Veronica Namaganda Nanyondo

Bisangiddwa ku Wikipedia

Veronica Namaganda Nanyondo yazaalibwa nga 22 Ogwomusanvu mu 1986 nga munabyabufuzi Omunayuganda akiikirira Disitulikiti ye Bukomansimbi. Agwa mu kibiina ky'ebyobufuzi ekya National Unity Platform (NUP).[1][2][3] Nanyondo yatandika emirimu gye nga munabyabufuzi mu Gwekumineebiri mu 2015 wansi w'ekibiina kya Democratic Party(DP) abaamuwa tikiti oluvannyuma lw'okusikirizibwa muganda we Suzan Namaganda eyafa akabenje k'okuluguudo.[4] Nanyondo esaawa eno ye mukyala Omubaka akiikirira Disitulikiti ya Bukomansimbi nga yafuna obululu 23,815 ekyamutuusa kubuwanguzi.[5] Yalina ayagala okwesimbawo mu kifo ky'Omukyala Omubaka kubanga yali ayagala kwongereza kuzimba kuki muganda we kyeyali yatandika, ng'alowooza yeeyali omuntu omutuufu ow'okumudira mu bigere.[6][7]

Okusoma kwe[kyusa | edit source]

Nanyondo yatuuka ebibuuzo bya P7 mu 1998 ku Kisojjo Primary School. Yeeyongerayo n'afuna ebaluwa ya S4 mu 2002 ku Mende Kalema Memorial S.S. Teyakoma awo, wabula yeeyongerayo n'afuna ebaluwa ya S6 mu 2004 ku St. Andrew Kagwa S.S nga mu kusembayo yafuna Diguli mu Busomesa ku Yunivasite y'e Makerere.[1]

Obumannyirivu mu mirimu[kyusa | edit source]

Nanyondo yatandika eby'emirimu mu 2010 ng'akola ng'akulira bakituunzi mu kampuni eyitibwa okutuuka mu 2011. Okuva mu 2011 okutuuka 2013, nga omusomesa ku St. John S.S e Mukono nga essaawa eno akola ng'akulira eby'emirimu ku kampuni ya Ver Stationaries Limited .[8] Mu biseera by'okulonda okusembyeyo, yategeka okulonda okwa wamu ne bane abala okuva mu kibiina kya NUP gyebafuunira bakyewagula okuva mu kibiina ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement (NRM) gyebategereza poliisi ku lukiiko lwabwe era neebakiriza.[9]

Ebikwata ku famire ye[kyusa | edit source]

Nanyondo mulamu wa Fred Mukasa Mbidde omukiise mu Lukiiko olukola amateeka g'Omubuvanjuba bwa Afrika (East African Legislative Assembly) (EALA).[10] Nanyondo ekitegeeza muganda w'omugenze Suzan Namaganda eyali mukyala wa Mukasa Mbidde.[11]

Byasinga okwenyigiramu[kyusa | edit source]

  • Okugoberera ebigenda mu maaso mu ggwanga Following current affairs
  • Okunoonyereza
  • Okutendereza Mukama Katonda[12]

Ebimusanyusa[kyusa | edit source]

  • Okuyamba abali mu bwetaavu, bamulekwa ne banamwandu
  • Okukola emirimu gyobwa nakyewa
  • Okulwanirira eddembe ly'abantu[12]

Ebijuliziddwaamu[kyusa | edit source]

  1. 1.0 1.1 https://www.parliament.go.ug/mp_database/rpt_mps.php
  2. https://visiblepolls.org/ug/2021-general-election/candidates/nanyondo-veronica-namaganda-10178/
  3. https://theyworkforyou.github.io/uganda-parliament-watch/mp/4a68af8c-c56c-41ed-b3af-7098791e5579/
  4. https://observer.ug/news/headlines/62674-2021-minister-nakiwala-raids-bukomansimbi
  5. https://visiblepolls.org/ug/2016-election/candidates/nanyondo-veronica-namaganda-282/
  6. https://observer.ug/education
  7. https://www.youtube.com/watch?v=K2OPjYn8hMo
  8. https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=255
  9. https://www.independent.co.ug/police-disperse-nup-campaign-meeting-in-bukomansimbi-as-nrm-mobilizers-defect/
  10. http://parliamentwatch.ug/political-heirs-are-an-imminent-threat-to-ugandan-politics/
  11. "Archive copy". Archived from the original on 2023-10-15. Retrieved 2021-04-03.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  12. 12.0 12.1 https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=255