Vanessa Nakate

Bisangiddwa ku Wikipedia

Vanessa Nakate (yazaalibwa 15 Ogwekkumin'ogumu 1996) munnayuganda omulwanirizi w'obutonde bwensi.

Obulamu bwe obwasooka[kyusa | edit source]

Nakate yakulira mu bitundu ebiriraanye ekibuga ekikulu ekya Uganda, Kampala. Yakulira mu Kampala era n'afuuka omwatiikirivu mu Ogw'ekkuminebiri 2018 oluvannyuma lw'okweraliikirira ebbugumu eritali lya bulijjo mu ggwanga lye. Nakate yafuna diguli mu by'obusuubuzi mu bwa kitunzi okuva ku Makerere University Business School.

Ebikolwa by'embeera y'obudde[kyusa | edit source]

Yasikirizibwa Greta Thunberg okutandikawo ekibisinde kye ku ky'embeera y'obudde mu Uganda, Nakate yatandika okwegugunga olw'embeera y'obudde eyali etandise okwonooneka mu Ogusooka 2019. Okumala emyezi egiwerako yali yekka nga yeekalakaasa wabweru wa geeti za Palamenti eya Uganda. Mu nkomerero, abavubuka abalala baatandika okuddamu okusaba kwe ku mikutu gy'ebyempuliziganya okuyamba abalala okuleetawo okwetegereza ku mbeera y'ebibira ebye Congo. Nakate yatandikawo ekibiina ekya Youth for Future Africa n'ekibiina ekya Rise Up Movement ekiri mu Afirika.

Mu Ogwekuminebiri 2019, Nakate yayogerera mu lukuŋŋaana lwa COP25 mu Spain, ng'ali wamu n'abavubuka abalwanirira embeera y'obutonde Greta Thunberg ne Alejandro Martínez.

Mu ntandikwa eya Ogusooka 2020, yeegatta ku bavubuka abalala 20 okuva mu nsi yonna okufulumya ebbaluwa eri abo abaali mu World Economic Forum mu Davos, ng'asaba amakampuni, bbanka ne gavumenti okukendeeza ku bikka eby'obulabe ebizivaamu. Yali omu ku bakungu abataano okuva mu mawanga ag'ensi yonna abaayitibwa Arctic Basecamp okwetaba nabo mu Davos mu World Economic Forum; abakungu oluvannyuma beegatta okukumba ku lunaku olusembayo olw'olukuŋŋaana.

Mu Ogw'ekkumi 2020, Nakate yayogera mu Desmond Tutu International Peace Lecture ng'akubiriza abakulembeze b'ensi yonna "okuzuukuka" n'okukkiriza okukyusa embeera y'obudde ng'ekizibu, ng'agikwataganya n'obwavu, enjala, endwadde, obukuubagano n'ebikolwa eby'obukambwe eri abakazi n'abawala. "Enkyukakyuka y'embeera y'obudde kirooto ekikosa ekitundu ku bulamu bwaffe", bw'atyo bwe yagamba. "Tusobola tutya okulwanyisa obwavu awatali kutunuulira kizibu kino? Tusobola tutya okugyirawo ddala enjala nga enkyuukakyuka y'embeera y'obudde ereetera abantu bangi obutaba na kyakulya? Tujja kulaba katyabaga ku katyabaga, okubonaabona oluvannyuma lw'okubonaabona, okubonaabona oluvannyuma lw'okubonaabona (...) singa tewaba kikolebwa ku kino". Era yasaba abakulembeze okuva mu bifo byekwewumuzaamu wabula balabe akabi kebalimu babeeko kyebakikolera. Ensonga eno ekwata ku bulamu n'okufa.

Nakate yatandikawo Green Schools Project, enkola y'amasannyalaze ag'okuddaabiriza, ng'erina ekigendererwa eky'okukyusa amasomero mu Uganda okufuna amasannyalaze ag'enjuba n'okuteekawo sitoovu ezitakosa mbeera ya butonde mu masomero. Mu kiseera kino, pulojekiti yakateekebwa mu masomero agawera amakumi asatu.

Olukungaana ku Loss and Damage mu Scotland Ogwekkumi 2022. Okuva ku kkono okudda ku ddyo: Vanessa Nakate, Nicola Sturgeon ne Elizabeth Wathyti.

Nga 9 Ogwomusanvu 2020 Vanessa Nakate ng'akubaganya ebirowoozo ne Angelina Jolie eyafulumizibwa magazini ya Time ku maanyi n'omugaso gw'eddoboozi ly'Abafirika mu kisinde eky'embeera y'obutonde okufuna obwenkanya. Mu Ogwomunaana, magazini eya Jeune Afrique yamuyita omu ku bantu 100 ab'amaanyi mu Afirika. Mu Ogwomunaana 2020, Vanessa Nakate yeegatta ku eyali Ssabawandiisi w'eikibiina ky'amawanga amagatte Ban Ki-moon ku Forum Alpbach okukubaganya ku kulwanirira embeera y'obudde.

