Uganda National Records Centre and Archives

Bisangiddwa ku Wikipedia

Template:Infobox building Etterekero ly'ebiwandiiko ebikadde mu ggwanga erya Uganda National Records Centre and Archive(UNRCA), kizimbe kya Gavumenti ekikulu awakuumirwamu ebiwandiiko bya Gavumenti eby'enkizo. Oluvannyuma lw'okumaliriza ekizimbe kino, ebiwandiiko byatandika okuterekebwamu olwaleero National Agricultural Research Organization (NARO) ekisangibwa Entebbe ekifo abafuzi b'amatwale we baasinziirira okuddukanya emirimu gyabwe.[1][2]

Ekifo[kyusa | edit source]

Ekizimbe kisangibwa ku poloto 8-9 ku luguudo lwa Lourdel okuliraana Wandegeya mu masekkati g'ekibuga kya Uganda ekikulu era ekisinga obunene ekya Kampala kkiromita 2.5 (Mayiro bbiri) mu bukiika kkono bw'ekibuga awasinga okuddukanyizibwa eby'obusuubuzi.[3] Endagiriro z'ekizimbe kino ku mmaapu ze zino: 00°19'56.0"N, 32°34'42.0"E (Latitude:0.332222; Longitude:32.578333).[4]

Ebikikwatako[kyusa | edit source]

Ekizimbe kino kiddukanyizibwa minisitule y'abakozi ba Gavumenti. Abanoonyereza abaagala okukoze ebiwandiiko bino beetaaga olukusa okuva mu kakiiko ka Tekinogiya ne Ssaayansi. Satifikeeti eno ekwetaagisa okusasula wakati wa dolla 50 ne 300 naddala nga obyeyambisa okusoma ku bya Uganda okugeza abayizi abasoma ddiguli ey'okubiri n'eyokusatu. Abayizi abasoma ddiguli esooka mu ssetendekera za Uganda bo tebeetaagisa kusasula ssente yonna, naye beetagisa okufuna olukusa mu buwandiike okuva ku ssetendekero zaabwe gye basomera n'okuva mu kakiiko ka Tekinogiya ne Ssaayansi.[1]

Enzimba[kyusa | edit source]

Omulimu gw'okuzimba ekizimbe gugenda mu maaso era guli ku mitendera egy'enjawulo. Omutendera ogwasooka gwatandika mu 2013 era ne gukomekkerezebwa mu 2015 era kyatwala ensimbi obuwumbi bwa uganda 20.8 mu dolla 5.8, okukozesa USh20.3 mu dolla US$5.7 ebbanja okuva mu kitongole kya International Development Association (IDA) okuyita mu World Bank.[2] Omutendera ogw'okubiri gusuubirwa okutwala USh28.6 billion n'obukadde US$7.9. Okugeragerenya kwa USh5 billion n'obukadde US$1.2 ze zeetagisa okutwala omulimu guno mu maaso. Ekizimbe kikolebwa kikolebwa mu mitendera lwa bufunda bwa nsawo.[2] Kampuni ya Chaina ezimba eya China Railway Jianchang Engineering Company era ye yaweebwa omulimu ogw'okuzimba omutendera ogwasooka, ate aba Mutiso Menezes International be baali ba kalabalaba b'omulimu guno.[1]

Laba na bino[kyusa | edit source]

  • Enkalala z'ebizimbe ebisinga obuwanvu mu Kampala

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]