Jump to content

Akite Agnes

Bisangiddwa ku Wikipedia
Akite Agnes
omuntu
Ekikulamukyala Kyusa
Ensi y’obutuuzeYuganda Kyusa
Erinnya lya famireAgnes Kyusa
Yazaalibwa nga19 Gwakusatu(Mugulansigo) 1983 Kyusa
Gy'azaalwaKampala Kyusa
Ennimi z'amanyiLungereza Kyusa
Omulimucomedian, actor Kyusa
GyeyasomeraSsettendekero wa Makerere Kyusa
Ebbanga ly'akoledde (okutandika)2009 Kyusa
EdiiniCatholicism Kyusa
Magnum opusThe Hostel Kyusa

Akite Agnes (yazaalibwa nga 19 Ogwokusatu 1983) Munnayuganda omuzannyi wa Katemba ow'oku siteegi, mwogezi w'oku mikolo, era ayagala ennyo okuyamba. Amanyiddwa nnyo olw'okuzannya nga Arach [1] mu firimu ya The Hostel. Era yazannyirako mu firimu ya Pearl Magic's Girl from Mparo nga Mama Brian, muliraanwa alingiriza. Engeri ye eya Katemba ya kusaagirira ku nsonga eziruma abantu mu mbeera zaabwe eza bulijjo mu bulamu bwabwe.

Obuto bwe n'okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Agnes yazaalibwa nga 19 Ogwokusatu 1983 mu Kampala, Uganda, mu maka ga Anthony Opio, omubalirizi w'ebitabo ne Hellen Opio. Ye mwana ow'okutaano mu baana mwenda,[2] bwe bazaalibwa. Yakulira Kitintale oluvannyuma n'adda e Mutungo, ebitundu ebiriraanye Kampala. Yakuzibwa nga Mukatoliki n'agenda mu St. Kizito Primary School, Bugolobi, gye yatuulira ebigezo bye eby'ekyomusanvu, era oluvannyuma yeegatta ku Our Lady of Good counsel, Gayaza gye yamalira siniya.Ebigezo ebya Siniya Eyookuna yabituulira ku Naalya S.S Namugongo oluvannyuma nadda ku St.Lawrence reamland Campus nga eno gyeyatuulira ebigezo ebya Siniya Eyoomukaaga oba UACE. Oluvannyuma yayingira Makerere University mu 2003 gye yafunira diguli esooka mu by'obulambuzi.[3]

Mu 2009, Agnes yatuukirirwa Anne Kansiime okuzannya mu firimu empya eyitibwa The Hostel oluvannyuma lwa mukwano gwe, Pamela, okugigaana. Yaweebwa ekifo kya Arach nga tasoose kugezesebwa.[4] Eno yeeyali entandikwa y'omulimu gwe ogw'okuzannya katemba. Omuzannyo Hostel gwali gwamanyibwa nyo mu Uganda, nga gwasook kulagibwa ku NTV ate oluvannyuma ku DStv. Agnes yasigala mu mizannyo guno ogw'okusiteegi emirundi esatu n'avaamu mu 2012 ng'ateekateeka okuzaala omwana we ow'okubiri, Brianna. [citation needed]

Mu 2014, yatandika okuzannya emizannyo mu kibiina ekiyitibwa The Punchliners, oluvannyuma lw'okusendebwasendebwa Anne Kansiime ne Daniel Omara okugezaako okuzannya Katemba ow'okusiteegi.[5][6] Oluvannyuma yegatta ku Comedy Files.

Mu 2015, y'omu ku baazannya Queens of Comedy Uganda vs Kings of Comedy Rwanda mu Kigali.

Mu 2016, yalabikira mu Girl from Mparo nga Mama Brian, omuzannyo ogwalagibwanga ku UBC[7] n'oluvannyuma ne guteekebwa ku DSTV's Pearl Magic.

