Yisaaka Netoni

Bisangiddwa ku Wikipedia

Kakensa Isaac Newton yali Munnassomabutonde (Physicist) era Omubalanguzi (Mathematician) kayingo.

Ye yasooka okulambulula ekigereeso ky’okuva kw’ebintu (the theory of the motion of objects/things).

Amateeka ga Newton ag’Okuva (Newton’s laws of motion) ensibuko yaago eri mu Isaac Newton. Newton era yannyonnyola Ekigereeso ky’Essikirizo (the theory of gravity). Waliwo olunaawuzo (legend) olugamba nti lumu aba atuddeko wansi mu muti gw’ebibala, ekibala ne kigwa wansi ne kimukuba mu mutwe. Yebuuza nti ki ekireetedde ekibala ekyo okugwa wansi ne kitadda waggulu.

Yafuna okwolesebwa okw’omulengera (mental insight) okwembagirawo nti wateekwa okuba nga waliwo empalirizo etalabika (invisible force) ereetedde ekibala okugwa wansi. Empalirizo etalabika eno n’agiyita essikirizo ly’ensi (earth’s gravity), eno nga eba nsikirizo ennene (big attraction), esikira enzitoya entono (small mass) mu makkati g’enzitoya ennene (big mass).