Jump to content

Virgil van Dijk

Bisangiddwa ku Wikipedia
Virgil van Dijk

Virgil van Dijk musambi wa mupiira ogwa pulofeesonolo omudaaki eyazalibwa nga 8 ogw'omusanvu mu 1991, azannya ng'omuzibizi mu kiraabu ya premier league eya Liverpool ne ttiimu y'eggwanga lya Budaaki. Atwalibwa okubeera omu kubazibizi abasinga munsi yonna, Van Dijk amannyiddwa okubeera n'amaanyi, obukulembezze n'okutomera emipiira egibeera gigidde mu banga. Ye muzibizi yekka eyali awangudde ekirabo ekigabwa ekibiina ekifuga omupiira kulukalo lwa Bulaaya (UEFA) eky'omusambi w'omwaka omusajja, nga yakwata kyakubiri ku kirabo ky'ensi yonna wamu n'ekya FUFA eky'omusambi omusajja eyasinga..[1][2]

Oluvannyuma lw'okutandika omupiira gwe ogw'ensimbi ne kiraabu ya Groningen, Van Dijk yagenda mu kiraabu ya Celtic mu 2013, gyeyawangulira liigi y'eggwanga lya Scotland eyababinywera n'atekebwa ne mu ttiimu y'omwaka eya PFA Scotland Team of the Year ekyamuweebwa ekibiina omwegatira abasambi mu sizoni ze zombi zeyali mu kiraabu eyo, gyeyawangulira n'ekikopo kya Scottish league. Mu 2015 yeegata ku Southampton nga tanaba kuteeka mukono kundagaano eyamuweebwa Liverpool bweyali emugula mu omwezi ogusooka mu 2018 ku bukadde bwa pawuundi 75, nga yateekawo likodi y'omuzibizi eyasinga okugulwa ssente enyingi munsi yonna ebiseera ebyo. Mu Liverpool, Van Dijk yatuuka ku fayinolo z'ekikopo kya kiraabu za babinywera bulaaya ekya Champions liigi emirundi ebiri egy'omudiringanwa mu 2018 ne 2019 gyeyawangula. Basambi bane baamulonda ng'omuzannyi w'omwaka PFA Players' Player of the Year n'owa liigi ya Bungereza Premier League Player of the Year mu sizoni ye eyasooka enzijuvu. Van Dijk oluvannyuma yawangula ekikopo ekyetabwamu kiraabu empanguzi ku semazinga ez'enjawulo munsi eza FIFA Club World Cup ne UEFA Super Cup, n'ayamba ne kiraabu okukomya emyaka 30 gyebaali bamazze nga tebawangula premier liigi gyebatwala mu sizoni ya 2019–20 Premier League.

Van Dijk yazannyirako ttiimu ya Budaaki ey'abavubuka nga yakiikirira eggwanga lye ku mitendera gy'abali wansi w'emyaka 19 ne 21. Yatandika okuzannyita ttiimu enkulu mu 2015, n'afuuka omuduumizi waayo nga kapiteeni mu mwezi ogw'okusatu mu 2018. Mu mwaka ogwaddako, yeyali kapiteeni wa ttiimu ya Budaaki bweyali etuuka ku fayinolo za UEFA Nations League, gyebaakwatira eky'okubiri.

Obulamu bwe obwasooka

[kyusa | edit source]

Van Dijk yazalibwa omusajja omudaaki n'omukyala omusurinamese mu kubuga Breda . Ng'akula, yazannya ng'omupiira buli weyagusingaana nga nadala kunguudo, ne butimba obwali ng'obwenkokoto, n'emipiira egyali ng'egy'olwomukaaga buli ku makya.. Obudde bweyalina ng'okusamba omupiira ku akademi ya Willem II yabugata ngako omulimu gw'okwoza amawuwaani.[3][4] Yasooka kuzannya ng'omuzibizi w'okuddyo wabula nekigaana weyava okufulibwa omuzibizi w'omumasekati mu 2008 ng'alina emyaka 17, oluvannyuma lw'okuwanvuwa neyeeyongerako yiinchi 18.[5] Wadde nga yeeyongerako obuwanvu era nakyusibwa ne namba gyeyali azannya, eyali omutendesi wa kiraabu ya Willem II ey'okubiri mu kaseera ako Edwin Hermans yalina okukiriza nti omusambi ono yalina kiremya mungi eyali amulemesa okuzannyira ttiimu esooka.[4] Mu 2010, yalabibwa eyaliko omuzannyi wa ttiimu ya Budaaki ey'eggwanga Martin Koeman, eyali akola ne kiraabu ya FC Groningen mu kaseera ako ekyamuletera okugyegatako kuba yali takyalina ndagaano mu mwaka ogwo.[5]

