Violet Kajubiri

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Dr. Violet Kajubiri Froelich (yazaalibwa mu 1949) Munnayuganda mubazi w'amateeka era mwannyina wa Pulezidenti wa Uganda Yoweri Museveni ne Gen. Salim Saleh.[1][2]

Obuto bwe n'emisomo gye[kyusa | edit source]

Olunaku lwennyini lw'eyazaalibwa terumanyikiddwa wabula omwaka gwa tegerebwa okuva mu Katabo ka akalongosebwamu aka, Sowing the Mustard Seed (ku lupapula 3), Pulezidenti Yoweri Museveni mwagambira nti Kajubiri yazaalibwa mu 1949. Mu myak gy'ensanvu, yafuna Diguli ne Dipuloma egoberera mu Busomesa nga yakuguka mu ssomo lya biology ne chemistry okuva ku Makerere University.Yakolerako ku Yunivasite y'e Makerere ng'omuyambi ow'enjawulo mu dipaatimenti y'ebisolo era kyali mu kiseera ekyo lw'eyafuna sikaala okuva mu Germany ng'eno yasomera ku Hohenheim University mu Diguli ye ey'okubiri ne PhD mu ssomo ly'ebisolo.[2]

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Yaweerezaako nga akulembera kilaabu ezikuuma ebisolo by'omunsiko mu Uganda. Yalondebwa okubeera mmemba ku kakiiko k'ebyenjigiriza aka Education Service Commission mu 2010. Wakati wa 2008 ne 2009, Kajubiri yakola nga ey'ebuuzibwako ku by'enjigiriza n'enkulakulana mu state of Lower Saxony (Germany).[3] Mu 2001 okutuusa 2004, Kajubiri yali yebuuzibwako ku nsonga za Protestant Development Aid mu Germany.[2]

Ebimukwatako eby'omunda[kyusa | edit source]

Mu kitabo kya, My Life's Journey, ekya Janet Museveni, agamba Kajubiri mufumbo eri omusajja enzalwa y'e Germany Hilmar Froelich era abagalana bano balina abaana bana.

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]