Jump to content

Angelline Osegge

Bisangiddwa ku Wikipedia

Angelline Asio Osegge, Bangi gwebamanyi nga Angelina Osege Yazaalibwa nga 8 Ogwekkuminebiri 1969. Munnayuganda, akwasaganya embeera z'abantu era munnabyabufuzi. Yaweerezaako ng'omubaka mu Paalamenti omukyala akikiilira Disitulikiti ya Soroti ku kakonge ka Forum for Democratic Change (FDC) mu Paalamenti ey'ekumi (2016 to 2021).[1]Yaweerezaako nga Ssentebe w'akakiiko akabazi k'ebitabo bya Gavumenti.[2]

Obuto bwe n'emisomo gye

[kyusa | kolera mu edit source]

Osegge yazaalibwa era n'atuumibwa Angelline Asio, nga 12 Ogwomunaana 1969, mu Disitulikiti y'e Soroti, mu kitundu kye Buvanjuba bwa Uganda .[3] Yasoomera mu masomero agali ku ddaala ery'awansi nga tanayingira Yunivasite. Mu 1991 yaweebwa ekifo ekwegatta ku Ssettendekero wa Makerere Ssetendekero asinga obukaade nobuganzi mu Ggwanga. Yatikkirwa diguli ya Bachelor of Arts in Social Science mu mwaka gwa 1994. mu mwaka gwa 2007, yegatta ku Yunivasite ya Uganda Martyrs University, ng'eno gyeyafunira Dipuloma eya Diploma in Microfinance. Osegge mufumbo.[1]

Nga tanayingira byabufuzi, yaweerezaako ng'omukoozi w'enkulakulana mu bitundu abantu mwebabeera ku lwa World Vision International era oluvannyuma yakola nga omuwooza w'ensimbi ku Pride Microfinance Limited nga lino ttabi lya gavumenti eliwola ssente entonotono eri abantu abatasobola kwewola okuyita mu Bbanka za Uganda ez'abasuubuzi. Ng'akola wano, yakuzibwa okutuuka ku daala ly'akulila etaabi ly'eterekero lino. okuva 2006 okutusa 2008, yeyali dayilekita ow'okuntiiko owa "Local Enterprise Assistance Programme", ekitongole mu ekitakolera magooba mu Uganda.

Osegge yasooka kulondebwa okuyingira Paalamenti ya Uganda mu 2011, ku kakonge k'ekibiina ky'ebyobufuzi ekivuganya Gavumenti ekya Forum for Democratic Change (FDC).[4][5] Mu 2016 yesiza ekifo kye mu Paalamenti.[6] Ng'ali mu Paalamenti, yawereza nga Ssentebe w'akakiiko akabalirira ebitabo bya Gavumenti.[7] Mu Gwomwenda 2016, yaweerezaako nga Ssentebe w'ekitongole ky'Africa ekigatta obukiiko obubala ebitabo bya Gavument ekya African Organisation of Public Accounts Committees. AFROPAC.[8]

Osege mwogezi ow'enkizo atte owamanyi ow'ekibiina ekiwakanya Gavumenti mu Paalamenti. Mu Gwomunaana 2013,yawummuzibwa omumyuka wa Sipiika wa Paalamenti Jacob Oulanyah okumala okumala ennaku essatu olw'okuleekaana ennyo mu kaseera webaali basomera ku bbago ly;okukungaanya abantu mu kifo ekimu.[9] Mu Gwomwenda 2017, nga banjula enongosereza mu Ssemateeka ku ky'okuja ekkomo ku myaka gy'omukulembeze w'eGgwanga, Angeline Osege yakosebwa mu kulwana okwaliwo mu kisenge kya Palamenti ateseezebwa era n'aweebwa ekitanda mu Ddwaliro olw'obuvune bwe yafuna.[10][11]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 https://web.archive.org/web/20181008214016/https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=357
  2. https://www.parliament.go.ug/committee/2727/public-accounts-committee-central-government
  3. https://www.wikidata.org/wiki/Q42759362
  4. https://www.theguardian.com/katine/2010/oct/20/katine-poltics-primaries
  5. http://mobile.monitor.co.ug/News/TodaysPaper/NRM-holds-meeting-over-intrigue-in-party/691252-1430422-format-xhtml-8bmsj4/index.html
  6. https://web.archive.org/web/20171107005421/http://www.elections.co.ug/new-vision/election/1407725/fdc-osege-retains-flag-soroti
  7. http://www.monitor.co.ug/News/National/PAC-expels-MP-extortion/688334-3460208-jd5k4a/index.html
  8. "Archive copy". Archived from the original on 2020-09-25. Retrieved 2021-03-21.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  9. "Archive copy". Archived from the original on 2017-11-07. Retrieved 2023-10-15.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  10. http://www.sunrise.ug/news/201709/parliament-goes-chaotic.html
  11. https://www.howwebiz.ug/news/national/17997/mp-collapses-in-parliament-rushed-to-the-hospital