Ebyafaayo bye mu kiraabu

[kyusa | edit source]

Groningen

[kyusa | edit source]

Van Dijk yalwana nnyo okulaba ng'azannyira kiraabu ya Groningen esooka ng'abagidukanya baali bagamba yali mukoowu oluvannyuma lw'okuba nga yafuna ng'obudde bungi ng'azannyira akademi ya Willem II ne ttiimu ey'okubiri. Yatandika okuzannya omupiira gwe ogw'ensimbi mu kiraabu eyo nga 1 mu mwezi ogw'okutaano 2011, bweyajja mu dakiika ye 72 ng'ava ku katebe webaali bafulumya Petter Andersson nga bawangula 4-2 kiraabu ya ADO Den Haag .[6] Nga 29 omwezi ogw'okutaano ga bazannya kiraabu y'emu, yatandika omupiira gwe ogwali gusooka ku Groningen n'ateeba ggoolo ye eya pulo nga yakuba ggoolo biri nga bawangula 5–1 mu mupiira gw'okusalawo eyalina okugenda okuzannya mu mpaka za UEFA Europa League.[4]

Mu liigi ya Budaaki eya Eredivisie 2011-12, Van Dijk yazannya emipiira 23 mu ttiimu ya Eredivisie n'ateeba ggoolo ye eya sizoni eyasooka yagiteeba bwebaali ba Feyenoord 6-0 mu mwezi ogw'ekumi nga 30, 2011 .[7] Yafunamu obuzibu obw'obuntu, wabula bweyaweza emyaka 20, yatwalibwa mu ddwaliro ng'alina obuzibu mu lubuto nga n'ensigo zaalimu obutwa. Oluvannyuma yakyasanguza nga bweyawonera awatono okufa kuba ne ddwaliro lyali limusabe ateeke omukono kudaame singa abeera afudde..

Yasobola okuddayo mu Groningen, n'asigala ng'akakasa mu sizoni eyaddako, wabula eyaddako engeri gyeyali akuze okusinga kiraabu, baasalawo bamuwa nga kiraabu eneneko mu liigi ya Budaaki nga muno mwemwali ne Ajax, naye nga zino zonna zaagaana okumutwala.

Celtic

[kyusa | edit source]

Sizoni ya 2013–14

[kyusa | edit source]

Mu mwezi ogw'omukaaga nga 21 2013, yeegata ku kiraabu ya Celtic ku bukadde bwa pawuundi 2,600,000 ey'emyaka enna ng'ebitundu 10 ku 100 eby'okutunda, bya bya kiraabu ya Groningen. Yasamba omupiira gwe ogusooka mu gw'omunaana nga 17 ng'ayingira mu kya Efe Ambrose eyagibwayo mu daakiika 13 ezaali zisembayo nga bakuba Aberdeen 2–0 mu liigi ya Scotland eyababinywera Scottish Premiership ku kisaawe kya Pittodrie Stadium. Nga wayise wiiki emu, yatandika omupiira gwe ogusooka webaali balemagana 2–2 ne Inverness Caledonian Thistle ku Celtic Park. Mu mwezi gw'okuminoogumu nga 9 yateeba ggoolo ze ezasooka ku kiraabu ya Celtic bweyatomera omupiira mu bitundu byombi ku 4-1 zebaakuba Ross County.[8] Oluvannyuma lw'okuduka ng'ali yekka, yateeba ggoolo yokka eyabawa obuwanguzi nga bakuba St Johnstone nga 26 gw'ekuminebiri.

Yaddamu n'ateeba nga 26 omwezi ogusooka mu 2014 ku 4–0 nga Celtic ewangula omupiira gwayo ogw'omudiringanwa nga bakuba Hibernian.[9] Ng 25 ogw'okubiri , yagobwa ku kisaawe oluvannyuma lw'edakiika 13, Aberdeen ng'ebakuba 2-1 bweyakola ekisobyo ku Peter Pawlett; nga gwemupiira Celtic gweyasooka okukubwa mu sizoni. Nga Celtic emazze okuwangula ekikopo kya liigi , Van Dijk yaddamu n'ateeba mu mwezi ogw'okutaano nga 7 ggoolo eyali ey'okusatu ku 3–1 nga bakyalidde St Johnstone, wabula nga gwagweera mu maliri ga 3–3. Y'omu ku basambi ba Celtic abasatu abaatekebwa mu ttiimu enonderere okuva mu liigi ya Scotland ey'omwaka eya PFA Scotland Team of the Year. Yalondebwa ku ky'okuweebwa ekirabo ky'omusambi wa Scotland ow'omwaka PFA Scotland Players' Player of the Year, wabula musambi mune okuva mu Celtic Kris Commons. n'akimuwangulako

