Amama Mbabazi
| Ekikula | musajja | |
|---|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Uganda | |
| Erinnya eriweereddwa | Amama | |
| Erinnya lya famire | Mbabazi | |
| Yazaalibwa nga | 16 Gusooka 1949 | |
| Gy'azaalwa | Mparo, Rukiga | |
| Ennimi z'amanyi | Lungereza | |
| Omulimu | munnabyabufuzi, munnamateeka, Minisita, head of government | |
| Ekifo ky'alimu | Katikkiro wa Uganda, Minister of Security, Ssabawolereza wa gavumenti ya Uganda, Omubaka wa Palamenti ya Uganda, Justice Minister of Uganda | |
| Gyeyasomera | Ssettendekero wa Makerere, Law Development Centre, Kigezi College Butobere | |
| Mmemba w’ekibiina ky’ebyobufuzi | Ekibiina kya National Resistance Movement | |
| Okwesiimbawo kwe mu kalulu | akalulu k'obwa pulezideenti aka 2016 | |
John Patrick Amama Mbabazi, SC amanyiddwa nga Amama Mbabazi yazaalibwa nga 16 Ogwolubereberye 1949. munnabyabufuzi era Munnayuganda, yaweerezaako mu Paalamenti ey'omwenda nga Ssaabaminisita wa Uganda okuva nga 24 Ogwokutaano 2011 okutuuka nga 19 Ogwomwenda 2014.yakola omulimu munene nyo mu gavumenti ez'enjawulo ezirwanyisa obufuzi bwa bamusibiramubbwa okuva mu (1972-1986) era y'omu ku batandisi b'ekibiina kya National Resistance Movement, ekibiina ekiri mu buyinza kati.[1]
Mbabazi yaweerezaako ng'omubaka mu Paalamenti akiikirira konsityuwensi y'e Kinziki ey'Obugwanjuba mu Disitulikiti y'e Kanungu, yawereza ku kifo kino okuva mu 1996 okutuusa mu 2016 lwe yavuganya ku kifo ky'omukulembeze w'eggwanga naye n'awangulwa.[2]
Obuto bwe n'okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Amama Mbabazi yazaalibwa nga 16 Ogwolubereberye 1949, ku kyalo Mparo mu Ssaza lye Rukiga, kati emanyiddwa nga Disitulikiti y'e Rukiga.[1] Yasomerako mu matendekero ag'amaanyi era agamanyiddwa ennyo mu Ggwanga mu kiseera eky'abafuzi b'amatwale ne mu kaseera nga Uganda efunye obwetwaze: Kigezi College Butobere gy'eyasomera emisomo gy'egya siniya,[3] n'e ssomero lya Ntare gye yasomera siniya y'eyo mukaaga. Mbabazi yafuna Ddiguli ye esooka Mumateeka okuva ku Yunivasite y'e Makerere.[1] Yafuna Dipuloma mu kukozesa amateeka okuva ku Ttendekero ly'ebyamateeka mu Uganda erya Law Development Center mu Kampala.[1] Munnamateeka mu kkooti ya uganda enkulu era abadde omubaka ow'Ekibiina ekigata Bannamateeka mu Uganda okuva mu 1977.[4]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Nga tanaba kwesogga kisaawe ky'e by'obufuzi, yaweerezaako nga omuwaabi wa Gavumenti mu offisi y'Omuwaabi wa Gavumenti Omukulu okuva mu 1976 okutuuka mu 1978 era n'asuumusibwa okufuuka Ssaabawandiisi w'ekibiina ekigatta bannamateeka mu ggwanga okuva mu 1977 okutuuka mu 1979.[1]
Wakati wa 1986 ne 1992, Mbabazi yaweerezaako ng'akulira ekitongole ekirondoola eby'okwerinda bya Uganda n'ebweru w'Eggwanga (ESO).[1]
Wakati wa 1999 ne 2000, yaweerezaako nga Minisita omubeezi mu office y'omukulembeze w'eggwanga avunaanyizibwa ku nsonga z'eby'obufuzi.[1]
yafuuka omuwandiisi w'olukiiko lw'abakulembeze ab'ekibiina ky'eby'obufuzi ekya NRM mu Lukiiko oluteeketeeka Ssemateeka akaakola Ssemateeka wa 1995.[1]
Wakati wa 1986 ne 1992, Amama yafuka Minisita w'eggwanga ow'eby'okwerinda.[1] Oluvanyuma lw'ekyo, y'aweerezaako nga Minisita omubeezi owa regional cooperation okuva mu 1998 okutuuka mu 2001.[1] yaliko ssaabawolereza wa gavumenti ate nga Minisita w'Eby'Amateeka okuva mu 2004 okutuuka mu 2006, ekifo ekyamuwanguza n'ekitiibwa ky'okubeera Minisita asinze okukola obulungi (super minister).[5] Yalondebwa nga Minisita w'Eby'Obukumi mu Ggwanga mu 2006, ekifo ky'eyabeeramu okutuusa lwe yafuulibwa Minisita w'Eby'Okwerinda.[6] Kubuwerezabwe nga Minisita w'Eby'Okwerinda okuva mu Ogwokubiri 2009[7] okutuka Ogwokutaano 2011, lwe yafulibwa Ssabaminisita w'eGgwanga.
