Wilson Mbadi
Generaali Wilson Mbasu Mbadi mukulu munamaje eyadduumirako Uganda People's Defence Forces (UPDF) egye lya Uganda era nga ye Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku by'obusuubuzi mu minisitule yebyobusuubuzi, amakolero n'obwegassi. Mbadi yatuuka ku ntiko y'obukulembeze mu maje nga omuduumizi mu Gwomukaaga gwa 2021 era ekifo kino nakibeeramu okutuusa mu Gwokusatu gwa 2024 era ku bukulu buno yasikira General David Muhoozi, eyali alondeddwa Pulezidenti wa Uganda okukola nga Minisita w’ensonga omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga z'omunda mu ggwanga Uganda. [1][2]
Gyebuvuddeko,okuva mu Gwolubereberye gwa 2017 okutuusa mu Gwomukaaga, 2021, nga ali ku ddaala lya Lieutenant General, yaweereza nga Omumyuka W'omukulu W'ebyokwerinda nga adda mu bigere bya Lieutenant General Charles Angina, eyafuuka Omumyuka W'omukulu wa Operation Wealth Creation.[3] Mu bwangu nnyo nga ebyo tebinnabaawo, okuva mu Gwokutaano gwa 2013, okutuusa mu Gwolubereberye gwa January 2017, yaweereza nga Joint Chief of Staff ow'eggye lya UPDF, nga eno yasikirwa Major General Joseph Musanyufu.[4]
Obuvo bwe
[kyusa | edit source]Yazaalibwa nga 6 Gwomukaaga 1962 mu Disitulikiti y'eKasese.[5]
Okusoma eby'amagye
[kyusa | edit source]Wilson Mbadi yeegatta mu ggye lya Uganda mu 1986. Mu 1991, yasindikibwa okutandika okuweereza, nga amazeeko olusoma lwe olw'omwaka ogumu nga Ofiisa Asookerwako cku ssomero lya Royal Military Academy Sandhurst, mu United Kingdom. Bwe yali mu Sandhurst, yatikkirwa era nga ye yasinga mu kibiina kye. Mu 1992, yasomerera ebya Platoon Commander's Course mu ssomero lya Uganda School of Infantry, nga mu biseera ebyo lyali lisangibwa Jinja. Mu 1994, yasomerako mu Uganda Junior Staff College, era nga nayo esangibwa Jinja.[6]
Mu 1998, Mbadi yasoma essomo lya Mobile International Defence Management Course, mu Lusaka, Zambia. Era mu 1998, yasoma essomo lya Company Command Course muTanzania. Mu 2001, yasoma essomo lya Combat Group Command Course nga yasomera mu Armored Corps Center and School, mu Ahmadnagar, India. Mu 2004, Yasoma essomo lya Senior Command and Staff Course ku National Defence College, Kenya (NDCK). Era mu 2004, Wilson Mbadi yamaliriza essomo lya Peace Support Operations Course (PSTC) e Karen, Kenya.[6]
Mu 2005, yamaliriza Olusoma lwa Dipulooma mu Strategic Studies ku University of Nairobi. Mu 2007, yatikkirwa ne Diguli Ey'okubiri mu Strategic Studies nga yagisomera ku Air War College esangibwa e Maxwell Air Force Base mu Alabama, United States of America.[5]
Omulimu gwe ogw'amagye
[kyusa | edit source]Okuva mu 1987 okutuusa mu 1989, yaweereza nga Omuwi W'ebiragiro Omuyiga ku ssomero ly'amagye erya Kaweweta and Kabamba Recruit Training Schools. Mu 1991, ye yali Omukungu avunaanyizibwa ku Kukuba Ppulaani z'ebyemirimu. Ye yali akola nga Director of Supplies mu 1997/98 era nga Armoured Brigade Logistics Officer ne Brigade Administrative Officer mu 1999 ne 2000, nga obivudde kumu. Mu 2001, yaweereza nga Directing Staff, ku ssomero lya Uganda Junior Staff College erisangibwa e Jinja bwe yali tannaba kufuuka 503 Infantry Brigade Operations and Training officer mu 2001/2002. Wakati wa 2002 ne 2003, yaweereza nga Armoured Brigade Operations and Training Officer nga tannaba kutandika kuwa biragiro mu Armoured Brigade, era yali alikola nga ali mu kifo ekyo. Mu 2005, yafuna obuyinza obujudde mu kifo ekyo mu 507 Brigade nga tannaba kufuuka Principal Air Staff Officer (Personnel and Administration) ku Kitebe Ekikulu eky'eggye Lya Uganda mu 2006. Mu 2007, yafuuka Aide-de-Camp (ADC) ew'o Mukulembeze Wa Uganda, nga yaweereza mu kifo ekyo okutuusa nga mu Gwekkumineebiri 2012 lwe yalondebwa okukulira Ekibinja Ekyokuna Eky'eggye Ly'okutttaka eky'eggye lya UPDF, ekisangibwa e Gulu. Mu Gwokutaano gwa 2013, yalondebwa okubeera Joint Chief of Staff owa UPDF.[5][6][7]
Obuvunaanyizibwa bwe obulala
[kyusa | edit source]General Wilson Mbadi ye yali Omukulu mu Kunoonyereza mu ggye lya UPDF era Ssentebe wa UPDF Medals Committee, UPDF Dress Committee, Defence Forces Duty free Shop Board of Directors, Senior Command and Staff College Control Board, Uganda National Defence College Steering Committee, MoDVA Projects Preparation Committee era nga mmemba wa Kyoga Dynamics Board of Directors. Era, Gen. Mbadi yali mmemba wa Standard Gauge Railway Board of Directors (2015–2018). Era yaweereza nga Ssentebe w'ekibiina kya Uganda Military Engineering College era nga mmemba w'akakiiko akakulira National Enterprise Corporation Limited (2013–2016). Musajja mufumbo era alina abaana. Mu Kulisitaayo mu nzikiriza.[6]
Laba na bino
[kyusa | edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | edit source]- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/gen-wilson-mbadi-appointed-new-cdf-3448756
- ↑ https://nilepost.co.ug/2021/06/24/lt-gen-mbadi-appointed-new-cdf-elwelu-deputy/
- ↑ http://www.monitor.co.ug/News/National/Promoted-UPDF-officers-decorated-Mbadi/688334-3520106-y665u7/index.html
- ↑ https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1443959/musanyufu-appointed-updf-joint-chief-staff
- ↑ 5.0 5.1 5.2 http://chimpreports.com/10448-museveni-grooming-mbadi-for-army-commander/
- ↑ 6.0 6.1 6.2 6.3 https://en.wikipedia.org/wiki/The_Observer_(Uganda)
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2018-01-15. Retrieved 2024-09-14.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)