2014–15 season

[kyusa | edit source]
Van Dijk ng'akyasambira Celtic mu 2015

Mu gw'omusanvu nga 22 2014, Van Dijk ne Teemu Pukki buli omu yateeba ggoolo biri ku 4–0 ewaka nga bakuba KR mu kikopo kya kiraabu empanguzi eza bulaaya ekya UEFA Champions League ez'okubasunsula, nga kyasobola okuteeka ttiimu yabwe mu lawuundi eyali eddako ku mugate gwa ggoolo 5-0.[10] Ggoolo ye eyasooka mu sizoni ya liigi ya Scotland yajja nga 9 mu gw'okuminoomu, bweyamaliriza omupiira ogwali guva mu koona lya Stefan Johansen nga bakuba Aberdeen 2-1.[11] Waayita wiiki satu, Van Dijk n'ateeba ggoolo biri ku 4-0 ng'emu yeyasooka n'eyasembayo nga Celtic ekuba Heart of Midlothian mu mwetooloolo ogw'okuna ogw'empaka za Scottish Cup.[12] Enaku nnya nga ziyise oluvannyuma lwekyo, ggoolo ye ey'omukaaga eya sizoni, yali emala okubawa obuwanguzi eri balirwana mu kibuga Glasgow aba Partick Thistle.

Yaddamu n'ateeba mu mwezi ogusooka nga 21 2015 mu mupiira gwebagulawo ne Motherwell gyebaakuba 4-0. Mu gw'okubiri nga 26, yagobwa ku kisaawe mu dakiika ya 36 nga battunka ne Inter Milan bweyakola ekisobyo ku Mauro Icardi, wabula Celtic yakubwa 1–0 mu kiro ekyo ng'omugatte gwagwa 4–3 mu kikopo kya UEFA Europa League ku mutendera gwa ttiimu 32. Baddamu nebamugoba ku kisaawe nga 8 ogw'ogw'okusatu ku luzannya lwa 'quarter' olwa Scottish league Cup webaali battunka ne Dundee United ku Tannadice Park, bweyafuna kaadi emyuufu nga bakasambako edakiika 11 oluvannyuma lw'okulwanagana ne Calum Butcher. Kiraabu yajulirira nebagyawo kaadi eno eyali egenda okumusubya fayinolo za Scottish League Cup Final eyali eya wiiki eddako nga n'eya Paul Paton, yagibwawo kuba baalina kugiwa Butcher. Van Dijk yazannya edakiika 90 ku fayinolo ezaali ku Hampden Park, omupiira Celtic gweyawangula 2–0. Mu gw'okusatu nga 18, omupiira gwa Celtic ogw'omudiringwana nga bazannya Dundee United, Van Dijk yateeba mu dakiika esembayo nga bawangula 4–0 mu mpaka za Cup ezaali ez'okuddamu.

Mu gw'okuna nga 19 yavuganya mu mpaka za Cup ku luzannya oludirira olw'akamalirizo ne Inverness ku Hampden, nga Van Dijk yeyagulawo okuteeba ng'asimudde ekisobyo. Oluvannyuma lw'okugobwa kw'omukwasi wa ggoolo Craig Gordon, Celtic baagikulembera 3–2, ekyakendeeza emikisa gyabawe egy'okuwangula ebikopo ebisatu.[13] Nga wayise enaku satu, yaddamu n'ateeba okuva mu kisobyo nga bawangula 2-1 webaali bakyalidde Dundee. Ttiimu ye yaddamu neewangula liigi,nga Van Dijk yatekebwa ne mu ttiimu ya liigi eya sizoni omulundi ogw'okubiri ogw'omudiringanwa.[14] Baamuteeka kulukalala lw'abaali bavuganya kungule y'omuzannyi w'omwaka wabula era musambi mune Stefan Johansen n'egimuwangulako. okuva mu Celtic.

Oluvannyuma lwa Cletic okuwandulwa Malmo ey'eggwanga lya Sweden mu z'okusunsula abaali bagenda mu mpaka za kiraabu empanguzi eza 2015–16 UEFA Champions LeagueVan Dijk yatandika okubuusa buusa ebiseera bye eby'omumaaso mu kibuga Glasgwo.