Yaliko Ssaabawandiisi w'ekibiina kya NRM okuva mu Ogwekkuminoogumu 2005 okutuusa mu Ogwolubereberye 2015.[8][9]
Okuvuganya ku bwa Pulezidenti
[kyusa | kolera mu edit source]Mu Ogwomunaana 2014 nga gugwako, Mbabazi yakuba olukunggana okwogerako n'Ekibiina kya Ugandan North Amerikan Association (UNAA) abawangaliira mu San Diego, mu California.[10][11][12] Nga wayiseewo wiiki ezitakka ku ssatu, nga 19 Ogwomwenda 2014, Pulezidenti w'Eggwanga Yoweri Museveni yagya Amama Mbabazi kubwa Ssaabaminisita namusiikisa Ruhakana Rugunda.[13][14][15] Deutsche Welle awamu ne baanamawulire abenjawulo baategeza nti enkyukakyuka mu bakulembeze yatwalibwa nnyo ng'obutakkanya obwali wakati mukiibina ekifuga, ebirubirirwa awamu n'okwegomba/okwagala kwa Mbabazi okwenyigira mu by'obufuzi.[16][17]
Nga 15 Ogwomukaaga 2015, Mbabazi yalangirira okwesimbawo ku kifo ky'obwa Pulezidenti ngasinzira mu kibiina ekiri mubuyinza kya National Resistance Movement era nga yali mwetegefu okuvuganya Yoweri Museveni ku kifo ekyo ky'ennyini era nga kino yakyasanguliza mu lukungana lw'ekibiina olwatuula nga 4 Ogwekkumi 2015.[18] Oluvannyuma Pulezidenti Museveni yalangira Mbabazi okweyisa mu ngeri ey'ekito era etakkirizibwa bannakibiina ba NRM.[19] Nga 31 Ogwomusanvu, oluvannyuma lw'okulemererwa okutegeeragana wakati w'abakulembeze ab'okuntikko, Mbabazi yakawangammula bwe yalangirira nga bwe yali agenda okwesimbawo kubwannamunigina kukifo ky'obwa Pulezidenti.[20] Wabula nga ekibiina kya The Democratic Alliance (TDA), kye kya muli emabega neewankubadde nga kyalabika nga ekitaalina busobozi bumala kuwangula ntebbe ya bukulembeze bwa Ggwanga.
Mu kalulu kabonna akaakubwa mu 2016, Mbabazi yakwata ekifo kyakusatu oluvannyuma lw'okufuna obululu ebitundu 1.39 ku kikumi.[21]
Obuweereza bwe mu mawanga g'ebweru.
[kyusa | kolera mu edit source]Mbabazi yakiikirirako Uganda mu nkiiko z'amawanga ag'enjawulo, nga eno yakolerayo bino, yatuula ku kakiiko k'ebyokwerinda ak'amawanga amagatte era ng'eno gye yasabira nti Eggye lya Uganda Ekkuuma Ddemmbe (UPDF) likkirizibwe okukwata abayeekera ba Konny ab'Eggye lya Lord's Resistance Army. abaali mu Ggwanga lya congo.[22]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 Musoke, Cyprian (24 May 2011). "Amama Mbabazi's road to Prime Minister". New Vision. Retrieved 15 July 2015.
