Alice Alaso
Al ice Alaso
Alice Alaso (olumu ayitibwa Alice Alaso Asianut) (yazaalibwa nga 21 Gusooka 1969) musomesa era munnabyabufuzi Munnayuganda eyali omubaka omukyala owa Serere District mu palamenti ya Uganda ey'omunaana, ey'omwenda n'ey'ekkumi. Yali akolagana n'ekibiina kya Forum for Democratic Change (FDC) mu by'obufuzi era ye yali Ssaabawandiisi w'ekibiina eyasooka okumala emyaka kkumi.[1]
Ebyafaayo n'obuyigirize
[kyusa | edit source]Alaso yafuna Bachelor of Arts in Education okuva ku Makerere University.
Ng'omusomesa, Alaso yasomesa ku Teso College Aloet wakati w'omwaka gwa 1993 ne 1997. Mu kiseera kino, yasomesanga ne ku Saint Mary's Madera.[1]
Oluvannyuma lw'okuva ku Teso College mu 1997, yafuuka omukungu w'ekikula ky'abantu mu Disitulikiti ku pulogulaamu y'okweddaabulula oluvannyuma lw'obutabanguko nga okusinga avunaanyizibwa ku Disitulikiti y'e Kaberamaido.
Mu 2018, Alaso yava mu kibiina kya Forum for Democratic Change gye yali aweereza nga Ssaabawandiisi.[2] Ensonda endala zigamba nti yagobebwa mu kibiina n'ekifo.[3]
Yeegatta ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) era mu Gwokusatu 2022, yawandiikibwa ng'omukwanaganya w'ekibiina mu ggwanga.
Obulamu bw'omuntu
[kyusa | edit source]Alaso yafumbirwa Johnson Ebaju okuva mu 2007.[4]
Ebijuliziddwamu
[kyusa | edit source]- ↑ 1.0 1.1 "Archive copy". Archived from the original on 2022-01-20. Retrieved 2022-03-19.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.newvision.co.ug/articledetails/1486876
- ↑ https://chimpreports.com/fdc-sacks-alice-alaso-wadri-winnie-kiizas-husband/
- ↑ https://allafrica.com/stories/200712270975.html