Southampton

[kyusa | edit source]

Sizoni 2015–16

[kyusa | edit source]

Nga 1 ogw'omwenda mu 2015, Van Dijk yateeka omukono kundagaano eyali ey'emyaka etaano ne kiraabu ya liigi ya Bungereza mu Premier League eya Southampton, ng'ekyatendekebwa Ronald Koeman, ku bukadde bwa pawuundi 3 .[15][16]

Yasamba omupiira gwe ogusooka ne kiraabu ya Southampton nga 12 ogw'omwenda nga balemagana 0–0 ne West Bromwich Albion ku The Hawthorns.[17] Waayita wiiki biri Van Dijk n'asamba omupiira gwe ogw'okusatu mu premier liigi n'ateeba ggoolo ye eyasooka mu kiraabu eno, bweyatomera omupiira mu dakiika ya 11, Southampton neegukulembera mu kisobyo James Ward-Prowse kyeyasimula nga bakuba Swansea City 3-1 eyali ebakyalidde.[18] Nga 7 ogw'okutaano, mu 2016, Van Dijk yateeka omukono kundagaano ya myaka mukaaga ne kiraabu eno.[19]

2016–17 season

[kyusa | edit source]

Nga 22 omwezi ogusooka mu 2017 yafuuka kapiteeni wa kiraabu ya Southampton, oluvannyuma lwa José Fonte okwabulira ttiimu eno.[20] Kulunaku lwerumu yafuna obuvune ku kakongovule webaali battunka ne Leicester City. Kino kyamusubya fayinolo ya 2017 EFL Cup Final, nga Southampton yakubwa Manchester United ku Wembley Stadium.[21]

Oluvannyuma lw'okukola obulungi mu sizoni ya 2016–17 ku Southampton, Liverpool yatandika okumwegwanyiza, ng'era bano beetonda eri Southampton olw'okutukirira omuzannyi waabwe mungeri eyali emenya amateeka ng'omusambi naye yali alaze nti yali ayagala kugenda Liverpool.[22] Mu gw'omunaana nga 7 mu 2017, Van Dijk yatekayo empapula ezaali zisaba bakamaabe mu Southampton abakiriza nga bagamba yali asobola okugenda mu ttiimu yonna eyali emwetaaze.

2017–18 season

[kyusa | edit source]

Van Dijk yasigala ne Southampton nga sizoni ya 2017–18 etandika ng'omupiira gwe ogwali gusooka okuva eyali yava ku buvune bweyalina mu mwezi ogusooka, yava ku katebe nga bawangula Crystal Palace 1-0 mu gw'omwenda nga 26 September. Yasamba omupiira gwe ogwali gusembayo mu Southampton nga 13 mu mwezi ogw'ekumineebiri mu 2017, iwebaali bakubwa Leicester 4-1 ng'ebakyalidde .[23] Gwe gwali omupiira gwe ogwali gusembayo mu kiraabu Southampton, kuba yagibwa ku ttiimu etandika olw'engaambo ezaali zeetoloolera ku biseera bye eby'omu maaso mu kiraabu eyo.[24]

Liverpool

[kyusa | edit source]

2017–18 season

[kyusa | edit source]
Van Dijk ne Liverpool mu 2018

Mu gw'okumineebiri nga 27 2017, Van Dijk yalangirirwa nga bweyali agenda okwegata ku Liverpool ng'okugula abasambu okw'omwezi ogusooka kuguddwawo nga 1 mu 2018 [25] ku muwendo gwa bukadde bwa pawuundi 75 . Kiraabu ya Celtic yalina okufunako ebitundu 10 ku 100 nga kiva ku kalagaane akaali mundagaano gyebaali baakola nga bamuguza kiraabu Southampton.[26] Southampton yategeeza nti omuwendo ogwamugulwa ogutayogerwa gwali gwakufuuka omuzibizi eyali asinga okugulwa ssente ennyingi munsi yonna..[27]

Yazannya omupiira gwe ogwaali gusooka mu Liverpool nga 5 ogusooka mu mwetoloolo ogw'okusatu mu mpaka za FA Cup n'ateeba ggoolo ey'obuwanguzi nga bakuba ttiimu gyebalinako embirabye eya Everton 2-1. Mu kukola kino yafuuka omusambi eyali asooka okuva ku Bill White mu 1901 okuteeba mu mupiira gwe ogusooka mu mupiira gw'embirabye ogwa Merseyside derby.[28] Van Dijk ne Dejan Lovren yazimba enkolagana ey'amaanyi mu mutima gw'ekisenge kya Liverpool, ng'omudaaki yasimibwa okubeera nga yeyali aterezeza obuzibu Liverpool bweyalina mu kuzibira..

Van Dijk yatekebwa mu ttiimu ya sizoni eya UEFA Champions League Squad of the Season, wadde ng'empaka za kiraabu okuva kulukalo lwa bulaaya Champions League, yazizannyako kitundu, ng'ow'eby'ekikugu mu UEFA yagamba "Van Dijk yatuuka ku Anfield n'akumakuma bane n'okubagumya ku mitendera z'okusirisizaawo." Van Dijk yazannya edakiika 90 mu fayinolo z'ekikopo kya kirabu empanguzi eza bulaaya eza 2018 UEFA Champions League Final, Real Madrid, bweyakuba Liverpool lost 1–3. Van Dijk yazannya emipiira 22 mu mpaka zonna mu sizoni ye eyasooka mu Liverpool n'ateeba ggoolo emu.

