Jump to content

Winnie Kiiza

Bisangiddwa ku Wikipedia
Winnie Kiiza
Winnie Kiiza

Winifred Kiiza (yazaalibwa nga 26 museenene 1972) Mukyala Munnayuganda omusomesa ate munnabyabufuzi ,Yaweerezaako nga Akulira oludda oluvuganya Gavumenti mu Ssetteeserezo wa Uganda,okuva mu mwezi gwa Muzigo(Ogwokutaano) 2016[1] okutuusa mu mwezi gwa Muwakanya(Ogwomunaana) 2018.[2] Oluvannyuma yasikizibwa omubaka Betty Aol Ochan nga akalira oludda oluwabula Gavumenti omuggya.[3] Era ye mubaka omukyala akiikirira abantu ba Disitulikiti ye Kasese mu Ssetteeserezo ya Uganda ey'omulundi ogwekkumi(2016-2021)

[4]

Ebyafaayo n'Ebyokusoma kwe

[kyusa | edit source]

Winifred Kiiza yazaalibwa nga 26 mu mwezi gwa Museenene 1972, ku kyalo Nsenyi , mu Ggombolola y'e Kisinga ,mu Disitulikiti y'e Kasese, mu Bugwanjuba bwa Uganda. Maama we, Mukyala Modesty Muke, yali muwagizi wa kibiina ky'ebyobufuzi ekya Uganda Peoples Congress (UPC), so nga ate kitaawe,Mwami Kanyere Constance Muke, yali wa Democratic Party (DP).Kitaawe Kiiza yafa mukaziwattu alina emyaka kkumi era nnyina ataalina na mulimu n'asigaza obuvunaanyizibwa bw'okulabirira abaana.[5]

Sasomera ku Nsenyi Primary School, Kajwenge Primary School wamu ne Kisinga Primary School. Mu misomo gye egya siniya eddaala erya ''O'' yalisomera ku,Saadi Memorial Secondary School, nga gye yava okudda ku Saint Maria Goretti School e Fort Portal mu myaka gye ebiri egyasembayo mu siniya.[5]

Oluvannyuma yeegatta ku National College of Business Studies (NCBS), e Nakawa, Kampala, awo mu kaseera ettendekero lino we lyakyukira okufuuka Makerere University Business School (MUBS).[5]

Kiiza Winfred

Eby'emirimu gye

[kyusa | edit source]

Mu luwummula olwaddirira ebigezo bya siniya ey'okuna , Kiiza yatandika okusomesa mu ssomero lye gye yasomera erya, Kisinga Primary School nga era kino kye yakola ne ku.Saint Maria Goretti School oluvannyuma lw'ebigezo bye ebya siniya eyoomukaaga.[5] Mu kiseera kye kimueddwaliro lya Bwera General Hospital lyabangibwawo era n'aweebwa omulimu omu mu kitongole ekitereka n'okukuuma eddagala. Oluvannyuma yakolera mu kampuni eddekanya eby'okulambuza abantu awo kinnya nampindi mu Queen Elizabeth National Park.[5]


  1. https://web.archive.org/web/20171107020014/http://watchdoguganda.com/winnie-kiiza-the-exceptional-leader-of-the-opposition-who-rose-from-grass-to-grace/
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2024-01-02. Retrieved 2024-01-02.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. https://www.monitor.co.ug/News/National/688334-4696670-13x7ei2z/index.html
  4. https://chimpreports.com/betty-aol-replaces-winnie-kiiza-as-leader-of-opposition/
  5. 5.0 5.1 5.2 5.3 5.4 https://www.monitor.co.ug/News/National/FDC-s-Winfred-Kizza-wins-Kasese-by-election/688334-1474514-7parf5/index.html Cite error: Invalid <ref> tag; name "Data" defined multiple times with different content