Wikipedia talk:Community Portal
WIKIPEDIA MU KYALO E MBAZZI---DDALA KISOBOKA!!!!!!!
[edit source]Ku mulembe guno ogwa Yintaneti, ensi yafuuka kyalo kimu. Omuntu asobolera ddala okukola ebintu bingi nga yeyambisa emikutu gya yintaneti egy'enjawulo ng'asinzira wonna waali mu nsi yonna. Mu kunoonya amagezi, ffenna twenkana anti tubeera bayizi. Na bwe kityo, oba oli mu kibuga oba mu kyalo, kasita obeera ku Yintaneti,osobola okugyeyambisa okukuguka mu ebyo byoyagala. E Mbazzi, twagala tutandikeyo pulojekiti nga Bannakyalo nabo basobola okweyambisa Yintanenti okwekulakulanya mu byobulimi, mu byobulamu ate ne mu byenfuna. Bannambazzi bajja kusomesebwa okukozesa Kompyuta ate naddala mu nkulakulana yaabwe.Olwo bagenda kutandika okuwanyisiganya enkola ezisinga okuba ennungi mu bintu ebyenjawulo. Waliwo ekizimbe ekyaweereddwayo okusobola okubeera ekungaaniro lya Bannambazzi. Kati ekyetaagisa kwe kufuna Kompyuta wamu n'ebirala ebikozesebwa. Tusuubira okukozesa amasanyalaze g'enjuba. Tugenda kukola bino byonna nga tuyita mu kibiina kyaffe eky'Abalimi b'e MBAZZI. Twagala tukozese olulimi oluganda kuba ffenna tulutegeera bulungi. Abantu ab'enjawulo bajja kuwandiikanga ku nsonga ezo waggulu mu ngeri y'okuwanyisiganya ebirowoozo . Bino bigenda kusinga kwesigamizibwa ku nkola ezigezeseddwaako mu kyalo.Oli asobola n'okuwandiika ku ebyo bye yalabako oba bye yasomako.