Sizoni ya 2018–19

[kyusa | edit source]

Nga 20, ogw'omunaana mu 2018, Van Dijk yalondebwa aba BCC Sport ne Sky Sport ng'omusambi w'olunaku olw'omutindo gweyayolesa nga bakuba Crystal Palace 2-0. Van Dijk yafuna ekirabo ky'omusambi wa Liverpool ow'omyezi olw'omutindo gweyayolesa mu mwezi ogw'omunaana . Nga 2 ogw'ekumineebiri, Van Dijk yakola Divock Origi mu dakiika eya 96 webaali bakuba Everton 1-0 mu mupiira ogw'embiranye, ng'esombi yava ku mukwasi wa ggoolo ya Everton Jordan Pickford. Omudaaki yaweebwa ekirabi ky'omusambi w'omwezi ogw'ekuminoogumu PFA Player of the Month mu 2018. Mu gw'ekumineebiri nga 21, Van Dijk yateeba ggoolo ye eyasooka mu liigi ya bungereza eya Premier League nga Liverpool ekuba Wolverhampton Wanderers 2-0. Omudaaki yayongera okwolesa foomu enungu mu sizoni ya 2018–19 bweyawangula ekirabo ky'omuzannyi eyasinga mu liigi mu mwezi gw'okumineebiri, ekya Premier League Player of the Month.

Mu gw'okubiri nga 27 mu 2019, Van Dijk yateeba ggoolo biri nga bakuba Watford 5-0. Mu mwezi ogwaddako, yateeba ggoolo emu, nga ye ggoolo ye eyali esooka mu kikopo kya kiraabu empanguzu eza bulaaya Champions League n'ateekawo ne asisiti ku 3–1 zebaakubya Bayern Munich. Mukukola kino yafuuka omusambi eyasooka okuva ku Craig Bellamy mu 2007 okuteeba n'okukola asisiti mu Liverpool ku mutendera gw'okusirisizaawo nga bagenze ku bugenyi.

Mu gw'okuna nga 20, yali omu kubazannyi omukaaga abaalondebwa ku kirabo ky'omuzannyi w'omwaka PFA Players' Player of the Year nga yaliko ne musambi mune okuva mu Liverpool Sadio Mané. Nga wayise enaku nnya , yatekebwa mu ttiimu y'omwaka PFA Team of the Year n'abazannyi ba Liverpool abalala okuli, Trent Alexander-Arnold, Mané ne Andrew Robertson. Mu gw'okuna nga 28 mu 2019, yalondebwa ng'omuzannyi w'omwaka PFA Players' Player of the Year. Oluvannyuma lwa Liverpoolokuwangula 2–0 ng'ekuba Tottenham mu fayinolo za kiraabu empanguzi eza bulaaya eza 2019 UEFA Champions League Final nga 1 ogw'omukaaga, Van Dijk yalondebwa aba UEFA ng'omuzannyi w'olunaku.

2019–20 season

[kyusa | edit source]
Van Dijk ng'azannyira playing Liverpool mu kikopo kya 2019 UEFA Super Cup

Mu gw'omunaana 2019, Van Dijk yawangula ekirabo kya UEFA eky'omusambi w'omwaka. Nga 2 ogw'omwenda mu 2019, yateekebwa ku lukalala lw'abazannyi abasatu abaali bavuganya kungule y'omuzannyi wa FIFA eyali asinza FIFA football awards. Nga 23 ogw'omwenda mu 2019, yakwata kyakubiri ku kirabo ky'omuzannyi wa FIFA omusajja The Best FIFA Men's Player n'ateekebwa ne mu ttiimu ya FIFA eya FIFpro Men's World 11. Mu gw'ekumi 2019, Van Dijk yatekebwa ku lukalaka lw'abazannyi 30 abaali bagenda okuvuganya ku kirabo ky'engule y'omuzannyi eyasinga okucanga akapiira munsi yonna Ballon d'Or. Kumukolo ogwo mu mwezi gw'ekumineebiri, yamalira mu kifo kya kubir emabega waLionel Messi. Nga 21 omwezi ogw'ekumineebiri mu 2019, oluvannyuma lw'okusubwa oluzannya oluidirira olw'akamalirizo olw'ekikopo kya 2019 FIFA Club World Cup olw'obulwadde, Van Dijk yasobola okuzannya fayinolo ne Flamengo Liverpool neewangula ekikopo omulundi ogwali gusooka mu byafaayo.

