Ziria Tibalwa Waako
Ziria Tibalwa Waako Munnayuganda mukugu mu by'amasanyalaze era mukulu wa kitongole, nga aweereza nga Dayilekita omukulu era omukulu w'ekitongole kivunaanyizibwa ku masanyalaze ekya Electricity Regulatory Authority, okuva mu Gwekkuminogumu 2016. Yadda mu bigere bya Benon Mutambi, eyalondebwa okuweereza ng'omukozi wa Gavumenti mu Minisitule ya Uganda ey'ensonga z'omunda.[1] Emyezi esatu egyasooka, okuva mu Gwekkuminogumu 2016 okutuusa mu Gwokusatu 2017, yaweereza mu busobozi obwo okutuusa lw'eyakakasibwa nga 27 Owokusatu 2017.[2]
Obuto bwe n'emisomo gye
[kyusa | edit source]Aina Dipuloma eyabulijjo mu byamasanyalaze ne Dipuloma ey'abakugu mu Byamasanyalaze nga zombi yaziggya ku Uganda Polytechnic Kyambogo (nga mu kaseera kano ye Kyambogo Yunivasite). Era alina Diguli esooka n'ey'okubiri mu byamasanyalaze eza Bachelor of Science ne Master of Science, zombi mu ssomo lya Electrical engineering, era nga yazigya ku Ssettendekero wa Makerere, mu Kampala, ekibuga kya Uganda ekikulu. Okwongeraza kw'ebyo, alina Diguli ey'okubiri eya Master of Business Administration mu bukulembeze, nga yagifunira ku Walden University, mu Minneapolis, Minnesota, United States.[3]
Emirimu gye
[kyusa | edit source]Olugendo lw'emirimu gya Tibalwa Waako luwanvu, okuviira ddala mu myaka 23 emabega. Emirimu gye egy'obukuli agimalidde mu kitongole kya Uganda eky'amasanyalaze. Akola ku kakiiko akakulembera ekyali ekitongole kya masanyalaze ekya Uganda Electricity Board (UEB). Ekiyongole kya UEB bwe kyagwaawo mu 2001, yakyusibwa nagenda m kitongole kya Uganda Electricity Transmission Company Limited (UETCL). Mu 2012 yalondebwa ku kifo kya Dayilekita mu kitongole ky'amasanyalaze ekya Electricity Regulatory Authority, nga yaweereza mu ofiisi eyo okutuusa lwe yakuzibwa okufuuka CEO.[1][2]
Nga Dayilekita mu kitongole kya ERA, abadde w'ankizo nnyo mu kutumbula okukozesa amataala agakekereza amasanyalaze. Eby;ava mu kwogera kwe, Gavumenti ya Uganda yasaasanya obukadde bwa Ddoola 4.1 okugula balubu ezikekereza amasanyalaze eza LED bulbs ez'agabibwa mu ba Kasitoma, Okuva mu Gwekkumi 2014 okutuusa mu Gwokuna 2016. Zino zaali zikozesa amasanyalaze ga 30 megawatts (40,000 hp).[4]
Famile ye
[kyusa | edit source]Engineer Waako mufumbo eri Pulofeesa Paul Waako, omukugu mu kugaba eddagala era omukulu w'essomo, okuva nga 1 Ogwokutaano 2019, aweereza nga Vice Chancellor owa Busitema University, Yunivasite ya Gavumenti mu Buvunjuba bwa Uganda. Era bombi, bazadde eri abaana bataano.[5]
Ebirala ebikulu
[kyusa | edit source]Engineer Ziria Tibalwa Waako mmemba mu "Uganda Institute of Professional Engineers".
Laba na bino
[kyusa | edit source]- Umeme Limited
- Uganda Electricity Generation Company Limited
- Uganda Electricity Distribution Company Limited
Ebijuliziddwamu
[kyusa | edit source]Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya
[kyusa | edit source]- ↑ 1.0 1.1 http://ugbusiness.com/2510/electricity-regulatory-authority-gets-acting-chief-executive
- ↑ 2.0 2.1 http://www.publicnow.com/view/A99A7DB0D264CE306F12BDE3F1F7EAD7BB213058?2017-03-28-07:00:53+01:00-xxx4462
- ↑ https://www.newvision.co.ug/articledetails/214
- ↑ https://www.esi-africa.com/news/energy-saver-bulbs-uganda-conserve-power/
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2020-02-19. Retrieved 2024-04-24.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)