Jump to content

Abed Bwanika

Bisangiddwa ku Wikipedia
Abed Bwanika
omuntu
ekikulamusajja Kyusa
ensi y’obutuuzeYuganda Kyusa
erinnya eriweereddwaAbed Kyusa
olunaku lw’amazaalibwa1 Gwamunaana(Muwakanya) 1967 Kyusa
gy'azaalwaMasaka Kyusa
ennimi z'amanyiLungereza Kyusa
omulimumunnabyabufuzi, musawo w'abisolo Kyusa
GyeyasomeraSsettendekero wa Makerere, Masaka Secondary School, Kigezi High School Kyusa
gyabeeraKampala Kyusa
ebbanga ly'akoledde (okutandika)1987 Kyusa
okwesiimbawo kwe mu kaluluakalulu k'obwa pulezideenti aka 2016 Kyusa
akiikiriraKimaanya-Kabonera Division Kyusa

Abed Bwanika yazaalibwa nga 1 Ogwomunaana 1967, Munnayuganda, munnabyabufuzi era ppaasita. Ye Pulezidenti wa People's Development Party, ekibiina ekiri ku ludda oluvuganya gavumenti mu Uganda. Mu kiseera kino ye Mubaka wa Palamenti akiikirira ekitundi kya Kimanya-Kabonera ku kkaadi ya NUP, ekibiina ekikulemberwa Robert Kyagulanyi Ssentamu.[1]

Obuvo bwe n'okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Bwanika yazaalibwa nga 1 Ogwomunaana 1967 mu biseera bino Disitulikiti y'e Lwengo.[2] Yasomera ku Kimwanyu Primary School, okumpi n'amaka ga bazadde be. Oluvannyuma yeegatta ku Masaka Secondary School gye yamalira siniya eyookuna, ne ku Kigezi High School gye yakolera siniya eyoomukaaga. Yaweebwa ekifo ku Yunivasite y'e Makerere, gye yafunira Diguli esooka mu Busawo bw'Ebisolo. Oluvannyuma, yafuna diguli eyookubiri eya ssaayansi mu kisaawe kye kimu, era okuva e Makerere.[3]

Oluvannyuma lwa diguli ye eyasooka, yasigala e Makerere ng'omuyambi w'abasomesa ng'akola okunoonyereza era nga bwakola diguli ye eyookubiri.[3] Mu 2001, yava mu busomesa n'okwebuuzibwako ku bulunzi bw'ebisolo. Yatandikawo ekkanisa, Christian Witness Church.[4]

Mu kulonda kw'obwapulezidenti okwa 1996, yawagira Yoweri Museveni wabula n'adda ku ludda lwa Kizza Besigye mu 2001. Yavuganya mu kalulu k'obwapulezidenti mu Gwokubiri 2006 ku bwannamunigina,[4] n'amalira mu kifo kyakuna n'obutundutundu 0.95 ku kikumi bwe bululu 65,874.[5]

Yaddamu okuvuganya mu kalulu k'obwapulezidenti ak'Ogwokubiri 2011 ku kkaadi ya People's Development Party, ekibiina kye yatandikawo era nga ye Pulezidenti waakyo.[6] Omulundi ogwokubiri yafuna obululu obwakka wansi emirundi 14,000 bwe bululu 51,708, nga bye bitundu 0.65 ku kikumi ku bululu bwonna obwakubibwa.[5]

Mu Gwomunaana 2020, yava mu kibiina ki People's Development Party okwegatta ku National Unity Platform.[7] Mu kalulu ka bonna aka 2021 yalondebwa ng'omubaka wa Palamenti akiikirira konsitituwensi ya Kimanya-Kabonera mu kibuga ky'e Masaka.[8]

Obulamu bwe ng'omuntu

[kyusa | kolera mu edit source]

Bwanika yawasa Gladys Namusuwe, omukugu mu by'ennyanja era omusomesa ku Dipatimenti ya Zoology ku Makerere University. Babadde bafumbo okuva mu 1995 era balina abaana abalenzi bana, Wise, Decent, Chosen, ne Delight.[9]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Mukombozi, Rajab (30 March 2015). "Get Out of Kampala, Bwanika Tells Opposition". Daily Monitor (Kampala). Retrieved 30 March 2015.
  2. Bindhe, Edward (20 March 2014). "Dr. Abed Bwanika Among Evicted Lwengo Wetland Encroachers". Uganda Radio Network (URN). Retrieved 30 March 2015.
  3. 1 2 Ashaba, Anita (30 September 2013). "Abed Bwanika: I Was Called To Do Big Things In Life". Ugo.co.ug. Archived from the original on 12 August 2021. Retrieved 30 March 2015.Template:Dead link
  4. 1 2 "Uganda's Other Presidential Hopefuls". BBC News. 17 February 2006. Retrieved 30 March 2015.
  5. 1 2 "Ugandan Presidential Election, 2011". Uganda Electoral Commission. March 2011. Archived from the original on 5 May 2016. Retrieved 30 March 2015.
  6. "Eight Candidates to Contest Uganda 2011 Elections". Africanelections.org Quoting Uganda Electoral Commission. 30 November 2010. Archived from the original on 2 April 2015. Retrieved 30 March 2015.
  7. Javira Ssebwami (13 August 2020). "Crossing the Red Line! 'President' Bwanika defects to NUP from his own party". PML Daily. Retrieved 21 February 2021.
  8. "Editorial: Uganda should focus on the day after tomorrow". The East African. 19 January 2021. Archived from the original on 13 March 2021. Retrieved 21 February 2021.
  9. "Abed Bwanika And Gladys Namusuwe of PDP". New Vision (Kampala). 29 October 2010. Archived from the original on 2 April 2015. Retrieved 30 March 2015.