Jump to content

Victoria Kakoko Sebagereka

Bisangiddwa ku Wikipedia
Bweranyangi Girls' Senior Secondary School

Victoria Kakoko Sebagereka (17 Kasambula 1946 – 4 Ogwomunaana 2021) yali munnamateeka wa Uganda, munnabyabufuzi era omulwanirizi w'akawuka ka siriimu. Yaweereza ng'omubaka omukyala mu palamenti owa disitulikiti y'e Kayunga mu Palamenti ya Uganda ey'omusanvu.

Ebyafaayo n'obuyigirize

[kyusa | edit source]

Sebagereka yazaalibwa Bernard Kakoko n'Omumbejja Agnes Nkwenge Bagaya Kakoko (eyali amanyidwa nga Anne Mega).

Yasomera Kasukuru Palace Nursery ne Kyebambe Primary School nga tannagenda ku Bweranyangi Girls Senior Secondary School. Yamaliriza emisomo gye egya siniya ku Maryhill High School e Mbarara.[1]

Yasomera mu London College, Bungereza n'oluvannyuma mu Kianda College, Kenya era n'afuna ebisaanyizo eby'obwa Kalaani.

Omulimu

[kyusa | edit source]

Okulwanyisa ebikolwa ebinyigiriza eddembe ly'obuntu

[kyusa | edit source]

Kakoko yaweereza nga ssentebe w'olukiiko lw'abakyala mu 1986. Ng'omu ku baategeka olukiiko lw'ensi yonna olw'eby'obulamu bw'abakyala ku Gayaza High School mu 1990, yayita omugenzi Philly Bongole Lutaaya okwogera mu lukiiko ku mbeera ye eya HIV/AIDS.

Oluvannyuma yeegatta ku The AIDS Support Organisation (TASO) ng'omubaka.

Eby'obufuzi

[kyusa | edit source]

Mu kulonda kwa Uganda okwa 1994 mu Uganda Constituent Assembly, Sebagereka yalondebwa ng'omubaka akiikirira Mukono. Mu kiseera kino, yaweereza ku kakiiko k'abasajja 45 ak'okulonda aka 4 akalina obuvunaanyizibwa "okukubaganya ebirowoozo ku ssuula ku; Republic, Citizenship, Local Government ne General and miscellaneous provisions" mu ssemateeka eyateekebwawo

Sebagereka oluvannyuma yaweereza ng'omubaka omukyala owa Kayunga mu palamenti ya Uganda ey'omusanvu[2]

Okulima

[kyusa | edit source]

Sebagereka yali Pulezidenti w'akakiiko k'abakyala aka International Federation of Agricultural Producers ng'oggyeeko okukiikirira ekitundu ky'omu masekkati mu Uganda National Farmers Association

Laba ne

[kyusa | edit source]

Ebijulizo

[kyusa | edit source]
  1. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named :0
  2. https://www.parliament.go.ug/cmis/browser?id=97450581-86cb-4301-8b1f-1fa142d35798%3B1.0