Jump to content

Vatomu(ion)

Bisangiddwa ku Wikipedia
nitrate ion

Gakuweereddwa Charles Muwanga !! Atomu oba akaziba akasannyalaziddwa kayitibwa vatomu. Akawango akasookeso(prefix) "va-" kalaga nti waliwo okuva(motion) kw'obusannyalazo(electrons)okuva mu kaziba(atomu) akamu okudda mu kalal .

Ekigireetera okusannyalazibwa (to be charged) kwe kuviibwako oba okwongerebwako akasannyalazo(electron). Kimanye nti:

(a) Singa akaziba oba atomu eba n’obukontanyo(protons) bungi okusinga obusannyalazo kabaamu ekisannyalazo oba kyagi eya pozitiivu.

(b) Singa atomu eba n’obusannyalazo bungi okusinga obukontanyo, eba kaziba akalimu kyagi oba ekisannyalazo ekya negatiivu.

Vatomu (ion) eba atomu(akaziba) oba ekibinja ky’obuziba nga omuwendo gw’obusannyalazo tegwenkana na muwendo gwa bukontanyo, ekintu ekigireetera okuba ne kyagi eya pozitiivu oba eya negatiivu.

Vatone (anion) eba vatomu erina kyagi eya negatiivu. Ennukuta “n” mu vatone eraga “obwanegatiivu” bwa atomu eno era eba esikirizibwa ekikopu (=ekikondo ekya pozitiivu=anode), eno nga vatomu eba n’ekisannyalazo ekya negatiivu. Vatopo (cation) eba vatomu (ion) eba ne kyagi eya pozitiivu era ng’esikirizibwa ekikone (=ekikondo ekya negatiivu=Cathode).

Singa vatopo (cation) nga sodiyamu eba eragibwa nga (Na+), kisannyalazo / kyaagi eya ‘+’ egigoberera, eraga nti eba erina akasannyalazo kamu akabulako okusinga omugatte gwa konta gwonna.

Nakyenkanyanjuyi y’obusannyalazo n’obukontanyo obwa kyekubira esobozesa sodiyamu okuba ne kyagi eya pozitiivu. Mu ngeri y’emu vatone (anion) ya kololadi bw’eba eragibwa ne (Cl-), kyagi eya ‘–‘ eraga nti erina atonu eno erina konta emuokusinga omugatte gw’obusannyalazo. Singa akabonero ka ‘+’ oba aka ‘-’ kaba kagobererwa namba nga +4 oba -2, kitegeeza nti atopo erina kyagi eya +4 erina obusannyalazo obuli wansi buna okusinga omugatte gwa konta era atone erina kyagi -2 erina konta bbiri okusinga omugatte gw’obusannyalazo bwonna.