Zahara Nampewo

Bisangiddwa ku Wikipedia

  Zahara Nampewo, munayuganda munamateeka, mulwanirizi w'eddembe ly'obuntu era munabyanjigiriza. Ye Senkulu w'ekitongole ekya Human Rights and Peace Centre (HURIPEC) ku Makerere University School of Law, mu Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda era ekibuga ekisinga obunene.

Ebyafaayo n'okusoma[kyusa | edit source]

Zahara Nampewo alina olukalala oluwanvu olw'ebyenjigiriza mu by'amateeka ne mu by'eddembe ly'obuntu. Alina diguli ya Bachelor of Laws okuva mu Makerere University, mu Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda era ekibuga ekisinga obunene. Alina ne dipulooma mu by'amateeka, gye yafuna okuva mu Law Development Centre, nayo mu Kampala.

Diploma ye eya Advanced mu Human Rights Protection yagifuna okuva mu Abo Akademi University, mu Turku, Finland. Alina ne diguli ey'okubiri mu Mateeka, mu ddembe ly'obuntu, eyamuweebwa University of Nottingham mu Bungereza. Doctor of Juridical Science yafuna okuva mu Emory University mu Atlanta, Georgia, United States.

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Nga tanayingira Yunivasite ya Makerere mu 2006, yakolanga ng'omukungu w'amateeka omukulu mu Foundation for Human Rights Initiative (FHRI), ekitongole ky'obwa nakyeewa ekirwanirira eddembe ly'obuntu, ekisangibwa mu Nsambya, ekitundu ekiriraanye mu Kampala. Era yakolanga ng'omukugu mu nsonga ez'obwenkanya obwesigamiziddwa ku kikula mu kitongole ekya United Nations Development Fund for Women, mu Liberia. Amangu nga tanayingira Makerere, yakolerako ekitongole kya Danish International Development Agency (DANIDA), ng'omukwanaganya w'enteekateeka ya Access to Justice.

Mu Yunivasite ya Makerere, Nampewo asomesa by'amateeka era akulira HURIPEC, ekitundu ky'essomero ery'amateeka. Yakuguka nnyo ku ddembe ly'obuntu n'eddembe n'ery'ekikula era asomesa ku kugonjoola obutategeeragana, International Humanitarian Law, Gender Law, Health Law, ne Family Law. Yafulumya ebitabo bingi mu mpapula z'amawulire ku nsonga eno n'emiramwa egikyekusaako.

Ebirala bye balowoozaako[kyusa | edit source]

Dr. Zahara Nampewo y'akulira ekitongole kya Governance and Public Policy Research Center, ekitongole ekya Think Tank, ekisangibwa mu Kampala, Uganda.

Laba era[kyusa | edit source]

Ebyawandiikibwa[kyusa | edit source]

Enkolagana ez'ebweru[kyusa | edit source]