Van Dijk yayongera okumannyikwa mu mwaka ogwo bweyatekebwa mu ttiimu ya bulaaya eya 2019 UEFA Team of the Year. Mu mwezi ogusooka ogwa 2020 nga 19, Van Dijk yateeba ggoolo ye eyasooka mu mbiranye ya scored North-West Derby nga bakuba Manchester United mu mupiira Liverpool gweyawangula 2–0 ku kisaawe kya Anfield mu Premier League.

Mu sizoni ya 2019–20 e Bungereza, Van Dijk yatandika n'amalako buli dakiika gyeyazannya mu Liverpool.

2020–21 season

[kyusa | edit source]

Mu gw'omwenda nga 12 2020, Van Dijk yateeba omutwe mu mupiira gwebagulawo ne Leeds United mu sizoni eyali empya.

Mu gw'ekumi nga 17, yagibwa ku kisaawe mu dakiika ey'omukaaga mu mupiira gw'embiranye ogwa Merseyside derby oluvannyuma lw'okukolebwako ekisobyo ggoolo kkipa wa Everton Jordan Pickford. Ku lunaku olwaddako, kyalangirirwa nti yali afunye obuvune mu viivi ey'okugulu kwa ddyo ACL injury nga yali wakulongosebwa . Van Dijk yali asuubirwa okukomawo oluvannyuma lw'emyezi mukaaga oba 12 . Nga 30 omwezi ogw'ekumi kyalangirirwa ng'okulongosebwa kwe ku buvune bweyali afunye wekwali kugenze obulungi . Omutendesi wa ttiimu ya budaaki ey'eggwanga Frank de Boer yali asuubira nti Van Dijk yali wakukomawo ng'empaka z'ekikopo kya bulaaya 2020 European Football Championship tezinatandika, Van Dijk yasalawo okusigala ng'ali ku bujanjabi okutuusa sizoni empya ng'etandise.

2021–22 season

[kyusa | edit source]

Van Dijk yasobola okuddamu okuzannya omupiira omulundi ogwali gusooka mu myezi mwenda nga 29 ogw'omusanvu mu 2021, nga yayingira mu kitundu eky'okubiri ng'ava ku katebe mu mupiira ogwali ogw'omukwano ne Hertha BSC. Mu gw'omunaana nga nga 13 2021, Van Dijk yateeka omukono ku ndagaano ya myaka enna nga yali wakusigala mu kiraabu eno okutuusa 2025. Ggoolo ye eyasooka mu Liverpool yajja oluvannyuma lw'emyezi 14 bweyali ateeba kiraabu ya Southampton gyeyava ng'eteeba omupiira ogwali guva mu koona.

By'akoze ku ttiimu y'eggwanga

[kyusa | edit source]

Van Dijk yazannya omupiira gwe ogwaali gusooka ku ttiimu y'eggwanga eya Netherlands nga 10 omwezi ogw'ekumi 2015, mu mupiira gwebaawangula 2–1 nga bakuba Kazakhstan gyebaali bakyalidde mu z'okusunsula abaali bagenda mu za bulaaya mu UEFA Euro 2016.

Yaweebwa ekya kapiteeni wa ttiimu y'eggwanga eyali maneja Ronald Koeman nga 22 ogw'okusatu mu 2018, ng'omupiira gwe egwasooka nga kapiteeni gwaliwo olunaku olwaddako nga bakubwa Bungereza 1–0 ewaka. Nga 26 ogw'okusatu yateeba ggoolo ye ey'eggwanga nga 3–0 nga bakuba bakyampiyoni ba bulaaya aba Portugal ku kisaawe kya Stade de Genève. Nga 13 ogw'ekumi, yateeba ku 3-0 zebaakuba bakyampiyoni ba 2014 b'ensi yonna aba 2014 aba Girimaani mu mpaka za UEFA Nations League. Ekisinga okubeera ekirungi, yateeba ggoolo ey'ekyenkanyi mu mupiira ogwaddako ne Girimaani 'omumyuka w'omutendesi Dwight Lodeweges okumuwereza akapapula akatono nga bagenze mukuwumula nga kamusaba okuzannya mu maaso mu dakiika ezisembayo ez'omuzannyo. Ggoolo eyo yabasobozesa abadaaki okuwangula ekibinja nga bebakikulembedde mu mpaka za Nations League. Yeyali kapiteeni w'eggwanga lye ku fayinolo Portugal gyebakubira 1-0..

Mu gw'okutaano ogwa 2021, Van Dijk yegya mukuzannya empaka z'ekikopo ky'amawanga ga bulaaya UEFA Euro 2020 ekyali kyongereddwayo okumusobozesa okufuna obudde obumala okuwona obuvune okuva mu mwe ogw'omwenda 2020 .

