Jump to content

Agnes Konde

Bisangiddwa ku Wikipedia
Agnes Konde
omuntu
Ekikulamukyala Kyusa
Ensi y’obutuuzeYuganda Kyusa
Erinnya eriweereddwaAgnes Kyusa
Gy'azaalwaYuganda Kyusa
Omulimubusiness executive Kyusa
GyeyasomeraUniversity of Liverpool, Ssettendekero wa Makerere Kyusa
GyabeeraNairobi Kyusa
Ebbanga ly'akoledde (okutandika)2004 Kyusa
Personal pronounL484 Kyusa

Agnes Asiimwe Konde, era Aggie Asiimwe Konde, amanyikiddwa enyo nga Agnes Konde, Munnayuganda mukyala musuubuzi, era corporate executive aweereza nga Omumyuuka wa Pulezidenti w'omikago gw'ebyenkulaakulana ogwa Program Development & Innovation at Alliance for a Green Revolution in Africa (AGRA), okuva mu 2019.[1][2]

Nga tanakola ebyo, okuva 1 Ogwekkumi 2017 okutuusa Ogwekkuminoogumu 2019, ye yali akulira ekitongole kya Msingi, ekyeyimirizaawo, eky'obwananyini ekitumbuula okutandikawo amakolero agakolera amagoba mu nsi z'omu African Great Lakes,[3] nga kisinziira mu Nairobi, Kenya. Msingi kitongole etuusa obuweereza bwakyo eri ensi nga Kenya, Uganda, Tanzania ne Rwanda.[4]

Obuvo bwe n'okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Konde yazaalibwa mu Uganda era yasomera mu masomera ga Uganda emisomo gye bwe yali taneegatta ku Yunivasite. Yatikirwa mu Yunivasite y'e Makerere, Yunivasitte ya Uganda esinga obunene n'obukulu, ne diguli Esooka eya Bachelor of Arts (BA) mu Social Science. Alina diguli Eyookubiri mu Byobusuubuzi eya Master of Business Administration, gyeyafunira mu Universty of Liverpool, mu United Kingdom.[5] Mu 2011, yatikirwa Dilpulooma mu by'ekitunzi okuva mu ttendekero lya Chartered Institute of Marketing.[6]

Alina obumanyirivu mu buweereza n'okudukanya ekisaawe ky'eby'amaguzi ebikozesebwa abantu baabulijjo, eby'okulya n'ebyokunwa era n'ekisaawe ky'ebyamawulire mu by'enfuna, esukka mu myaka amakkumi abbiri. Yakolako n'ebitongole ebinene , nga (a) Monitor Publications Limited (b) British American Tobacco Uganda Limited ne (c) Crown Beverages Limited, nga eno ye kkampuni Ugandan gye yawa olukusa okukola sooda wa PepsiCo.[7]

Mu kaseera nga tannatuuka mu kifo kyalimu kati, yali managing dayirekita ne CEO wa Africa Broadcasting Uganda Limited (ABUL), ekitundu ku kkampuni ya Nation Media Group ne nanyini wa Nation TV Uganda (NTV Uganda). Yakulembera ABUL okuva mu 2013 okutuusa 8 Ogwomunaana 2017, bwe yalekulira okukola mu kifo kyalimu kati.

Ebirala ebitunuuliddwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Mmemba wa Board ya African Network for the Care of Children (ANECCA) abakosefu ba Siriimu, [./United_Way_Worldwidehttps://en.wikipedia.org/wiki/United_Way_Worldwide United Way (Uganda)] ne Uganda Manufacturers Association (UMA). Mmemba wa Women-in-Media Network, ekitundu kya Graça Machel Trust.[8] Mu 2015, Contador Harrison yamuteeka ku lukalala lw'a "bakyala Ekkumi Abasinga Amaanyi mu Uganda".[9]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. AGRA (30 August 2021). "Agnes Asiimwe Konde: Vice President, Program Innovation & Delivery". Alliance for a Green Revolution in Africa (AGRA). Nairobi, Kenya. Archived from the original on 5 December 2021. Retrieved 30 August 2021.
  2. Michael Ntezza (28 August 2021). "Museveni, Kikwete Meet Ahead of Africa Green Resolution Summit". ChimpReports. Kampala, Uganda. Retrieved 30 August 2021.
  3. Msingi (1 October 2017). "Msingi Appoints a New CEO". Nairobi: Msingi.com (Msingi). Retrieved 7 November 2017.
  4. Monitor Reporter (17 August 2017). "Aggie Konde to leave NTV Uganda". Daily Monitor. Kampala. Retrieved 7 November 2017.
  5. Aggie Asiimwe Konde (30 August 2021). "Aggie Asiimwe Konde: Vice President Program Development & Innovation at Alliance for a Green Revolution in Africa (AGRA)". LinkedIn. Retrieved 30 August 2021.
  6. Contador Harrison (23 May 2015). "Ten Most Powerful Women In Uganda". ContadorHarrison.com (Contador Harrison). Archived from the original on 7 November 2017. Retrieved 6 November 2017.
  7. Msingi (1 October 2017). "Msingi Appoints a New CEO". Nairobi: Msingi.com (Msingi). Retrieved 7 November 2017.
  8. Aggie Asiimwe Konde (30 August 2021). "Aggie Asiimwe Konde: Vice President Program Development & Innovation at Alliance for a Green Revolution in Africa (AGRA)". LinkedIn. Retrieved 30 August 2021.
  9. Contador Harrison (23 May 2015). "Ten Most Powerful Women In Uganda". ContadorHarrison.com (Contador Harrison). Archived from the original on 7 November 2017. Retrieved 6 November 2017.

Ebijuliziddwa wabweru wa wikipediya

[kyusa | kolera mu edit source]