, Arua ne Mbarara ng'eyita mu mikutu egy'enjawulo egya Legal Aid Project (LAP) ekya Uganda Law Society.

Pulojekiti ya Demokulasiya er enkulakulana (Governance for Development (DGD))

Enkolagana wakati wa Avocats Sans Frontières (ASF) ne Uganda Law Society (ULS) essira ky'alissa ku kukubiriza bannamateeka ku ddembe lya Bannayuganda. Okukola kwa pulojekiti eno kwavujjirirwa nnyo pulojekiti ya DGD.

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

  1. "Archive copy". Archived from the original on 2012-03-22. Retrieved 2023-05-28.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2014-06-06. Retrieved 2023-05-28.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. http://www.ealawsociety.org/

Lua error: Invalid configuration file.