Winnie Matsiko
Masiko Winifred Komuhangi, era liwandiikibwa nga Winfred Matsiko Komuhangi oba Winnie Matsiko, munnayuganda munnabyabufuzi mu Uganda. Yeeyali omukiise w'ekibiina ky'ebyobufuzi ekya National Resistance Movement [1] owa disitulikiti y'e Rukungiri mu paalamenti ya Uganda ey'omunaana, ey'omwenda n'ey'ekkumi [2] .
Okusika omuguwa
[kyusa | kolera mu edit source]Mu 2002, Masiko Winifred Komuhangi ne Babihuga J. Winnie baali mu musango gwa kkooti ogukwata ku mutindo gw’obukakafu mu bumenyi bw’amateeka mu by’okulonda. [3] Mu paalamenti ya Uganda ey'omusanvu, Komuhangi, omubaka wa paalamenti ow'e Rukungiri, yafiirwa ekifo kye nga kyaddirira omusango gw'okulonda ogwawaabwa gweyaddira mu bigere, Winifred Babihuga. [4] Kkooti yasazaamu okulondebwa kwe. [5]
Nga 9, Omwezi ogwomusanvu Masiko yawaaba mu kkooti enkulu [6] okusazaamu obuwanguzi bwa Betty Bamukwatsa Muzanira, ng’agamba nti okulondebwa kwe kwalimu obumenyi bwamateeka . [7] Masiko yasaba okulonda kuddibwemu bupya. [7] Muzanira, ng'akiikirira ekibiina kya Forum for Democratic Change (FDC), yafuna obululu 50,611, ate Masiko, okuva mu kibiina kya National Resistance Movement, yafuna obululu 46,379. [7] [8] Sezi Prisca Mbaguta eyeesimbyewo ku bwannamunigina era eyali minisita wa kabineti yafuna obululu 993, ate Kakundakwe Fabith ow'ekibiina ky'ebyobufuzi ki People's progressive Party n'afuna 183. [8] Omulamuzi Moses Kazibwe yalamula omusango era naasanga nga tegwalina bujulizi bumala era naagugoba nga tewali alina kuliwa . [7]
Omuwendo gwa bantu mukaaga beebaasunsulwa ku kalulu akaddibwamu mu disitulikiti y’e Rukungiri okwali; Betty Muzaanira owa FDC, Winifred Matsiko owa NRM, Fabith Kukundakwe owa People's Progressive Party n'abeesimbawo ku bwa namunigina Sheila Atukunda Kirebete, Seith Mbaguta ne Elizabeth Rwakitonera . [2] NRM yawangulwa akalulu k'okuddamu emirundi ebiri nga Masiko Winifred Komuhangi avuganya. [8] Kino kyali kityo kubanga bannansi baali boolesa obusungu olwa NRM mu 2018 okukozesa obubi omuwendo gwayo mu paalamenti kuyisa ennongoosereza mu ssemateeka okuggya ekkomo lyolwesimbawo ery'emyaka ensanvu mwetaano (75) ku pulezident. [8] . Mu 2018, kkooti ejulirwamu yafulumya Winnie Matsiko okuva mu paalamenti oluvannyuma lwa Betty Muzanira owa FDC okuwakamya olulondebwa kwe. [9] [10] Kkooti yakizuula nti Matsiko yagulirira abalonzi ng’asonda ssente mu kkanisa ez’enjawulo mu biseera bya kampeyini. Kkooti era yanenya akakiiko k’ebyokulonda olw'okulemererwa okugoberera amateeka g’ebyokulonda agakwata ku kubala ebiva mu kulonda mu kulonda bwekaali tekannalangirira Matsiko ku muwanguzi. [9]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "NRM Parliamentary Caucus". NRM Parliamentary Caucus | National Resistance Movement (in Lungereza). Retrieved 2022-03-25.
- 1 2 Correspondent, GEORGE OKELLO | PML Daily Senior (2018-05-03). "NRM's Matsiko vows to win back Rukungiri MP seat as 6 are nominated". PML Daily (in American English). Retrieved 2021-04-03.
- ↑ "Masiko Winifred Komuhangi vs. Babihuga J. Winnie. - Court of Appeal Elect. Petit. Appeal No. 9 of 2002 - Uganda Online Law Library". ugandalawlibrary.net. Retrieved 2022-03-25.
- ↑ "Babihuga wins case, Masiko out". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2022-03-25.
- ↑ "This Week: NRM, FDC face off again for Rukungiri Woman MP seat". The Independent (Uganda) (in American English). 2018-04-14. Retrieved 2022-03-25.
- ↑ "Breaking! Court nullifies Joyce Bagala's victory, orders by-election". PML Daily (in American English). 2021-10-22. Retrieved 2022-03-25.
- 1 2 3 4 "Court upholds MP Muzanira victory". Monitor (in Lungereza). 2020-09-26. Retrieved 2022-03-25.
- 1 2 3 4 "Rukungiri rejects life presidency, sweeps away Museveni's hat". Rukungiri rejects life presidency, sweeps away Museveni's hat. Retrieved 2022-03-25.
- 1 2 LULE, BAKER BATTE (22 March 2018). "NRM's Matsiko thrown out of parliament as Panadol holds seat". The Observer - Uganda (in British English). Archived from the original on 2018-06-20. Retrieved 2021-04-03.
- ↑ "NRM's Matsiko thrown out of parliament as court orders fresh elections in Rukungiri". Nile Post (in American English). 2018-03-22. Retrieved 2021-04-03.