Engeri gy'azannyamu

[kyusa | edit source]

Van Dijk muzannyi wa kiwago akozesa okugulu kwa ddyo ng'omuzibizi, atera okubeera ku ludda lwa kono mu kuzibira mu masekati,wadde ng'asobola n'okuzannya ku luddwa lwa ddyo olw'omuzibizi w'omumasekati. Alina ekitone ky'okubeera ow'emisinde, obukodyo obulungi n'eriiso ly'okuteeba, ng'asobola n'okusimula ebisobyo. Okusinziira ku by'asobola okukola, eyali muzannyi mune mu Celtic Kris Commons yagamba nti, Van Dijk yali mukakamu n'omupiira, n'ayongerako nti yalina obukodyo obulungi n'ekigere ekya ddyo ekisufu. Yali mulungi mu kusimula ebisobyo ng'ebimu yasobola ng'okuziteeba ku kiraabu ya Celtic ng'era zaali nungi. Yali asoma omuzannyo bulungi ng'era nali mukiririzaamu kuba nali mannyi yali amannyi ky'akola."

Neil McGuinness,eyali anoonyeza Celtic abazannyi agamba Van Dijk yaleetebwa nga tumuyita buli kimu singa yali oyagala omuzibizi ow'erinya", nga bamutendereza okubeera omuzibizi eyali omulungi mu kuzannya omupiira n'okwesigaliza emipiira egy'omubanga, n'obukodyo bw'emipiira egivudde mu kusimula ebisobyo, n'okubeera omukulembezze omulungi, ng'amwogerako nti okuva weyagenda mu Bungereza , yalina obukugu [...] okwetaba n'okubaza byeyongerako ng'era asobola okukuba buli wamu ". McGuinness alina okukiriza nti ekizibu kya Van Dijk's ekisinga obunene bw'akubula singa omupiira bwebazannya kiraabu ye ebeera nga teri ku puleesa ".[29] Mu 2018, Steve Douglas owa The Globe and Mail yanyonyola ku Van Dijk mu bigaboi bino: " alina amaanyi mu bwengula apimibwa n'omupiira nga gumuli kubigere, alina obwangu n'okweteeka mu kifo gy'atekeddwa okubeera , van Dijk [sic] alina byonna." Dario Pergolizzi naye yagamba Van Dijk yali mukozi mulungi mu 2019.

Mu 2019, bweyali mu mboozi eyakafubo n'aba Marca, Lionel Messi yabuzibwa lwaki Van Dijk yali muzibu okuyitako, omuArgentina yaddamu: "Ye muzibizi amannyi okulamula obudde n'alinda obudde obutuufu olw'ekwengaana abeera amulumbye. Alina obwangu ng'ate munene naye nga muwaguufu bulungi. Mwangu mukuzibira ne mukulumba ekimuleetera n'okuteeba ggoolo eziwera." Mu mwaka gwegumu, Paul Merson yamunyonyola nga bw'ali omuzannyi asinga munsi yonna era mu kuzibira.."

Mu 2022, Erling Haaland yalonda Van Dijk ng'omuzibizi gweyali asisinkanye, n'amuyita" omwangu, ow'ekiwago, n'omuguku omulungi", n'okumutendereza kungeri gy'apimamu obudde.

Abavugirizi

[kyusa | edit source]

Van Dijk ali ku kibika kya vidiyo geemu ya EA Sports' FIFA eya FIFA 20. Kampuni ya Nike yeemutekamu ssente.

Obulamu bwe

[kyusa | edit source]

Van Dijk atera kukozesa linnya lye erisooka ku mujoozi, ng'okusinziira ku kojja weSteven, kino kiva mu famire yaabwe ne kitaawe Ron van Dijk, eyabalekulira nga Virgil akyali mwana muto. Virgil mufumbo eyawasa omwagalwa we gweyalina okuva mu buto, Rike Nooitgedagt, nga balina abaana bana.[lower-alpha 1] Okusinziira ku mikutu egimu mu China, Van Dijk alina obulandira mu ggwanga lino. Hellen Fo Sieeuw, maama we alina emirandira mu China. Erina ly'ekika erya 'Fo Sieeuw' rigibbwa ku jjajja wa jjajja we , Chin Fo Sieeuw (陈火秀), eyasenguka okuva mu Guangdong okugenda mu Suriname mu 920.

