Jump to content

Winifred Kiryabwire

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Winifred Mary Tarinyeba Kiryabwire (yazaalibwa mu mwaka gwa1976), (eyali: Winifred Mary Tarinyeba), Munnayuganda ow'ebyamateeka, muyivu era munnabizinensi nga ye [./Https://en.wikipedia.org/wiki/Chairperson ssentebbe] wa DFCU Bank, bank enene eyabasuubuzi mu nsi z'omu East Africa. Yalondebwa mwekyo ekifo nga 1 Ogwokuna 2022.[1]

Obuto n'emisomo

[kyusa | edit source]

Munnayuganda. Yasomera mu masomero gabulijo pulayimale ne siniya. Diguli ye eyasooka, eya Bachelor of Laws, yagifunira ku Makerere University, Yunivasitte ya Gavumenti esinga obukadde n'obunene mu Uganda. Yeyongerayo nafuna Dipulooma mu Legal Practice, okuva ku Law Development Centre, mu Kampala, ekibuga ekikulu ekisinga obunene mu gwanga elyo. Diguli ye ey'okubiri, eya Master of Laws, yamuweebwa University of Cambridge mu United Kingdom. Alina diguli endala bbiri; emu ye Master of Science of Law era endala ye Doctor of Science of Law, byombi byamuweebwa Stanford Law School, mu United States.[1]

Emirimu

[kyusa | edit source]

Mu Gwokuna 2022, Kiryabwire alina obumanyi obusoba mu myaka 20 mu by'amateeka ne bizinensi. Associate professor ku Makerere University School of Law. Aweereza nga non-executive director ku DFCU Bank.[1]

Yaweerezaako nga mmemba wa board of directors wa Makerere University Holdings Limited, omukono gwa bizinensi mu Yunivasitte. Yali mmemba wa International Ethics Standards Board for Accountants (IESBA). Yali sentebe omutandisi owa Women Business Advisory Council ku DFCU Bank, jyeyava neyegatta ku board ya bank nga non-executive director.[1][2]

Obulamu bwe

[kyusa | edit source]

Winifred Kiryabwire mufumbo eri Justice Geoffrey Kiryabwire owa Court of Appeal of Uganda. Bombi bazadde b'omwana omuwala omu, Mary Kirabo Kiryabwire.[3]

Laba ne

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwa

[kyusa | edit source]
  1. 1.0 1.1 1.2 1.3 https://www.monitor.co.ug/uganda/business/finance/dfcu-bank-appoints-dr-kiryabwire-new-chairperson--3775088
  2. https://holdings.mak.ac.ug/new/index.php/about-us/board-of-directors/14-dr-winifred-tarinyeba-kiryabwire
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2024-04-08. Retrieved 2024-04-08.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)

Ebijuliziddwa wa bweru wa wikipideya

[kyusa | edit source]