Jump to content

Zeero (Ziro)

Bisangiddwa ku Wikipedia
zeero

Gakuwebwa Muwanga !! Zeero

Zeero eba nkuumakifo(placeholder). Endowooza ya zeero(0), yadde nga kati buli muntu aginnyonnyoka bulungi, yalwawo okukozesebwa abantu ab’edda. Kyokka oluvannyuma abantu abagezigezi baatandika okwebuuza nti bwe waba tewali kya kubala, ekyo okibaza otya? Eky’okulabirako bwe bakuwa ebisawo bibiri ekimu nga kirimu sente ate ekirala nga kikalu, temuli sente, ekyo omutali sente n’emu okiraga otya mu buwandiike obwa obubonero oba mu njogera ey’ekibalangulo (mathematically speaking)?

Abantu bwe baali bakatandika okuwandiika namba ennene nga 60 baasanga obuzibu okulaga enjawulo wakati wa 6 ne 60 kubanga awatali kabonero ka kubala aka ziro mukaaga ne nkaaga bilabika nga bye bimu mu mpaandiika.

Ababalanguzi (mathematicians) kye baakola kwe kuteekawo “enkuumakifo” (placeholder), akabonero ak’enjawulo okulaga nti “mu kifo ekyo tewali "ndagamuwendo ”(digit) yonna.

N’olwekyo namba 909 etegeeza :ebikumi mwenda(lwenda), tewali muwendo gwa makumi ate waliwo ensusuuba mwenda

Endowooza ya zeero(zero) wano we yatandikira era oluvannyuma ababalanguzi ne batandika okujibalira mu namba era kati oyinza okulowooza mu ngeri egamba nti nabadde ne yiika z’ettaka 75 ne ntundako yiika 75, kati nina yiika zeero, ekitegeeza nti kati sirina yiika n’emu.