Mu Ogwomwenda, Vanessa yayogera ku lukungaana olwali lugamba nti "Sparking an Era of Transformational Climate Leadership" olw'ekitongole kya World Resources Institute; yayogera ku ndowooza ye mu mboozi eyitibwa "Conversations with Climate Changers" olw'omu Oxfam. Vanessa Nakate yalangirirwa ekitongole ky'amawanga amagatte ng'omukulembeze w'abavubuka nga SDG 13 mu 2020. Nakate yaliko mu kibiina kya OkayAfrica's 100 Women era nga y'emu ku mikutu gy'amawulire okusobola okussa ekitiibwa mu bakazi 100 ab'amaanyi mu nsi ez'ebweru mu mwezi gw'abakyala ogw'ebyafaayo. Nakate yayogerwako ng'omu ku bavubuka mu Afirika abaasinga okuba nga bagobererwa mu 2020 mu YouthLead. Nakate yeyali omwogezi omukulu mu Berlin Energy Transition Dialogue 2021 nga 16 Ogwokusatu 2021 ng'ali wamu n'abakulembeze abalala ab'ensi yonna. Emboozi ye yalimu okuvumirira ekitongole kya German Federal Foreign Office ng'abategesi olw'okwetegereza ebyo abavubuka bye baawandiika ku mbeera y'obudde ebitaakozesebwa ku boogezi abalala abaayitibwa.

Ng'awandiika mu The Guardian mu Ogwekkumi 2021, Nakate agamba nti amawanga n'amakampuni gakoze kinene okuleetawo emikka emibi ng'a gasaana okusasula ensi z'omu Afirika n'ebitundu olw'ofiirizibwa n'okwonoona nga kuva kunkyuukakyuka ey'obudde egaleetedde okubonaabona.

Mu kukubaganya ebirowoozo ne Amy Goodman mu 2019 ku Democracy Now!, Nakate yalaga ekigendererwa kye mbeera y'obudde: "Ensi yange esinga kweesigama ku by'obulimi, n'olwekyo abantu abasinga beesigama ku kulima. N'olwekyo, singa faamu zaffe zikosebwa amataba, singa ennimiro zaffe zikosebwa ekyeeya n'ebirime bitono, kiba kitegeeza nti omuwendo gw'emmere gwa kweyongera. N'olwekyo, y'oyo yekka asinga okuba n'enkizo ajja kusobola okugula emmere. Era be basinga okusaasaanya mu mawanga gaffe, be bajja okugumira ekizibu ky'emmere, so ng'ate abantu abasinga ababeera mu byalo n'ebyalo, balina obuzibu okufuna emmere olw'ebbeeyi y'emmere. Era kino kiviirako enjala n'okufa. Mu butuufu, mu disitulikiti yange, ebbula ly'enkuba litegeeza enjala n'okufa kw'abo abatalina mwasirizi".

Alondeddwa ng'omubaka wa UNICEF.

Endowooza z'eby'obufuzi[kyusa | edit source]

Nakate ali ku kakiiko aka Progressive International, ekibiina ky'ensi yonna ekitumbula eby'obufuzi eby'enkyukakyuuka ku ludda lumu. Avumiridde enkola ey'abantu sekinoomu okufuga eby'enfuna, ng'abiteeka ku ky'okwonoona obutonde bwensi.

Okuggya ku kifaananyi[kyusa | edit source]

Mu Janwali 2020, ekitongole ky'amawulire ekya Associated Press (AP) kyaggya Nakate mu kifaananyi kye yalabye nga kirimu Greta Thunberg ne Luisa Neubauer, Isabelle Axelsson, ne Loukina Tille oluvannyuma bonna beetaba mu World Economic Forum. Nakate yanenya emikutu gy'amawulire olw'okulabika ne kyekubiira mundowooza.[1] Ekitongole kya Associated Press oluvannyuma kyakyusa ekifaananyi ne kiraga nti tewaaliwo kigendererwa kibi, awataali kwetonda. Nga 27 Ogusooka 2020, Sally Buzbee, omusunsunzi omukulu owa AP, yeetonda ng'akozesa omukutu gwe ng'omuntu ogwa tweeter neyetonda okukozesa akuwunti ye ng'agamba nti yali yetonze kulwa AP. Nakate yaddamu nti teyakkiriza bigambo bya AP oba okwetonda kwabwe, n'ayongerako nti: "N'ewankubadde kinnumye ng'omuntu, ndi musanyufu kubanga okubalabisa eri abalwanirizi mu Afirika."...ob'olyawo emikutu gy'amawulire gya kutandika okutunuuliraso ssi nga bwetunaatunulirwa ng'abakosedwa ebizibu by'obudde.".

Awaadi[kyusa | edit source]

Vanessa Nakate n'abalwanirizi abalala mukaaga baaweebwa ebitiibwa mu 2020 Young Activists Summit mu kukubaganya ebirowoozo ku Post-COVID-19 World. Okukuŋŋaanya abantu abasukka mu 8,600 okuva mu mawanga nga 100.

Nakate yali ku lukalala lw'abakyala 100 olwa BBC olwalangirirwa nga 23 Ogwekkuminogumu 2020.

Era yali ku lukalala lwa Time100 Next olwafulumizibwa magazini ya TIME nga 17 Ogwokubiri 2021, era ayogerwako ku ngulu ya TIME's November 8/Noovemba 15, 2021.

Awaadi endala mwe muli:

Ebitabo[kyusa | edit source]

  •   Nakate, Vanessa (28 October 2021). A bigger picture:my fight to bring a new African voice to the climate crisis.London,United Kingdom:Pan Macmillan. ISBN 978-0-3586-5350-6.Hardback edition indicated, 256 pages.

Laba era[kyusa | edit source]

Ebyawandiikibwa[kyusa | edit source]