Winnie Nanyondo
Winnie Nanyondo (yazaalibwa nga 23 Ogwomunaana / August 1993, e Mulago)[1]. Munnayuganda era muddusi. Akiikiridde eggwanga lye (Uganda) mu mpaka ez'enjawulo naddala eziri ku mutindo ogw'ensi yonna omuli: the 2016 Summer Olympics, 2014 World University Cross Country Championships, 2014 Commonwealth Games, 2013 Summer Universiade, ne mu 2012 World Junior Championships in Athletics.
2012
[kyusa | edit source]Mu mpaka eza 2012 World Junior Championships, yatuuka ku mpaka ez'akamalirizo mu misinde egya mmita 800 oluvannyuma lw'okuwangula empaka eziddirira ez'akamalirizo era mw'akyasinze okuddukira eddakiika entono (eddakiika 2:02.38). Empaka z'akamalirizo zaawangulwa Omumerika Ajee' Wilson mu ddakiika 2:00.91, nga ye Nanyondo ye yasemba ng'addukidde eddakiika 2:07.23.
2013
[kyusa | edit source]Mu 2013 mu mpaka za Summer Universiade eza mmita 800 , yawandukiramu mu luzannya oluddirira olw'akamalirizo nga yaddukira eddakiika 2:02.96. Mu mbeera y'emu era mu mpaka eza mmita 1500 yawandukirako ku mutendera gwe gumu bwe yaddukira eddakiika 4:28.77.
2014
[kyusa | edit source]Mu 2014, Uganda ye yategeka empaka za Universiade World Cross Country Championships. Wano Nanyondo yakulemberamu ttiimu eyawangulira mu busikonda 30.[2][3]
Ekiseera ekyaddirira mu mwaka ogwo yayongera ku mutindo n'awangula emisinde egya mmita 800 ng'addukidde eddakiika 1:59.27 mu mpaka za Golden Spike Ostrava.[4]
Bwe waayitawo akaseera katono yeeyongera okulinnyisa omutindo gwe mu mbiro eza mmita 800 bwe yaddukira eddakiika 1:58.63 n'akwata ekyokusatu emabega wa Eunice Sum (1:57.92) eyakwaya ekyokubiri ne Ajee' Wilson (1:57.67) eyawangula empaka zino eHerculis mu kibuga Monaco ekya Bufalansa.[5][6]
Mu mpaka eza Commonwealth Games mu kibuga Glasgow, Scotland, 2014, Nanyondo yawangula omujoozi ogw'ekikomo bwe yamalira mu kifo ekyokusatumu mpaka ez'akamalirizo ez'emisinde egya mmita 800 ng'addukidde eddakiika 2:01.38, ng'akulembeddwa Munnakenya Sum ne Lynsey Sharp owa Scotland eyaziwangula.[7]
2015-2016
[kyusa | edit source]Mu 2015 ne 2016, emisinde gye gyakendeeramu ng'asussa mu ddakiika ebbiri mu gya mmita 800. Kino bwe kyali bwe yaddukira eddakiika 2:01.97 mu misinde gy'e Kortrijk, Belgium nga 11 Ogwomusanvu / July 2015, n'akwata Ekyokusatu.[8][9] Mu mizannyo egya 2016, egya Olympics mu kibuga Rio de Janeiro, ekya Brazil, yawandukira ku mutendera ogusooka mu misinde egya mmita 800, bwe yakwata ekifo eky'omukaaga nga yaddukira eddakiika 2:02.77.
Kyokka mu kiseera ekyaddirira yayongeramu amaani bwe yeetaba mu mpaka eza mmita 1500 mu kibuga Kawasaki ekya Japan nga 10 Ogwokutaano/ May 2015, n'amalira ku ddakiika 4:17.13.
Obuyigirize
[kyusa | edit source]Yasoma bya misono / industrial art and design mu Kampala University.
Ebijuliziddwamu
[kyusa | edit source]- ↑ http://g2014results.thecgf.com/athlete/athletics/1034664/w_nanyondo.html
- ↑ http://japanrunningnews.blogspot.com/2014/03/world-university-cross-country.html
- ↑ https://web.archive.org/web/20140727075737/http://www.newvision.co.ug/mobile/Detail.aspx?NewsID=653840&CatID=5
- ↑ https://www.athletics.africa/news/africa/uganda/winnie-nanyondo-breaks-ugandan-800m-record-ostrava-8394
- ↑ https://www.iaaf.org/competitions/iaaf-diamond-league/herculis-5383/results/women/800-metres/final/result"800 Metres Women".
- ↑ https://www.youtube.com/watch?v=wsVi6d-kOwY#t=85
- ↑ https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1306024/clever-nanyondo-recovered-win-bronze
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2016-10-05. Retrieved 2021-04-08.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ http://www.diamondleague.com/athletes/14534257.html