Jump to content

User:Ssenkungu ivan

Bisangiddwa ku Wikipedia

Mwami Ssenkungu Ivan musajja enzaalwa y'e Mityana mu Ssingo. Azaalibwa omwami Ssaalongo Kimbowa Andrew ne Nnaalongo Imerida Nabbosa Kisoso ab'e Mityana mu Ssingo. Yazaalibwa mu mwaka gwa 1995 era nga musajja musomesa w'olulimi Oluganda omutendeke okuva mu Ssettendekero ya Makerere. Asomesezzaako olulimi Oluganda mu masomero nga Kitende S.S ne Ourlady of Fatima S.S. Mwami Ssenkungu mwagazi wa lulimi Oluganda era mwetegefu okulafuubana wamu n'okukola kyonna ekyetaagisa okulaba nga olulimi Oluganda lutuuka ku ddaala eriddako. kino asuubira nti alina okusinziira wamu n'okweyama okulaba nti buli kintu kyonna ekikwata ku lulimi luno akyenyigiramu okusobola okulaba nti atuuka ku kiruubirirwa kye. Mwagazi nnyo ow'ebintu eby'enjawulo okuli omupiira ogw'ebigere n'ebyobufuzi.

Wikigap