Mu 2018, endagaano ye ne Comedy Files ng'eweddeko, Agnes yatandika okukola emirimu gye obwomu ku mikutu gya katemba egy'enjawulo, omuli Rock Comedy ne Comedy Store Ug, ayanjulibwa Alex Muhangi. Mu mwezi Ogw'omukaaga, yalabika mu kivulu ekya Kampala Comedy, ogwategekebwa Okello Okello, munnakatemba omwatuukirivu mu Uganda.[8] Bwe yakomawo mu Comedy Stores UG mu Ogw'omunaana, yakwata abantu omubabiro.[9] Ekitundu ky'omuzannyo ogwo kyayatiikirira nnyo ku mukutu ogwa WhatsApp, gye yatenderezebwa ennyo.[10] Yagamba nti omuzannyo guno gwali gumanyiddwa nnyo olw'omulimu gwa Comedy Store gwe yakola ku mikutu emigatta bantu, ne Kakensa Media, olwokubeera n'abagoberezi abangi ku Facebook.[11] Wakati w'Ogwomunaana n'Ogwekkuminoogumu, Agnes yali omu ku ba UG Pineapple Comedy Tour, ekyamutwala mu bitundu by'eggwanga eby'enjawulo omuli Mbale, Gulu, Fort Portal, Jinja, ne Mbarara.[12] Yali omu ku baali mu kibinja kya Comedy Store Ug ekyagenda e Mbarara okuzannya emizannyo gyayo egisookera ddala ebweru wa Kampala.[13] Agnes yalabikira omulundi ogwasooka mu kitundu eky'okuna ekya Africa Laughs nga 8 Ogwekkumi mu Kampala Serena Hotel,[14] eyategekebwa Patrick Salvador Idringi, n'abazannyi ba katemba abalala okwali Basketmouth, Alfred Kainga, Eddie Kadi, Mc Jesse, Pulofeesa Haimo, ne Arthur Nkusi. Mu Gwekkumineebiri, yaddamu okuzannya, ku mulundi guno ng'ali ne Fun Factory mu firimu ez'ebitundu eziragibwa ku TV eyitibwa Mizigo Express, nga muganzi wa Sam.

Ku ntandikwa ey'Ogwokusatu 2019, Agnes yatandikawo era n'atongoza Arise Woman! Comedy Jam[15]ku lunaku lw'abakyala olw'ensi yonna. Mu kukuza olunaku lw'okuwummula, omuzannyo gwaliko abakazi bonna abazannyi aba Katemba,[16] omwali Nancy Kobusheshe, Maggie the Bwaiserian, Rich Mouth, Dora Nakagga, Leila Kachapizo, n'abakyala ba Fun Factory. Ekitundu ky'ensimbi ezaava mu lulaga luno zaweebwa eri abetaaga obuyambi.[17] Ku nkomerero y'Ogwokusatu, Agnes yaddayo e Kigali ng'ali mu Seka Fest, n'abazannyi abalala okuva mu Uganda, Kenya, ne Nigeria.[18] Mu Gwokuna, yalabikira mu The Comedian's OutLuke Podcast, eyalagibwa omukubi wa firimu Luke Anthony ng'ekitundu kya Uganda Special.[19] Mu Gwomusanvu 2019, yali omu ku bannakatemba ba Uganda abeetaba mu Laugh Festival mu Nairobi, Kenya,[20] ate mu Gw'omwenda, yazannya mu Uganda North America Association Convention mu Chicago. Mu Gwekkumineebiri, ye yakulemberamu omukolo gwa One Africa Festival, ng'agezaako okulwanyisa obukyayi mu Port Elizabeth, South Africa.[21]

Agnes yagenda mu maaso naategeka olulaga lwa Arise Woman Comedy Jam mu Gwokusatu 2020 era nga yaliwamu n'abakazi abalala okuva mu Fun Factory Uganda wamu ne Anne Kansiime n'abalala.[22] Mu Ogw'omwenda 2022, Agnes ye yaweebwa ekyokuba muzannyi eyaggulawo olulaga mu Africa Laughs eya Patrick Salvado Idringi ey'omukaaga.[23][24][25]

Nga 23 Ogwekkumi 2024 yategeka olulaga lwe yekka ku National Theatre lwe yatuuma Son of Opio.[26]

Abakyala okuva mu Fun Factory nga baliko akatundu katemba gwebakola mu lulaga olwa mu Arise Woman

Sitayiro ye eya Katemba

[kyusa | kolera mu edit source]

Enkola ya Agnes ey'okuzanyira ku siteegi ya Katemba ow'okwetegereza, mwatunuulira embeera eyewuunyisa mu bulamu bw'omuntu. Era olumu akozesa embeera ey'okwenyooma. Yeewala eby'obufuzi.

