Ebyawuzi
Appearance
EBYAWUZI
[kyusa | edit source]Oluganda, lumu ku nnimi ezoogelwa mu Uganda. Lwe lulimi oluzaalilanwa olwa abantu abaytibwa Abaganda abasangibwa mu Bwakabaka bwa Buganda.
Oluganda lwogelwa abantu abasoba mu bukadde ekkumi **10 millions**.
Oluganda lugwa mu kiti kya ennimi ennabantu eza omu bukiikaddyo bwa eddungu Sahara. Oluganda lulina ebintu bye lufaananya ne ennimi endala bwe zigwa mu luse olumu. Wabula lulina ne ebintu ebilala ebilwawula ku nnimi endala. Bino bye bino:
- Oluganda lulina enjatuza 5 ela ze zino: /a e i o u/
- Oluganda lulina ensilifu 19 eza ennono okwo kwe ossa ne ensilifu endala ezifa mu nnimi endala.
- Oluganda lusobola okweyambisa enjatuza nga ziwangaala oba nga teziwangaala, okugeza SAABA oba SABA.
- Oluganda lusobola okweyambisa ensilifu nga ziwangaala oba nga ziggumiza, okugeza KIBUGA oba KIBUGGA.
- Oluganda lusobola okugattika nnakinnyindwa ne ensilifu etali nnakinnyindwa okukola ennyingo, okugeza NTA-MBU-LA.
- Oluganda lusobola kugattika ensilifu ne nnambawengwa ne zikola ennyingo, okugeza EKYALO, O-MWA-KA.
- Oluganda lugwa mu kiti kya enninmi emmembesi, ekitegeeza nti lugattika obutundutundu obwa enjawulo okukola ekigambo ekya amakulu. Okugeza, O-MU-SOM-ES-A, O-KU-YIG-ILIZ-IBW-A, ne ebilala.
- Oluganda lweyambisa nnyo embu za amannya 19. Embu zino zeeyambisibwa okulaga obwannamunigina nga: OMU-NTU, OMU-TI, ELI-ISO, EKI-TALA, AKA-MYU, ne ebilala. Ela embu zino zisobola okweyambisibwa okulanga obungi nga: ABA-NTU, EMI-TI, AMA-ASO, EBI-TALA, OBU-MYU, ne ebilala.
- Oluganda bwe luba lutegeka ebigambo byalwo mu ntegeezo, lutela okugobelela ensengeka eya SVO okugeza, Omwana asoma ekitabo.
- Oluganda lutela okweyambisa ebiseela ebikulu bisatu ela nga bilina obubonelo obubilamba. Muno mulimu EKISEELA EKILIWO nga BA-SOMA; EKISEELA EKINAJJA **-NAA-** nga BA-NAA-SOMA; EKISEELA EKILIJJA **-LI-** nga BA-LI-SOMA; EKISEELA EKYAYITA **-A-** nga BA-A-SOMA.