Angela Kalule
Angela Kalule Munnayuganda omuyimbi era aweereza ne ku laadiyo. Yawangula 'Oluyimba lw'omwaka' era n'awangula okubeera omuyimbi akuba bbandi y'obuliwo nga ali yekka mu awaadi za 2011 eza Pearl of Africa Music.
Ebyafaayo
[kyusa | edit source]Angela Kalule yazaalibwa nga 18 Ogwokubiri 1977 e Kampala, Uganda. Yasomera ku ssomero lya Aga Khan nursery erisangibwa e Nairobi Kenya, Nakasero SS okuva mu 1992 okutuuka mu 1993 olwo n'agenda e Mengo Senior School. Alina diguli mu byamawulire.
Eby'okuyimba
[kyusa | edit source]Yatandika okuyimba nga akyasoma olwo n'atandikira ddala okuyimba mu 1997 nga ayambako abayimbi abalala mu kibiina kya Diamond Ensemble. Eyo gye yafulumiza oluyimba lwe olwasooka ‘Akamuli’. Mu 2006, yafulumya akatambi k'ennyimba nga kaliko ennyimba mukaaga nga ebbiri ziri mu Lungereza ate ennya mu Luganda. Kati ayimbira mu bbandi ye emanyikiddwa nga K’angie bbandi.
Ennyimba eziri ku butambi
[kyusa | edit source]Ennyimba
[kyusa | edit source]- Kankwekumire
- Katikitiki
- Kantuntunu
- Highway
- Olimu Ssukkaali
Entambi z'ennyimba
[kyusa | edit source]- Dark Chocolate
- Kakondo
Awaadi n'obumanyifu
[kyusa | edit source]- Oluyimba lw'omwaka mu Pearl of Africa Music Awaadi mu 2011 olwa "Katikitiki"
- Asinga okukuba bbandi y'obuliwo nga ali yekka mu Pearl of Africa Music Awaadi mu 2011 ku luyimba lwa "Katikitiki"[1]
- ↑ Cite error: Invalid
<ref>
tag; no text was provided for refs namedobserveru