Obulamu bwe obw'omunda

[kyusa | kolera mu edit source]

Agnes mwana wakutaano[27] mu maka agalimu abalenzi babiri, Richard ne Emmanuel, ne bagandabe mukaaga,Cathy, Grace, Mary, Susan, Harriet, ne Doreen. Muzadde wa baana babiri, Noel ne Brianna, era alina enkolagana ne Brian Makalama. Mukatoliki era asabira mu Kkanisa eya Our Lady of Africa.[28] Nga 9 Ogwekkumineebiri, yalumbibwa naakubwa ababbi bwe yali ava e Najjeera ku lulaga ekiro era yalumizibwa n'ekiwudu ku mutwe wamu n'ebinuubule ku liiso.[29][30]

Obuyambi bw'abantu

[kyusa | kolera mu edit source]

Agnes y'omu ku batandisi era akulira ekitongole ekya Arise Woman Foundation,[31] ekirwanirira n'okuzzaamu amaanyi n'essuubi abakazi n'abavubuka. [citation needed] Ensimbi eziva mu kibiina ekya Arise Women! Comedy Jam ziweebwa eri Home of Hope, Jinja. [citation needed]

Emirundi gy'alabise ng'azannya mu firimu ne ttivi
Omwaka Ekitiibwa Omulimu gwe Olukalala Ebyafaayo
2009-2012 The Hostel Envubu NTV Uganda, DStv Africa Magic Entertainment, ZUKU TV, ne NTV KENYA
2016 Girl from Mparo Maama Brian UBC, DStv Pearl Magic
2018 kati Mizigo Express Muganzi wa Sam DStv- Pearl Magi

