Victor Mukasa

Bisangiddwa ku Wikipedia

Victor Juliet Mukasa Munnayuganda omulwanirizi w'eddembe ly'obuntu era eyali sentebe w'ekitongole kya Sexual Minorities Uganda (SMUG). Mukasa amanyikiddwa ng'omukazi aganza bakazi banne era y'akulira ekibiina kya Kuchu Diaspora Alliance-USA.

Obulamu bwe[kyusa | edit source]

Mukasa yazaalibwa era n'alangirirwa ng'omuwala era n'akuzibwa Famire y'aba Katoliki enkuukutuvu. Mukukula kwe, yayagalanga nnyo okwambala mu ngeri y'ekilenzi. Nnyina yatandika okuwagira engeri gye yali ayambalu wabula kitaawe yamulowoozako ng'omwana oweffujjo era n'oluusi yamubonerezanga olw'enneyisa eyo.[1]

Yasomera mu masomero g'abisulo ne Uganda Institute of Bankers.[2]

Uganda yafuuka yabulabe eri abantu abasiyazi era Mukasa n'asalawo okugiberera omugendo gw'abantu abalala, yatandika okugenda mu masinzizo wabula yeyongera okwennyika naddala bwebagezaangako okumusabira okusumululwa okugyibwako emyoyo emibi.[3] Oluvanyuma yagezaako okwegyayo mu lwatu wabula y'atandika okuboolebwa. Mukasa yetaba mu kisinde ky'abasiyazi mu East Africa, yali omu ku batandisi b'ekibiina kya SMUG era n'ayambako okutandika ebibiina ebirala omuli Freedom and Roam Uganda and East and Horn of Africa Human Rights Defenders Project.[4]

Mu 2005, Poliisi yabulijjo yalumba amaka ga Victor nga telina lukusa kwaza makage era n'ewamba ebiwandiiko eby'ali bikwata ku bisiyaga. Victor wamu n'abalwanirizi abalala, Yvonne Oyoo bakwatibwa era n'ebasibibwa ku Poliisi. Mu kaseera ok'okwaza amakage, emikutu gy'amawulire mu Uganda, Gavumenti n'abalwanirirzi b'eddembe ly'abalwadde b'akawuka k'amukenenya bawaayo endowooza zaabwe ezivumirira ebisiyaga. Oluvanyuma lw'okuteebwa kwe, yaddukira mu South Africa okumala akaseera. Mu 2007, yakomawo mu Uganda era n'atuuza olukungaana lw'abannamawulire ku nsonga z'eddembe ly'abasiyazi nga yali awagirwa abantu abaali bebisse obukookolo ku bwenyi. Victor yawaayo 'okusaba kwe okussa mu nkola enddembe eribaweebwa mu kawaayiro k'eby'eddembe' nga avumirira okukwatibwa n'okutyoboolwa kwe ne Yvonne.[5] Mu Gwekkuminebiri 2008, Kkooti enkulu yasalawo nti etteeka lya Uganda ery'eddembe ly'obuntu lituukira ddala ku buli Munnayuganda nga mwe muli n'abasiyazi.[6]

Yagenda mu buwanganguse mu South Africa gye yaweereza nga munnamateeka mu kakiiko akalwanirizi k'eddembe ly'obuntu aka Cape town office of International Gay and Lesbian Human Rights Commission.

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

  1. Underhill, Glynnis (May 13, 2011). "The tide of intolerance must turn". Mail & Guardian.
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2017-03-26. Retrieved 2023-05-19.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. http://africanhomosexuality.weebly.com/people.html
  4. https://en.wikipedia.org/wiki/Special:BookSources/9780816692743
  5. Ekine, Sokari. "'Maroon the gays': Ugandans facing a barrage of discrimination." New Internationalist, Jan.–Feb. 2008, p. 33.
  6. Frank, Liz. "Moving towards all human rights for all!" Sister Namibia, vol. 21, no. 1, 2009, p. 24+