Jump to content

Agnes Konde

Bisangiddwa ku Wikipedia

Agnes Asiimwe Konde, era Aggie Asiimwe Konde, amanyikiddwa enyo nga Agnes Konde, Munnayuganda omukyaala ow'ebya bizinensi, era corporate executive aweereza nga Omumyuuka wa Pulezidenti wa Pulogulaamu y'ebyenkulaakulana eya Program Development & Innovation at Alliance for a Green Revolution in Africa (AGRA), okuva mu 2019.[1][2]

Nga tanakola ebyo, okuva 1 Ogwekkumi 2017 okutuusa Ogwekkuminoogumu 2019, ye yali nanyini wa Msingi, ekitngole ekyeyimilizaawo, eky'obwananyini ekitumbuula okutandikawo amakolero agakolera amagoba mu nsi z'omu African Great Lakes,[3][4] Agasangibwa mu Nairobi, Kenya, Msingi agawa services mu Kenya, Uganda, Tanzania ne Rwanda.[3]

Ebimukwaatako n'emisomo

[kyusa | edit source]

Konde yazaalibwa mu Uganda era yasomera mu masomera ga Uganda emisomo nga taneegatta ku Yunivasitte. Yatikibbwa okuva mu Yunivasitte y'e Makerere, Yunivasitte ya Uganda esingamu obunene n'obukulu, ne diguli ya Bachelor of Arts (BA) mu Social Science. Alina diguli mukudukanya bizinensi eya Master of Business Administration, gyeyafuna okuva mu Yunivasitte ya Liverpool, mu United Kingdom.[3] Mu 2011, yatikibwa ne Dilpulooma mu by'ekitunzi okuva mu ttendekero lya Chartered Institute of Marketing.[5]

Emirimu

[kyusa | edit source]

Alina obukugu mu services n'okudukanya sector y'ebintu ebya consumer goods, eby'okulya n'ebyokunwa era ne sector y'ebyamawulire mu by'enfuna, esuuka mu myaaka amakkumi abbiri. Yakolako n'ebitongole ebinene , nga (a) Monitor Publications Limited (b) British American Tobacco Uganda Limited ne (c) Crown Beverages Limited, the Ugandan licensee of PepsiCo.[3]

Mukaseera nga tanatuuka mu kifo kyalimu kati, yali managing dayirekita ne CEO wa Africa Broadcasting Uganda Limited (ABUL), ekitundu ku Nation Media Group ne nanyini wa Nation TV Uganda (NTV Uganda). Yakulembera ABUL okuva mu 2013 okutuusa 8 Ogwomunaana 2017, byayalekulira okukola mu kifo kyaalimu kati.

Ebirala

[kyusa | edit source]

Mmemba wa Board ya African Network for the Care of Children (ANECCA) abakosefu ba HIV/AIDS, [./United_Way_Worldwidehttps://en.wikipedia.org/wiki/United_Way_Worldwide United Way (Uganda)] ne Uganda Manufacturers Association (UMA). Mmemba wa Women-in-Media Network, ekitundu kya Graça Machel Trust.[3] Mu 2015, Contador Harrison yamuteeka ku lukalal lwa "Abakyaala Ekkumi Abasinga Amaanyi mu Uganda".[6]

Laba na bino

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwa

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwa wa bweru wa wikipediya

[kyusa | edit source]
  1. "Archive copy". Archived from the original on 2021-12-05. Retrieved 2024-04-30.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. https://chimpreports.com/museveni-kikwete-meet-ahead-of-africa-green-revolution-summit/
  3. 3.0 3.1 3.2 3.3 3.4 http://www.msingi.com/
  4. http://www.monitor.co.ug/News/National/688334-4060556-14hgidr/index.html
  5. https://www.linkedin.com/in/aggie-asiimwe-konde-bbbb1593/?originalSubdomain=ug
  6. https://web.archive.org/web/20171107060539/http://www.contadorharrison.com/ten-most-powerful-women-in-uganda/#text-4