Jump to content

Viboyo

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Viboyo Oweyo, ng'amanya ge amatuufu ye Nsubuga Moses,[1] Munnayuganda muyimbi era Pulodyusa.[2] Akolera mu kibiina ekikwasaganya abayimbi ekya Swangz Avenue.[3] Amanyikiddwa olw'engeri gy'atolontokamu ebigambo bye buli mwaka ( emikolo egy'enjawulo egy'aliwo okumala omwaka.) Yayimbako n'abayimbi abamaanyi nga Radio neWeasel "Nyumbani", Cindy Sanyu, "nyumirwa", Irene Ntale, Mu "Banyilila", "St Nelly Sade in rap up 2018", n'eddoboozi lya Gnl Zamba ly'awulikikako mu luyimba lwe mu 2019.

Mu Kisaawe ky'okuyimba[kyusa | edit source]

Viboyo Oweyo yazaalibwa mu 1984 eri Nsubuga Moses. Yatandiika emirimu gye egy'okuyimba mu 1997 n'enyimba ekika kya hip-hop. Mu 2002 yakyusa n'atandiika okuyimba ennyimba ekika kya Afro-beat era y'afulumya ennymba nga "Owino Muwulire". Yafulumya alubaamu ye eyasooka Boyo's Dream, mu 2005.[4][5]

Yasalawo okuwummuza emirimu gye egy'okuyimba n'asalawo okussa essira ku kuwandiikira abayimbi abalala ennyimba. Yaliko maneja era Pulodyusa w'omuyimbi. Yaddamu okuyimba mu 2010 n'ennyimba nga "Gyembadde", "Muzik" ne "Nyumbani" lwe yayimba ne. Radio and Weasel.[6] Alubaamu ye ey'okubiri eya, Kiwundo Afilliationz (The Masterpiece) yafulumizibwa mu 2014. Alubaamu ye ey'okusatu, Desire, yateekebwateekebwa okufulumizibwa mu 2015.

Enyimba za Viboyo Oweyo zitundibwa aba CDrun International, Kkampuni y'ensi yonna esaasanya ennyimba okuita ku mikutu egy'enjawulo. Ennyimba era zisangibwa ku mikutu nga YouTube, SoundCloud, ne iTunes.

Ennyimba z'eyayimba[kyusa | edit source]

Ennyimba[kyusa | edit source]

  • RapUp 2018
  • RapUp 2017
  • RapUp 2016
  • Music Africa
  • Ajooga
  • Keep Striving
  • Muwulire
  • Love Me Love Me
  • Desire
  • Appetizer
  • Mbikwata Mpola
  • Amulimba
  • Bisima
  • Nyoso Na Motema
  • Survival
  • Sente
  • Banyilila with Irene Ntale
  • Gimme di Title
  • Nyumbani with Goodlyfe Crew
  • Zzina
  • Mukka
  • Pale Pote
  • Tukola
  • We Go
  • Time
  • Nyumirwa
  • Kitoobero
  • Parey
  • Ndi Mu fix
  • Sibawulila with Mun G
  • The Beat

Alubaamu ze[kyusa | edit source]

  • Kiwundo Afilliationz (The Masterpiece), 2014
  • Desire, 2015

Empaka z'eyavuganyamu ne Awaadi z'eyafuna[kyusa | edit source]

Viboyo yalondebwa emirundi egy'enjawulo mu awaadi z'ekisaawe ky'ebyokuyimba. Yawangula Awaadi zino wammanga:

  • HiPipo Music Awards, Best Afropop Song 2012
  • Buzz Teenies, Best Collabo 2012
  • HiPipo Music Awards, Oluyimba kwa Afrobeat olusinze 2013, "Love Me Love Me"

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

  1. http://www.newvision.co.ug/news/659444-viboyo-s-behind-the-scenes-ekitoobero-video-shoot.html
  2. http://allafrica.com/stories/200205030494.html
  3. http://www.swangzavenue.com/index.php?option=com_content&view=article&id=99&Itemid=97
  4. "Archive copy". Archived from the original on 2015-02-17. Retrieved 2024-05-23.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2024-05-23. Retrieved 2024-05-23.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. "Archive copy". Archived from the original on 2016-03-04. Retrieved 2024-05-23.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya[kyusa | edit source]