User talk:Tonny Ineza

Page contents not supported in other languages.
Bisangiddwa ku Wikipedia

Hi! Could you translate the following terms into Luganda, please?

  • Vital articles
  • Geography
  • History
  • Science
  • Mathematics
  • Biology
  • Country
  • Name
  • Area
  • Population
  • Capital
  • Flag

Thanks for your help. --Katxis100 (talk) 11:41, 1 Gwamunaana 2015 (UTC)[reply]


Vital articles = Emboozi ez'omugaso Geography = Enfaanana y'ensi History = Ebyafaayo Science = Ssaayansi Mathematics = Okubala Biology = Enkula y'ebiramu Country = Eggwanga Name = Erinnya Area = Ekifo Population = Obungi bw'abantu Capital = Ekibuga ekikulu Flag = Bbendera

--Tonny Ineza (talk) 20:25, 1 Gwamunaana 2015 (UTC)[reply]


Could you please translate the following terms?

  • Ghana is a country in Africa. - Ghana ggwanga mu Afirika
  • Africa is a continent. - Afirika ssemazinga.
  • Countries of Africa - Amawanga g'Afirika
  • History of Africa. - Ebyafaayo bya Afirika
  • History of Uganda. - Ebyafaayo bya Uganda
  • City - Ekibuga
  • Map - Maapu
  • Region - Ekitundu
  • Administrative region - Ekitundu ekifugibwamu
  • District - Disitulikiti
  • Country - Eggwanga
  • Municipality - Munisipaali

If the word area is used in terms of measurement it is translated as obugazi.

Thanks for you help. --Katxis100 (talk) 10:38, 2 Gwamunaana 2015 (UTC)[reply]

Does that mean that the category for countries should be something else than Category:Ensi (which is urrently used). Ainali (talk) 19:08, 2 Gwamunaana 2015 (UTC)[reply]

These words are commonly used interchangeably but the word "eggwanga" is more appropriate for country or nation. The word ensi is more appropriate for "earth" and "world" (In my opinion) For example the president is omukulembeze w'eggwanga, the national anthem is oluyimba lw'eggwanga. --Tonny Ineza (talk) 09:17, 3 Gwamunaana 2015 (UTC)[reply]

Translation[edit source]

Could you please translate this into Luganda?

Ugandans were hunter-gatherers until 1,700-2,300 years ago. Bantu-speaking populations, who were probably from central Africa, migrated to the southern parts of the country. These groups brought and developed iron-working skills and new ideas of social and political organisation. --Katxis (talk) 11:20, 3 Gwamunaana 2015 (UTC)[reply]

(Remember there were no Ugandans until the colonialists divided our continent into countries in the 1900s. however, I will go ahead and translate) Bannayuganda baabanga bayizzi ko n'okunoonyanga eby'okulya mu bibira mu myaka wakati wa 1,700 ne 2,300 emabega. Abantu abateeberezebwa okuba nga baasibuka mu massekkati g'afirika, be baasenga mu bukiika kkono bw'eggwanga lino. Ebibinja by'abantu bino byaleeta era n'okugunjaawo amagezi ag'okuweesa, n'amagezi amaggya mu by'obukulembeze n'embeera z'abantu. --Tonny Ineza (talk) 20:46, 3 Gwamunaana 2015 (UTC)[reply]


I know, however, the current state is the heir of the colonial administration. Could you pleae translate this phrases as well?

Buganda has a long and extensive history. Unified in the fourteenth century under the first king Kato Kintu, the founder of Buganda's Kintu Dynasty, Buganda grew to become one of the largest and most powerful states in East Africa during the eighteenth and nineteenth centuries. During the Scramble for Africa, and following unsuccessful attempts to retain its independence against British imperialism, Buganda became the centre of the Uganda Protectorate in 1894; the name Uganda, the Swahili term for Buganda, was adopted by British officials. Under British rule, many Baganda acquired status as colonial administrators, and Buganda became a major producer of cotton and coffee.