- ↑ Daily Monitor (2011). "Members of the 9th Ugandan Parliament (2011 - 2016)" (PDF). Daily Monitor. Kampala, Uganda. Archived from the original (PDF) on 2 October 2012. Retrieved 28 July 2014.
- ↑ Ssekika, Edward (14 August 2011). "Mbabazi, Mutebile to revive former school". The Observer (Uganda). Kampala. Archived from the original on 15 July 2015. Retrieved 15 July 2015.
- ↑ Uganda Parliament (2011). "Amama Mbabazi: Member of Parliament, Kinkiizi County West, Kanungu District". Parliament of Uganda. Archived from the original on 28 July 2014. Retrieved 28 July 2014.
- ↑ "With or without NRM, I will run for presidency in 2016, Mbabazi says". Retrieved 22 September 2015.
- ↑ Mukasa, Henry (2 June 2006). "Ministries allocated". New Vision. Archived from the original on 11 December 2014. Retrieved 28 July 2014.
- ↑ New Vision, Archive (18 February 2009). "Full cabinet list". New Vision. Archived from the original on 13 February 2015. Retrieved 15 July 2015.
- ↑ Ssengendo, Abdulkarim (31 December 2008). "Mbabazi launches campaign for NRM's Byarugaba in Isingiro". New Vision. Archived from the original on 2 July 2015. Retrieved 15 July 2015.
- ↑ ""Court dismisses Mbabazi-NRM case", The Insider, 8 January 2015, accessed 15 July 2015". Archived from the original on 16 July 2015. Retrieved 16 July 2015.
- ↑ "UNAA 2014 San Diego Post Convention Report and Summary". UNAA (via Constant Contact). Retrieved 19 February 2026.
- ↑ "2000 Ugandans jailed in the United States". WeInformers. Retrieved 19 February 2026.
- ↑ "Mbabazi wants diaspora people exempted from visa fees". WeInformers. Retrieved 19 February 2026.
- ↑ "Uganda's PM Amama Mbabazi sacked by Yoweri Museveni". BBC News. Retrieved 19 February 2026.
- ↑ "Ugandan President Yoweri Museveni Fires Prime Minister". Forbes. 19 September 2014. Retrieved 19 February 2026.
- ↑ "House approves new Prime Minister". New Vision. Retrieved 19 February 2026.
- ↑ "Museveni sacks Premier". Deutsche Welle. 19 September 2014. Retrieved 19 February 2026.
- ↑ "Ruhakana Rugunda new Prime Minister" Template:Webarchive, New Vision, 19 September 2014.
- ↑ "Bored of the Big Man: Is the Ugandan president's 29-year rule coming to an end?". The Economist. 20 June 2015. Retrieved 21 June 2015.
- ↑ "Museveni responds to Mbabazi's aspirations". Retrieved 22 September 2015.
- ↑ "Mbabazi to stand as independent". Retrieved 22 September 2015.
- ↑ "Presidential Elections, 2016" (PDF). Electoral Commission. 22 February 2016. Archived from the original (PDF) on 4 March 2016. Retrieved 27 May 2017.
- ↑ Newvision, Archive (21 April 2006). "Who is at fault?". New Vision. Archived from the original on 16 July 2015. Retrieved 15 July 2015.
Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]- Bannayuganda bannabyabufuzi
- Abaazaalibwa mu 1949
- Abaasomera ku Yunivasite y'e Makerere
- Abantu abalamu
- Ababaka ba Paalamenti ya Uganda ey'omunaana
- Abantu abasibuka mu Disitulikiti y'e Kanungu
- Abawaabi ba Gavumenti ya Uganda
- Abaasomera ku Ssomero lya Ntare
- Baminisita b'Ebyokwerinda mu Uganda
- Ababaka ba Paalamenti ya Uganda eyoomwenda
- Abaakiika mu Palamenti ya Uganda ey'omwenda
- Abaasomera ku Makerere University
- Ababaka ba Paalamenti ey'omunaana
- Ababaka ba Paalamenti ya Uganda ey'omwenda
- Bannamateeka ba Uganda
- Baminisita ba Uganda