Victoria Nalongo Namusisi

Bisangiddwa ku Wikipedia

Victoria Nnaalongo Namusisi (olumu ayitibwa Victoria Okoth Nnaalongo Namusisi[1]) (yazaalibwa nga 19 Gatonnya 1956) munnamawulire w'ebyemizannyo n'eby'obufuzi mu Uganda, omukulembeze w'ebyobufuzi era omuwagizi. Namusisi atwalibwa nga munnamawulire omukyala Munnayuganda eyasooka mu byemizannyo ng'oggyeeko okuweereza ng'omubaka wa Pulezidentimu distulikiti y'e Mpigi wakati wa 1991 ne 1997.[2] Mu 2010, yaweebwa omudaali gwa Nalubaale.[3]

Ebyafaayo n'okusoma[kyusa | edit source]

Namusisi yazaalibwa omugenzi Paul Mukasa, omulimi era omuvubi ne Miriam Nalunga nga 19 Gatonnya 1956.[2] Mu myaka gye egy'okukula, Namusisi yasomera ku Kisubi Girls School mu e Ntebe ne Old Kampala Senior Secondary School. Oluvannyuma yeegatta ku Institute of Public Administration (IPA) mu by'amawulire mu 1975 n'amaliriza emisomo mu 1977.[2]

Omulimu[kyusa | edit source]

Okusaka ag'eby'emizannyo[kyusa | edit source]

Mu 1976, Namusisi ye munnamawulire omukazi yekka ow'ebyemizannyo ku Uganda Times . Era yakolera ku Voice of Uganda mu 1984 oluvannyuma lw'okukomawo okuva mu buwaŋŋanguse e Kenya. Mu 1988, ng'akola ku lupapula lw'amawulire olwa Ngabo, Namusisi yafulumya Olympics za 1988 mu Seoul ng'omuwandiisi w'ebyemizannyo ng'oggyeeko okuba omukuumi w'abakyala mu ttiimu.[4]

Alipoota z'ebyobufuzi[kyusa | edit source]

Mu 1986, Namusisi yakyusa n'atandika okusaka ag'eby'obufuzi era n'aweebwa obuvunaanyizibwa okusaka amawulire mu mu Palamenti ne mu maka g'obwapulezidenti.Okuva mu kifo kino we yalondebwa nga omubaka wa Pulezidenti mu disitulikiti ye Mpigi.[5]

OBUKULEMBEZE MU BY'OBUFUZI[kyusa | edit source]

Wakati wa 1991 ne 1998, Namusisi yalondebwa n'aweereza nga omubaka wa Pulezidenti mu Disitulikiti y'e Mpigi.Era yali mmemba w'akakiiko k'ebyokulonda mu 1998 olw'ekifo kye mu gavumenti ez'ebitundu.[6]

Obuyambi[kyusa | edit source]

Oluvannyuma lw'okuva mu kifo ky'omuwabuzi wa Pulezidenti mu 2003, Namusisi yatandikawo amaka ga bamulekwa ne Manuel Pinto, Bright Kids Uganda[5][7]

Ebirabo[kyusa | edit source]

Mu 2010, Namusisi yaweebwa omudaali gwa Nalubaale - omudaali "ogwaweebwa abalwanirizi b'eddembe ly'obuntu bonna abayambye mu nkulaakulana y'ebyobufuzi mu Uganda nga bayita mu kulwanagana n'ebyokulwanyisa oba okujeemera kw'abantu n'ebirala okuva mu biseera by'amatwale okutuuka leero."[3] Oluvannyuma mu mwezi gwa Muzigo 2019, yafuna diguli ey'ekitiibwa eya Doctor of Humane Letters ku Carlow University, USA, nga okusinziira ku mukutu gw'ekibiina kye gwali mu "kukakasa omulimu gwe ogw'obuntu n'abantu abatalina mwasirizi mu Uganda".[8]

Obulamu bwe[kyusa | edit source]

Namusisi yafumbirwa eyali Ssaabawandiisi w'olukiiko lw'eby'emizannyo mu ggwanga, Martin Okoth, okutuusa mu 1984 lwe baayawukana. Baalina abaana basatu.[5]

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]

  1. https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/people-power/this-is-not-museveni-i-knew-luweero-bush-war-reporter-1618514
  2. 2.0 2.1 2.2 https://www.newvision.co.ug/articledetails/1335059 Cite error: Invalid <ref> tag; name ":0" defined multiple times with different content
  3. 3.0 3.1 "Archive copy" (PDF). Archived from the original (PDF) on 2022-04-12. Retrieved 2022-03-19.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. "Archive copy". Archived from the original on 2022-03-09. Retrieved 2022-03-19.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. 5.0 5.1 5.2 https://en.wikipedia.org/wiki/Carlow_University Cite error: Invalid <ref> tag; name ":1" defined multiple times with different content
  6. http://cec.vcn.bc.ca/cmp/uganda/nsc.htm
  7. https://www.carlow.edu/changing-the-world-one-child-at-a-time-victoria-nalongo-namusisi/
  8. https://www.carlow.edu/carlow-university-names-three-to-receive-honorary-degrees-at-may-commencement/