Ebibalo mu byazze akola

[kyusa | edit source]

Kiraabu

[kyusa | edit source]

Template:Updated

Appearances and goals by club, season and competition
Club Season League National Cup League Cup Europe Other Total
Division Apps Goals Apps Goals Apps Goals Apps Goals Apps Goals Apps Goals
Groningen 2010–11[30] Eredivisie 5 2 0 0 5 2
2011–12[30] Eredivisie 23 3 1 0 24 3
2012–13 Eredivisie 34 2 3 0 37 2
Total 62 7 4 0 66 7
Celtic 2013–14 Scottish Premiership 36 5 2 0 1 0 8[lower-alpha 2] 0 47 5
2014–15 Scottish Premiership 35 4 5 4 4 0 14[lower-alpha 3] 2 58 10
2015–16[17] Scottish Premiership 5 0 5[lower-alpha 2] 0 10 0
Total 76 9 7 4 5 0 27 2 115 15
Southampton 2015–16 Premier League 34 3 1 0 3 0 38 3
2016–17 Premier League 21 1 1 1 2 0 6[lower-alpha 4] 2 30 4
2017–18[31] Premier League 12 0 0 0 12 0
Total 67 4 2 1 5 0 6 2 80 7
Liverpool 2017–18 Premier League 14 0 2 1 6[lower-alpha 2] 0 22 1
2018–19 Premier League 38 4 0 0 0 0 12[lower-alpha 2] 2 50 6
2019–20 Premier League 38 5 1 0 0 0 8[lower-alpha 2] 0 3[lower-alpha 5] 0 50 5
2020–21 Premier League 5 1 0 0 2 0 0 0 1[lower-alpha 6] 0 8 1
2021–22 Premier League 34 3 5 0 3 0 9[lower-alpha 2] 0 51 3
2022–23 Premier League 6 1 0 0 0 0 2[lower-alpha 2] 0 1[lower-alpha 6] 0 9 1
Total 135 14 8 1 5 0 37 2 5 0 190 17
Career total 340 34 21 6 15 0 70 7 4 0 451 46
  1. https://web.archive.org/web/20161107113413/http://www.fifa.com/the-best-fifa-football-awards/best-fifa-mens-player/
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2019-04-20. Retrieved 2022-09-24.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. https://web.archive.org/web/20131029210911/http://www.celticfc.net/newsstory?item=4174
  4. 4.0 4.1 4.2 {{cite news}}: Empty citation (help)https://www.fourfourtwo.com/features/virgil-van-dijk-exclusive-im-not-going-lie-i-was-pretty-scared-i-could-have-died#TWOCEsmY6Jcvxwi7.99
  5. 5.0 5.1 {{cite web}}: Empty citation (help)
  6. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20220924090119/https://www.nike.com/404
  7. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.bbc.com/sport/football/47283936
  8. {{cite news}}: Empty citation (help)https://www.bbc.com/sport/football/23004736
  9. {{cite news}}: Empty citation (help)https://www.bbc.com/sport/football/23737036
  10. {{cite news}}: Empty citation (help)https://www.bbc.co.uk/sport/football/27080030
  11. {{cite news}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20170414080556/http://spfl.co.uk/news/article/pfa-player-of-year-nominees/
  12. {{cite news}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20170413234857/http://spfl.co.uk/news/article/pfa-scotland-award-winners/
  13. {{cite news}}: Empty citation (help)https://www.bbc.com/sport/football/31858622
  14. {{cite news}}: Empty citation (help)https://www.bbc.com/sport/football/31826157
  15. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.bbc.com/sport/football/32435212
  16. {{cite news}}: Empty citation (help)https://www.bbc.com/sport/football/32578058
  17. 17.0 17.1 Template:Soccerbase seasonhttps://www.bbc.co.uk/sport/football/34060123
  18. {{cite news}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20190501141935/https://southamptonfc.com/news/2015-09-01/saints-complete-deadline-day-deal-for-van-dijk
  19. {{cite news}}: Empty citation (help)https://www.bbc.co.uk/sport/football/34115519
  20. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.bbc.co.uk/sport/football/36236667
  21. {{cite news}}: Empty citation (help)https://www.bbc.co.uk/sport/football/36236667
  22. {{cite news}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20190501165035/https://southamptonfc.com/news/2017-01-22/claude-puel-captains-southampton-virgil-van-dijk-steven-davis
  23. {{cite news}}: Empty citation (help)https://www.bbc.co.uk/sport/football/40170351
  24. {{cite news}}: Empty citation (help)https://www.bbc.co.uk/sport/football/40170351
  25. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.bbc.co.uk/sport/football/40855579
  26. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named BBCLiverpool
  27. {{cite web}}: Empty citation (help)
  28. {{cite news}}: Empty citation (help)http://www.liverpoolfc.com/news/first-team/285500-liverpool-agree-deal-to-sign-virgil-van-dijk
  29. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named NMcG
  30. 30.0 30.1 {{cite web}}: Empty citation (help)
  31. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named sb1718