This article is about the Buganda kingdom, I think it is better to talk about both the Buganda kingdom and Uganda as a state. --Katxis (talk) 07:35, 4 Gwamunaana 2015 (UTC)[reply]

Buganda erina ebyafaayo bingi ebiviira ddala eyo mu mirembe egyedda ennyo. Ssekabaka eyasooka kato kintu ye yagireetera okwegatta awamu eyo mu kyasa eky'ekkumi n'ennya, era nga y'eyatandikawo ennono y'Abaganda bazzukulu ba Kintu. Buganda yagenda yeeyongera amaanyi n'efuukira ddala obwakabaka obumu ku businga obunene n'okuba obw'amaanyi mu buvanjuba bwa Afirika wakati w'ekyasa eky'ekkumi n'omusanvu n'kyekkumi n'omwenda. Mu biseera by'obufuzi bw'amatwale, Buganda yagezaako okulwana obutaggyibwako bwetwaze naye Abangereza ne bagisinza amaanyi. Bwekityo nno Buganda yafuulibwa entabiro y'obufuzi bw'amatwale mu Uganda mu mwaka gwa 1894. Erinnya Uganda, mu luswayiri eritegeeza Buganda abangereza lye baasalawo okuyita ettwale lino. Mu bufuzi obw'amatwale Abaganda bangi baafuna obwami obw'okuba ababaka b'abafuzi b'amatwale mu bitundu eby'enjawulo era Buganda yayitimuka nnyo mu kulima ppamba n'emmwanyi. --Tonny Ineza (talk) 20:34, 4 Gwamunaana 2015 (UTC)[reply]

Translation[edit source]

Could you please translate this?

Following Uganda's independence in 1962, the kingdom was abolished by Uganda's first Prime Minister Milton Obote in 1966. Following years of disturbance under Obote and dictator Idi Amin, as well as several years of internal divisions among Uganda's ruling National Resistai.nce Movement under Yoweri Museveni, the President of Uganda since 1986, the kingdom was officially restored in 1993. Buganda is now a kingdom monarchy with a large degree of autonomy from the Ugandan state, although tensions between the kingdom and the Ugandan government continue to be a defining feature of Ugandan politics.

Thanks for your help. --Katxis100 (talk) 07:21, 5 Gwamunaana 2015 (UTC)[reply]

Oluvannyuma lwa Uganda okufuna obwetwaze mu mwaka gwa 1962, obwakabaka bwa Buganda bwaggyibwawo Ssaabaminista wa Uganda omubereberye Milton Obote mu 1966. Oluvannyuma wajjawo obufuzi obubi ku mulembe gw'Obote ne nnaakyemalira Idi Amin n'emyaka egy'okweyawulayawulamu mu kibiina ekiri mu bukulembeze ekya National Resistance Movement ekikulemberwa Yoweri Museveni, akulembedde eggwanga erya Uganda okuva mu 1986 era nga yeeyazzaawo obwakabaka mu butongole mu mwaka gwa 1993. Kaakano Buganda bwakabaka obutambulira ku bukulembeze obw'ennono era nga erina obwetwaze obw'ekigero okuva ku gavumenti eya wakati. Kizibu okwogera ku by'obufuzi mu Uganda n'otoyogera ku bugulumbo wakati wa gavumenti eya wakati n'ey'emengo. --Tonny Ineza (talk) 21:29, 5 Gwamunaana 2015 (UTC)[reply]

Translation[edit source]

Could you please translate this?

Since the restoration of the kingdom in 1993, the king of Buganda, known as the Kabaka, has been Muwenda Mutebi II. He is recognised as the thirty-sixth Kabaka of Buganda. The current queen, known as the Nnabagereka, is Queen Sylvia Nagginda.

Thanks for your help. --Katxis (talk) 06:19, 6 Gwamunaana 2015 (UTC)[reply]


Okuva obwakabaka lwe bwaddizibwawo mu 1993, Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II y'abadde alamula Obuganda na guno guliko. Ye Kabaka ow'amakumi asatu mu omukaaga mu lubu lwa bassekabaka ba Buganda. Nnaabagereka aliko ye Maama Sylvia Nagginda.

Translation[edit source]

Could you please translate this?

Much of the south of the country is poorly drained and heavily influenced by one of the world's biggest lakes, Lake Victoria, which contains many islands. It prevents temperatures from varying significantly and increases cloudiness and rainfall. Most important cities are located in the south, near Lake Victoria, including the capital Kampala and the nearby city of Entebbe.

Thanks for your help. --Katxis (talk) 07:38, 11 Gwamunaana 2015 (UTC)[reply]

Ebitundu ebisinga mu bukiika kkono bw'eggwanga lino birimu emigga egikulukuta nga gidda ku nnyanja Nnalubaale, emu ku zisingayo obunene mu nsi yonna era nga erimu ebizinga nkumu. Ennyanja eno teganya bbugumu kulinnya nnyo oba okukka ennyo era ekola kinene nnyo okuleetawo ekiddedde n'enkuba. Ebibuga ebisinga obukulu biri mu bukiika kkono okuliraana ennyanja Nnalubaale nga mwe muli n'ekibuga ky'eggwanga ekikulu Kampala n'ekirala ekiriraanyeewo eky'Entebbe.