Victoria Rusoke Businge

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Victoria Rusoke Businge era amanyikiddwa nga Rusoke Victoria Businge (yazaalibwa nga 3 Ogusooka 1956) Munnayuganda, Munnabyabufuzi era Musomesa.[1] Victoria yaweereza nga Omubaka omukyala akiikirira Disiulikiti y'e Kabarole mu Paalamenti ya Uganda ey'omwenda. Yaddamu n'alondebwa ng'omubaka mu Paalamenti ya Uganda ey'ekkuminemu u kalulu ka 2021. Ava mu kibiina ky'ebyobufuzi ekya National Resistance Movement. Mu 2018, yalondebwa era n'alayizibwa nga mmemba omugya mu kakiiko k'eddembe ly'obuntu aka Uganda Human Rights Commission (UHRC) nga yalayizibwa Ssabalamuzi, Hon. Justice Bart M. Katureebe ku kitebe ekikulu eky'abalamuzi mu Kampala.[2][3]

Emisomo gye n'obuto bwe[kyusa | edit source]

Alina Diguli ey'okubiri mu Busomesa okuva ku Ssettendekero wa Makerere (2001) era yafuna Diguli esooka mu Busomesa okuva ku Yunivasite y'e Makerere mu 1991. Alina Dipuloma mu busomesa okuva mu ttendekero ly'abasomesa, Kyambogo (1986), Satifikeeti ya Grade II teacher, Makerere University (1980), era mu 1977, yaweebwa awaadi mu busomesa eya East African certificate of education.[4]

Maama wa Victoria yali takyasobola kumwongerayo mu misomo gye okusukka ku ddaala lya O-level n'olwekyo teyasobola kutuukiriza kirooto kye eky'okufuuka munnamateeka wabula n'asalawo okufuuka omusomesa.

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Yaweereza nga omukulu akwatibwako ku nsonga z'ebyenjigiriza (District Education Officer), Kabarole ouva mu 2003 okutuusa mu 2010. Okuva mu Gwokubiri okutuusa mu Gwomusanvu 2003, yakola nga omukulu w'essomero lya Kalinaabiri Primary School ne Old Kampala Primary School okuva mu 1997 okutuusa mu 2002. Yali mukulu w'essomero lya City Primary School okuva mu 1994 okutuusa mu 1995. Yaweebwa omulimu nga omumyuka w'omukulu w'essomero ku Nakasero Primary School okuva mu 1991 okutuusa mu 1993 era ng'omusomesa ku ttendekero lya Kibuli TTC okuva mu 1986 okutuusa mu 1990. Yaweereza ng'omusomesa ku Shimoni Demonstration School okuva mu 1980 okutuusa mu 1985. Mu 1978, yegatta ku Institute of Teacher Education Kyambogo (ITEK) nga mu kaseera kano emanyikiddwa nga Kyambogo University.[1]

Yaweerezaako ku kakiiko ka Paalamenti akakwasaganya eby'obulambuzi, obusuubuzi n'amakolero saako ne ku kakiiko akasunsuzi.[4]

Ebitakwatagana[kyusa | edit source]

Mu 2016, yawangulwa Sylvia Rwabwo mu kalulu k'ekibiina ku ani anakwata bendera ya National Resistance Movement (NRM). Yeyongerayo n'eyesimbawo munnabyabufuzi atalina kibiinawabula n'awangulwa.[5] Bweyawangulwa Sylvia Rwabwo, yasigala talina mulimu okutuusa lweyalondebwa nga Kaminsona ku kakiiko akalwanirira eddembe ly'obuntu aka Uganda Human Rights Commission. Mu 2021, yaddamu n'eyesimbawo ng'omubaka omukyala akiikirira Disitulikiti y'e Kabarole mu Paalamenti era yawangula n'ewankubadde kyayongerwa nti yakozesa ebintu bya Gavumenti okugeza emmotoka n'ebirala mu kakuyege w'okunoonya akalulu ng'atambula nju ku nju ng'akozesa ekifo kye eky'obwa Kaminsona wa kakiiko aklwanirira eddembe ly'obuntu aka Uganda Human Rights Commission okusobola akutuukiriza ebigendererwa bye mu by'obufuzi.[5] Kyagambibwa nti okwetaba kwe mu by'obufuzi ng'akyali Kaminsona ky'ali kimenya mateeka okusinzira ku kawayiro 54 mu Ssemateeka wa Uganda akalagiraa Kaminsona okwemalirira era n'obutenyigira mu Byabufuzi ebirimu ky'ekubiira.[5]

Laba na bino[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

  1. 1.0 1.1 "Archive copy". Archived from the original on 2022-10-15. Retrieved 2024-03-25.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. http://www.judiciary.go.ug/data/news/639/CJ%20Swears%20in%20New%20UHRC%20Member.html
  3. https://www.uhrc.ug/about/leadership/uhrc-commissioners/
  4. 4.0 4.1 {{cite web}}: Empty citation (help)"Kabarole expects a two-horse race between Businge and Mutuzo". Daily Monitor. Retrieved 18 March 2021.
  5. 5.0 5.1 5.2 https://thecapitaltimes.co.ug/2020/03/19/uhrc-commissioner-victoria-rusoke-in-hot-soup-for-campaigning-using-govt-resources/