Victoria Nyanjura

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Victoria Nyanjura (kiteeberezebwa nti yazaalibwa mu 1982) Munnayuganda omulwaanirizi w'eddembe mu ntobabuvobwawamu, ye mutandisi wa Women in Action for Women (WAW), ekitongole mu Ugandan ekitakolera magoba, ekiluubirira okukyuusa obulamu bw'abavubuka n'abakazi nga kiyitara mu ngeri yokubatendeka, okubasomesa bizinensi n'okubalungamya mu ngeri z'okufunamu ebikolwa by'entababuvumo ne Gavumenti.[1]

Ebimukwaatako n'emisomo[kyusa | edit source]

Nyanjura yazzaalibwa mu Disitulikittu y'e Oyam, mu bitundu bye Lango, mu Mambuka ga Uganda. Yasomera Pulayimale mu masomero g'abulijjo. Yafuna Dipulooma ya Siniya okuva mu St. Mary's College Aboke, mu Disitulikitti ye Kole.[1][2]

Diguli ye eyasooka, eya Bachelor of Development Studies, yagifuna okuva mu Yunivasitte y'e Kyambogo, mu Kampala, ekibuga Kya Ugandaekikulu. Mu Gwokubiri 2020, yasoma diguli ya Master of Global Affairs, nakuguka mu misomo gy'eddembe mu mawanga ejya International Peace Studies mu Yunivasitte ya Notre Dame. Alina Postgraduate Diploma in Monitoring and Evaluation, eyamuweebwa Uganda Management Institute, nayo esangibwa mu Kampala.[1][2]

Emirimu[kyusa | edit source]

Nyanjura yakola nga kiyambi mu kitongole kya Justice & Reconciliation Project, ekitongole ekitakolera magoba ekiluubirira okuddaabiriza essomabuvobwawamu ezaakosebwa mu ntalo mu Mambuka ga Uganda, ezisangibwa mu kibuga kye Gulu. Oluvanyuma yafuuka omukozi mu NGO, mu dipaatimentti yakyo eya Gender Justice department.[3] Era akoze mu International Justice Mission, NGO endala, etadde esira ku kukuuma ba namwandu ba mu Uganda mu nsonga z'obwananyini bw'ebintu n'amataka.[1]

Ebirala[kyusa | edit source]

Mu 1996, ku myaaka 14 , Nyanjura yali omu ku bawala 139 abaawambibwa abayeekera ba Lord's Resistance Army okuva mu somero lya St. Mary's College Aboke nga 10 Ogw'ekkumi 1996. Omumyuuka w'omukulu w'essomero, Sister Rachele Fassera owa Italy, yagoberera abayeekera era n'ateesa nabo bulungi okusumululako abawala 109. Abawala 30 basigala mu buwambe bw'abayeekera. Nyanjura yali omu ku bawala 30. Oluvanyuma lw'emyaaka munaana mu buwambe, omwaali okutulugunyizibwa n'okukabasanyizibwa, yasobola okutoloka era n'afuna eddembe lye mu 2004.[1][2]

Okusiimibwa n'engule[kyusa | edit source]

Mu 2018, ye yafuna engule ya Navarra International Solidarity Award, eyategekebwa Gavumenti ya Navarre, Spain, ne Laboral Kutxa, olukungaana lwa Spanish credit union. Engule esiima abantu, ebitongole ebitakolera magoba ebya NGOs, n'amatendekero agakola emirimu egiyimusa ebiluubirirwa bya United Nations Sustainable Development Goals. Yagabana engule, n'ekilabo eky'omuwendo gwa €25,000 n'abakyaala Abafirika abalala bassattu, Hulo Guillabert, Theresa Kachindamoto ne Oumou Sall-Seck. Ekibiina kya sunsulwa ekitongole kya Spanish diplomatic organization Casa África.[4]

Laba ne[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]

  1. 1.0 1.1 1.2 1.3 1.4 https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1515063/lra-captive-wins-international-award
  2. 2.0 2.1 2.2 http://skoll.org/contributor/victoria-nyanjura/
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2020-02-23. Retrieved 2024-04-22.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. https://kroc.nd.edu/news-events/news/masters-student-awarded-for-human-rights-work-in-uganda/

Ebijuliziddwa wa bweru wa wikipediya[kyusa | edit source]