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Nantaba, Agnes (19 October 2018). "Agnes Akite aka Arach on Funny Ugandans". Uganda News Archive. Archived from the original on 8 December 2020. Retrieved 19 October 2018.
  2. Republic, Matooke (28 October 2024). "Akite Agnes Marks 10 Years of Comedy in Grand Style – Matooke Republic". Matooke Republic. Archived from the original on 1 November 2024. Retrieved 29 October 2024.
  3. "Comedienne Agnes Akite's complicated path to stardom". Daily Monitor. Retrieved 1 June 2019.
  4. Template:Cite podcast
  5. Template:Cite podcast
  6. "Comedienne Agnes Akite's complicated path to stardom". Daily Monitor. Retrieved 1 June 2019.
  7. "Girl From Mparo". Uganda Broadcasting Corporation. Archived from the original on 21 November 2018. Retrieved 10 October 2018.
  8. Atungisa, Don (2 July 2018). "PHOTOS: How it Went Down at the Inaugural Kampala Comedy Festival". MTN Pulse. Retrieved 3 October 2018. - Nakassanje, Winnie (5 July 2018). "The First Ever Kampala Comedy Festival Reveals New Internationals". The Kampala Sun. Archived from the original on 21 November 2018. Retrieved 10 October 2018.
  9. Ampurire, Paul (20 July 2018). "Comedienne Agned Arach Impresses Revellers on Comedy Store". Soft Power News. Retrieved 10 October 2018.
  10. Ampurire, Paul (20 July 2018). "Comedienne Agned Arach Impresses Revellers on Comedy Store". Soft Power News. Retrieved 10 October 2018.
  11. Template:Cite podcast
  12. Oneal, Nicholas (1 August 2018). "Kampala Comedians Thrill Mbale Residents". New Vision. Retrieved 10 October 2018. - Emorut, Brian (19 September 2018). "Gulu Comedy Fans Embrace Ug Pineapple". Guide 2 Uganda. Archived from the original on 26 November 2018. Retrieved 10 October 2018. - Shantel, Denzel (21 November 2018). "Jinja Comedy Fans Get a Taste of the New Ug Pineapple". Showbiz Uganda. - Abenaitwe, Cliff (21 November 2018). "Fanfare at the Mbarara Ug Pineapple Comedy Tour". Mbarara News. Archived from the original on 26 November 2024.
  13. Ampurire, Paul (25 September 2018). "PICTORIAL: MC Mariachi Wows Mbarara During Comedy Store's Tour". SoftPower News. Retrieved 26 September 2019.
  14. Larubi, Robert (9 October 2018). "Africa Laughs Season 4 Drama and Humour Leaves Revellers in Tears". Soft Power News. - "Africa Laughs Season 4 Leaves Uganda Dying with Laughter". Ghafla. 10 October 2018. Retrieved 12 October 2018. - Matooke, Republic (9 October 2018). "Drama and Rib Cracking Laughter Light Up Africa Laughs Season 4". Matooke Republic. Archived from the original on 22 November 2018. Retrieved 10 October 2018.
  15. Republic, Matooke (28 October 2024). "Akite Agnes Marks 10 Years of Comedy in Grand Style – Matooke Republic". Matooke Republic. Archived from the original on 1 November 2024. Retrieved 29 October 2024.
  16. Kulanyi, Rachael (11 March 2019). "Female comedians celebrate Women's day in a comedy show dubbed 'Arise Woman Comedy Jam". Matooke Republic. Archived from the original on 2 April 2019. Retrieved 12 March 2019.
  17. Emuk, Benjamen (9 March 2019). "Ugandan Female Comics Dedicate 'Arise Woman Comedy Jam' Show to Charity". Chimp Reports. Archived from the original on 2 April 2019. Retrieved 12 March 2019.
  18. Batte, Edgar. R (1 April 2019). "Ugandan comedians shine at Kigali's Seka fest". Sqoop. Retrieved 2 April 2019.
  19. Template:Cite podcast
  20. Nkurunzinza, James Peter (5 July 2019). "Rwandan comedian to perform at the 'Laugh Festival' in Nairobi". The New Times. Archived from the original on 25 July 2019. Retrieved 6 October 2019. - Zuri, Admin (24 July 2019). "International Laugh Festival (3rd Edition)". Zuri News. Archived from the original on 25 September 2019. Retrieved 25 September 2019. - Ngigi, Elizabeth (26 July 2019). "Laugh Festival Back for Round 3". The Star. Retrieved 25 September 2019. - Kagonye, Fredrick (20 July 2019). "Wamlambez Dominates Laugh Festival". Standard Digital. Retrieved 25 September 2019.
  21. "Comedy show fight against xenophobia". News24. 18 December 2019. Retrieved 26 December 2019.
  22. Matooke, Republic (4 March 2020). "Season Two of Arise Women Comedy Jam set to crack ribs this Friday – Matooke Republic". Matooke Republic. Archived from the original on 3 November 2024. Retrieved 29 October 2024.
  23. Ampurire, Paul (31 October 2022). "Africa Laughs 6 succeeds in debunking the stereotypes tagged on Uganda's stand-up". Plugged. Retrieved 3 November 2022.
  24. Namutebi, Phiona (26 October 2022). "Africa Laughs comedy show is back at Kololo Airstrip". Capital Radio. Archived from the original on 3 November 2022. Retrieved 3 November 2022.
  25. "Africa Laughs returns with comedic masterpiece". The Independent Uganda. 30 October 2022. Retrieved 3 November 2022.
  26. Republic, Matooke (28 October 2024). "Akite Agnes Marks 10 Years of Comedy in Grand Style – Matooke Republic". Matooke Republic. Archived from the original on 1 November 2024. Retrieved 29 October 2024.
  27. Republic, Matooke (28 October 2024). "Akite Agnes Marks 10 Years of Comedy in Grand Style – Matooke Republic". Matooke Republic. Archived from the original on 1 November 2024. Retrieved 29 October 2024.
  28. Baike, Prisca. "Comedian Agnes Akite has Bone to Pick with Minister Lokodo". The Observer. Uganda. Archived from the original on 20 November 2018. Retrieved 19 October 2018.
  29. Republic, Matooke (28 October 2024). "Akite Agnes Marks 10 Years of Comedy in Grand Style – Matooke Republic". Matooke Republic. Archived from the original on 1 November 2024. Retrieved 29 October 2024.
  30. Mwesigwa, Solomon (14 November 2023). "Comedienne Agnes Akite attacked and robbed by thugs after a quiz night session". MBU. Retrieved 29 October 2024.
  31. Republic, Matooke (28 October 2024). "Akite Agnes Marks 10 Years of Comedy in Grand Style – Matooke Republic". Matooke Republic. Archived from the original on 1 November 2024. Retrieved 29 October 2024.

Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]
  • Akite Agnes at IMDb